Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 7

Waliwo lw’Olowooza nti Oli Wekka era n’Owulira ng’Otidde?

Waliwo lw’Olowooza nti Oli Wekka era n’Owulira ng’Otidde?

Tunuulira omwana oyo ali mu kifaananyi. Ali yekka era alabika ng’atidde. Si bwe kiri? Wali obaddeko mu mbeera ng’eyo?— Ffenna twali tubaddeko mu mbeera ng’eyo. Bayibuli etubuulira ku bamu ku mikwano gya Yakuwa abaatuuka ekiseera nabo ne balowooza nti basigadde bokka era ne batya nnyo. Omu ku bo yali Eriya. Ka tulabe ebimukwatako.

Yezeberi yali ayagala kutta Eriya

Eriya yali abeera mu Isirayiri. Yaliwo dda nnyo nga ne Yesu tannazaalibwa. Kabaka Akabu eyali afuga Isirayiri mu kiseera ekyo yali tasinza Yakuwa, Katonda ow’amazima. Akabu ne mukyala we Yezeberi baali basinza katonda ow’obulimba ayitibwa Bbaali. Abantu abasinga obungi mu Isirayiri nabo baatandika okusinza Bbaali. Yezeberi yali mukazi mubi nnyo. Yali ayagala okutta abantu bonna abaali basinza Yakuwa, nga mw’otwalidde ne Eriya! Omanyi Eriya kye yakola?—

Eriya yadduka n’agenda wala eyo mu ddungu ne yeekweka mu mpuku. Olowooza lwaki yadduka?— Yali atidde. Naye Eriya yali tasaanidde kutya. Lwaki? Kubanga yali akimanyi nti Yakuwa yali asobola okumuyamba. Emabegako Yakuwa yali alaze Eriya nti wa maanyi nnyo. Lumu yaddamu okusaba kwa Eriya ng’asindika omuliro okuva mu ggulu. Ne ku luno Yakuwa yali asobola okuyamba Eriya.

Yakuwa yayamba atya Eriya?

Eriya bwe yali mu mpuku Yakuwa yamubuuza nti: ‘Okola ki eno?’ Eriya yaddamu nti: ‘Nze nzekka asigaddewo ku bantu abakusinza, era ntya nti nange ŋŋenda kuttibwa.’ Eriya yali alowooza nti abantu abalala bonna abaali basinza Yakuwa baali battiddwa. Naye Yakuwa yagamba Eriya nti: ‘Ekyo si kituufu. Wakyaliwo abantu abalala 7,000 abansinza. Beera muvumu. Waliwo emirimu emirala gye njagala okole!’ Olowooza Eriya yawulira atya Yakuwa bwe yamugamba bw’atyo?—

Ebyo bye tusoma ku Eriya bikuyigiriza ki?— Tewali kintu kisaanidde kukuleetera kutya wadde okulowooza nti oli wekka. Olina emikwano mingi egyagala Yakuwa era egikwagala. Ate era teweerabira nti Yakuwa alina amaanyi mangi era ajja kukuyambanga! Tekikusanyusa okukimanya nti toli wekka?—