Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’

1 | Okusaba—‘Mumukwase Byonna Ebibeeraliikiriza’

BAYIBULI EGAMBA NTI: ‘Mukwase Katonda byonna ebibeeraliikiriza, kubanga abafaako.’—1 PEETERO 5:7.

Kye Kitegeeza

Yakuwa Katonda atukubiriza okumutegeeza byonna ebitweraliikiriza oba ebituzitoowerera. (Zabbuli 55:22) Tusobola okumutegeeza ekizibu kyonna kye tuba twolekagana nakyo, ka kibe kinene oba kitono. Yakuwa akitwala nti kikulu okumusaba kubanga atufaako. Okusaba kye kimu ku bintu ebikulu ebituyamba okufuna emirembe ku mutima.—Abafiripi 4:6, 7.

Engeri Okusaba Gye Kutuyambamu

Bwe tuba nga tutawaanyizibwa obulwadde obukosa ebirowoozo, tuyinza okuwulira nti tewali atufaako. Oluusi abantu abalala tebategeera mu bujjuvu kizibu kyaffe. (Engero 14:10) Naye bwe tusaba Katonda atuwulira, era ategeera engeri gye twewuliramu. Yakuwa atulaba. Amanyi obulumi bwe tuba tuyitamu, era ayagala tumutegeeze ekintu kyonna ekiba kitweraliikiriza.​—2 Ebyomumirembe 6:29, 30.

Okusaba kutuyamba okweyongera okuba abakakafu nti Yakuwa atufaako. Naffe tusobola okuwulira ng’omuwandiisi wa Zabbuli eyagamba Katonda mu kusaba nti: “Olabye obuyinike bwange; omanyi obulumi obw’amaanyi bwe ndimu.” (Zabbuli 31:7) Okukimanya nti Yakuwa alaba embeera gye tuyitamu kituyamba okugumira embeera eyo. Kyokka takoma ku kulaba mbeera gye tuyitamu. Agitegeera bulungi okusinga omuntu yenna, era akozesa Ekigambo kye Bayibuli okutubudaabuda n’okutuzzaamu amaanyi.