Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Ekisobola Okukuyamba Okulekera Awo Okunywa Ssigala

Ekisobola Okukuyamba Okulekera Awo Okunywa Ssigala

Ekisobola Okukuyamba Okulekera Awo Okunywa Ssigala

“Okuba omumalirivu okulekera awo okunywa ssigala kye kiyambye abanywi ba ssigala abasinga obungi okulekayo omuze ogwo.”—Ekitabo ekiyitibwa “Stop Smoking Now!”

BW’OBA ng’oyagala okulekera awo okunywa ssigala, okusookera ddala, olina okuba ng’oli mumalirivu okulekayo omuze ogwo. Kiki ekinaakuyamba? Fumiitiriza ku miganyulo gy’onoofuna ng’olekedde awo okunywa ssigala.

Ojja kuba tokyayonoona ssente zo. Omuntu bw’aba ng’anywa pakiti ya ssigala buli lunaku, omwaka we guggwerako, ssigala aba amututteko ssente mpitirivu. Gyanu abeera mu Nepal agamba nti, “Nnali sikimanyi nti nnali nsaasaanya ssente nnyingi nnyo ku ssigala.”

Ojja kweyongera okufuna essanyu mu bulamu. Regina abeera mu South Africa agamba nti: “Bwe nnalekera awo okunywa ssigala, nnatandika okufuna essanyu, era buli lukya nneeyongera kuba musanyufu.” Abantu bwe balekera awo okunywa ssigala, obusobozi bwabwe obw’okulega n’ob’okuwunyiriza bwongera okulongooka, era emirundi mingi beeyongera okufuna amaanyi n’okulabika obulungi.

Obulamu bwo buyinza okweyongera okutereera. Ekitongole kya Amerika ekikola ku kulwanyisa n’okuziyiza endwadde kigamba nti: “Okulekera awo okunywa ssigala kye kimu ku bintu ebikulu ebiyamba ennyo obulamu bw’abantu ab’emyaka gyonna, abasajja n’abakazi.”

Ojja kweyongera okwekkiririzaamu. Henning abeera mu Denmark agamba nti, “Nnalekera awo okunywa ssigala kubanga nnali saagala ssigala kunfuga. Nnali njagala nze mba nfuga omubiri gwange.”

Ab’omu maka go ne mikwano gyo bajja kuganyulwa. Okusinziira ku kitongole kya Amerika ekya kookolo, “Okunywa ssigala . . . kikosa abo ababeera okumpi naawe. . . . Okunoonyereza kulaga nti okusika omukka omunywi wa ssigala gw’aba afulumizza kiviirako abantu nkumi na nkumi okufa obulwadde bwa kookolo n’obw’omutima buli mwaka.”

Ojja kusanyusa Omutonzi wo. “Abaagalwa, . . . ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri.” (2 Abakkolinso 7:1) ‘Muweeyo emibiri gyammwe nga ssaddaaka esiimibwa Katonda.’—Abaruumi 12:1.

Sylvia, abeera mu Spain agamba nti, “Bwe nnakimanya nti Katonda akyawa ebintu ebyonoona omubiri, nnasalawo okulekera awo okunywa ssigala.”

Kyokka emirundi egisinga, okuba omumalirivu ku bwakyo tekimala. Tuyinza n’okwetaaga obuyambi bw’abalala, nga mwe muli ab’omu maka gaffe ne mikwano gyaffe. Biki bye bayinza okukola?