OBULAMU BW'EKIKRISTAAYO N'OBUWEEREZA–AKATABO K'ENKUŊŊAANA Agusito 2016
Ennyanjula Ze Tuyinza Okukozesa
Ennyanjula ze tuyinza okukozesa okugaba Zuukuka! ne brocuwa Wuliriza Katonda Obe Mulamu Emirembe Gyonna. Kozesa ebyokulabirako ebyo okutegeka ennyanjula zo.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Sigala mu Kifo eky’Ekyama eky’Oyo Asingayo Okuba Waggulu
‘Ekifo kya Yakuwa eky’ekyama’ kye ki, era kituwa kitya obukuumi? (Zabbuli 91)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Okutuukiriza Obulungi Obuweereza Bwaffe—Okuyamba Abayizi ba Bayibuli Okukulaakulana Okutuuka ku Kwewaayo n’Okubatizibwa
Lwaki kikulu okweteerawo ebiruubirirwa bino eby’omwoyo? Kiki ekiyinza okuyamba abayizi bo okutuuka ku biruubirirwa ebyo?
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Okuba Omunywevu mu by’Omwoyo ng’Okaddiye
Zabbuli 92 eraga nti abatuukirivu basobola okuba abanywevu mu by’omwoyo era ne babala ebibala ne bwe baba nga bakaddiye.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
Yakuwa Ajjukira nti Tuli Nfuufu
Mu Zabbuli 103, Dawudi yageraageranya ebintu ebiwerako okutuyamba okutegeera ekisa kya Yakuwa.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Mwebaze Yakuwa”
Zabbuli 106 esobola okukuyamba okukulaakulanya omutima ogusiima ebyo Yakuwa by’akukolera.
EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA
“Yakuwa Nnaamusasula Ki?”
Omuwandiisi wa zabbuli yalaga atya nti yali asiima ebyo Katonda bye yamukolera? (Zabbuli 116)
OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO
Kaweefube ow’Okugaba Omunaala gw’Omukuumi mu Ssebutemba
Magazini y’Omunaala gw’Omukuumi ejja kunnyonnyola engeri Katonda gy’abudaabudamu.