Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ESSOMO 2

Lebbeeka Yali Ayagala Okusanyusa Yakuwa

Lebbeeka Yali Ayagala Okusanyusa Yakuwa

Lebbeeka yali ayagala nnyo Yakuwa. Bbaawe yali ayitibwa Isaaka. Era naye yali ayagala nnyo Yakuwa. Lebbeeka yatuuka atya okufumbirwa Isaaka? Yakiraga atya nti yali ayagala nnyo okusanyusa Yakuwa? Ka tusooke tulabe ebikwata ku bbaawe, Isaaka.

Ibulayimu ne Saala be baali bazadde ba Isaaka. Baali babeera mu nsi eyitibwa Kanani, era abantu b’omu nsi eyo baali tebasinza Yakuwa. Kyokka Ibulayimu yali ayagala mutabani we awase omukazi asinza Yakuwa. Bwe kityo yatuma omuweereza we, oboolyawo oyo eyali ayitibwa Eriyeza, agende e Kalani awaali abamu ku b’eŋŋanda za Ibulayimu afunire Isaaka omukyala.

Lebbeeka yalina okusenera eŋŋamira amazzi mangi nnyo

Eriyeza yagenda n’abaweereza ba Ibulayimu abalala. Olugendo lwali luwanvu nnyo. Baagenda n’eŋŋamira kkumi nga bazitisse emmere n’ebirabo. Eriyeza yandisobodde atya okumanya omukazi omutuufu ow’okulondera Isaaka? Eriyeza n’abaweereza ba Ibulayimu abalala bwe baatuuka e Kalani, baagenda awali oluzzi ne bayimirira awo kubanga Eriyeza yali akimanyi nti wandibaddewo abantu abajja okukima amazzi. Yasaba Yakuwa nti: ‘Omuwala gwe nnaasaba amazzi n’agampa era n’awa n’eŋŋamira zange, nja kumanya nti oyo ye mukazi gw’olonze.’

Baba bali awo ku luzzi, Lebbeeka n’ajja okukima amazzi. Bayibuli egamba nti yali alabika bulungi nnyo. Eriyeza bwe yamusaba amazzi, Lebbeeka yamuddamu nti: ‘Nja kukuwa era mpe n’eŋŋamira zo.’ Eŋŋamira zinywa amazzi mangi nnyo. Ekyo kitegeeza nti Lebbeeka yalina okuzisenera amazzi mangi nnyo ddala. Omulaba mu kifaananyi ng’awa eŋŋamira amazzi?— Eriyeza yeewuunya engeri Yakuwa gye yaddamu okusaba kwe.

Eriyeza yawa Lebbeeka ebirabo ebirungi bingi. Lebbeeka yagamba Eriyeza n’abaweereza abalala be yali nabo bagende naye ewaabwe. Eriyeza yategeeza ab’ewaabwe wa Lebbeeka ensonga eyali emuleese, era n’ababuulira n’engeri Yakuwa gye yali azzeemu okusaba kwe. Lebbeeka ab’ewaabwe baamukkiriza agende afumbirwe Isaaka.

Lebbeeka yakkiriza okugenda ne Eriyeza e Kanani n’afumbirwa Isaaka

Naye olowooza Lebbeeka yali ayagala okufumbirwa Isaaka?— Lebbeeka yakitegeera nti Yakuwa ye yali atumye Eriyeza. Ab’ewaabwe bwe baamubuuza obanga yandyagadde okugenda e Kanani afumbirwe Isaaka, Lebbeeka yaddamu nti: ‘Yee, njagala.’ Yagenda ne Eriyeza era bwe baatuuka e Kanani, n’afumbirwa Isaaka.

Olw’okuba Lebbeeka yakola Yakuwa kye yali ayagala, Yakuwa yamuwa emikisa. Y’omu ku abo abali mu lunyiriri omwava Yesu. Naawe bw’onooba nga Lebbeeka n’okola ebintu ebisanyusa Yakuwa, Yakuwa ajja kukuwa emikisa.