Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Jjanwali 27–Febwali 2

Jjanwali 27–Febwali 2

Oluyimba 44 n’Okusaba | Ennyanjula (Ddak. 1)

EKIGAMBO KYA KATONDA KYA BUGAGGA

1. Kolera ku Ebyo by’Oba Osabye

(Ddak. 10)

Beera mwetegefu okukkiriza okuwabulwa (Zb 141:5; w22.02 lup. 12 ¶13-14)

Fumiitiriza ku ebyo Yakuwa by’akukoledde (Zb 143:5; w10 3/15 lup. 32 ¶4)

Fuba okutunuulira ebintu nga Yakuwa bw’abitunuulira (Zb 143:10; w15 3/15 lup. 32 ¶2)

Zabbuli 140 okutuuka 143 zirimu essaala Dawudi ze yasaba Yakuwa okumuyamba era zirimu n’ebigambo ebiraga nti yakolera ku ebyo bye yasaba.

2. Eby’Obugagga eby’eby’Omwoyo

(Ddak. 10)

  • Zb 140:3—Lwaki Dawudi yageraageranya olulimi lw’ababi ku lw’omusota? (it-2-E lup. 1151)

  • Biki bye wayize mu kusoma Bayibuli okwa wiiki eno?

3. Okusoma Bayibuli

BUULIRA N’OBUNYIIKIVU

4. Okutandika Okunyumya n’Abantu

(Ddak. 4) OKUBUULIRA EMBAGIRAWO. Baako ky’obuulira omuntu okuva mu Bayibuli oluvannyuma lw’okumuyamba. (lmd essomo 3 akatundu 5)

5. Weeyongere Okuyamba Abantu

(Ddak. 3) OKUBUULIRA MU BIFO EBYA LUKALE. Akugamba nti alina by’akola. (lmd essomo 7 akatundu 3)

6. Okunnyonnyola Abalala Ebyo by’Okkiririzaamu

(Ddak. 5) Ekyokulabirako. ijwfq ekitundu 21—Omutwe: Lwaki Abajulirwa ba Yakuwa Tebakkiriza Kuteekebwako Musaayi? (th essomo 7)

OBULAMU BW’EKIKRISTAAYO

Oluyimba 141

7. Weeteekereteekere Embeera Eziyinza Okukwetaagisa Okufuna Obujjanjabi oba Okulongoosebwa

(Ddak. 15) Kukubaganya birowoozo.

Yakuwa asuubiza “okutuyamba nga tuli mu buzibu.” (Zb 46:1) Bwe wabaawo embeera ezitwetaagisa okufuna obujjanjabi oba okulongoosebwa kiyinza okutweraliikiriza. Kyokka Yakuwa atuwadde byonna bye twetaaga okusobola okweteekerateekera embeera ng’ezo. Ng’ekyokulabirako, ekibiina kye kituwadde ebintu gamba nga Kaadi y’omusaayi (DPA), Kaadi y’abaana (ic), a ebiwandiiko ebirala ebikwata ku by’obujjanjabi b, n’Obukiiko Obukwanaganya eby’Eddwaliro (HLC). Ebintu ebyo bituyamba okugondera ekiragiro kya Katonda ekikwata ku musaayi.—Bik 15:​28, 29.

Mulabe VIDIYO Weeteekeddeteekedde Embeera Eziyinza Okukwetaagisa Okufuna Obujjanjabi? Oluvannyuma buuza abakuwuliriza:

  • Abamu baganyuddwa batya mu kujjuzaamu Kaadi y’omusaayi (DPA)?

  • Abamu baganyuddwa batya mu kiwandiiko ekiyitibwa Obubaka Eri Abakazi Abali Embuto (S-401)?

  • Lwaki kirungi okutegeeza mu bwangu ab’oluganda abali ku Kakiiko Akakwanaganya eby’Eddwaliro amangu ddala ng’ogenda okuweebwa ekitanda, okulongoosebwa, oba okufuna obujjanjabi obulala, gamba ng’obwa kkansa, wadde ng’embeera ziyinza okulabika ng’ezitaazingiremu nsonga ezikwata ku musaayi?

8. Okuyiga Bayibuli okw’Ekibiina

(Ddak. 30) bt sul. 21 ¶14-22

Okufundikira (Ddak. 3) | Oluyimba 103 n’Okusaba

a Ababuulizi ababatize basobola okufuna Kaadi y’omusaayi DPA okuva ku w’oluganda akola ku bitabo n’okufunira abaana baabwe Kaadi y’abaana (ic).

b Osobola okusaba abakadde ekiwandiiko ekiyitibwa Obubaka eri Abakazi Abali Embuto (S-401), oba Information for Patients Requiring Surgery or Chemotherapy (S-407), oba Information for Parents Whose Child Requires Medical Treatment (S-55).