Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omukristaayo Asaanidde Okusinziza mu Kiggwa?

Omukristaayo Asaanidde Okusinziza mu Kiggwa?

BULI mwaka, abantu abasukka mu bukadde mukaaga bagenda mu kibira ekimu ekisangibwa mu kyondo ekiyitibwa Shima mu Japaani. Bagenda mu kiggwa kya katonda omukazi ow’Abashinto ayitibwa Amaterasu Omikami, amaze emyaka ng’enkumi bbiri ng’asinzibwa. Abo abagendayo basooka kunaaba mu ngalo ne mu kamwa. Oluvannyuma bagenda mu kifo ekisinzibwamu era ne bagoberera obulombolombo obukolebwayo; bafukamira, bakuba mu ngalo, era ne basaba katonda oyo. * Enzikiriza y’Abashinto ekkiriza abagoberezi baayo okusinziza mu madiini amalala era Ababudda, amadiini g’Ekikristaayo, n’abantu abamu tebakitwala nga kikyamu okukwenyigira mu ebyo ebikolebwa kiggwa ky’Abashinto kino.

Amadiini mangi mu nsi yonna galina ebiggwa * era abantu bukadde na bukadde bagenda mu biggwa ebyo. Mu nsi ezirimu amadiini ng’ago, waliyo amakanisa mangi n’ebiggwa mwe basinziza Yesu, Maliyamu, n’abatukuvu. Ebiggwa ebimu byateekebwa mu bifo ebyogerwako mu Bayibuli oba mu bifo ebigambibwa nti waaliyo bannaddiini abaakoleramu “ebyamagero.” Abantu bangi bagenda mu biggwa kubanga balowooza nti bwe basabira mu bifo ng’ebyo ebitwalibwa okuba ebitukuvu essaala zaabwe zijja kuwulirwa nnyo. Abalala batambula eŋŋendo mpanvu okutuuka mu bifo ebyo okulaga nti baagala nnyo Katonda.

Abantu nga bali ku kiggwa kya Ise mu Japaani, ne ku mpuku ya Massabielle, Lourdes, mu Bufalansa

Naye ddala essaala abantu ze basabira mu biggwa Katonda aziwulira? Katonda asiima abo abatambula eŋŋendo empanvu okugenda mu biggwa? Ye abaffe, Abakristaayo basaanidde okusinziza mu biggwa? Okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebyo tekijja kukoma ku kutuyamba kumanya engeri gye tusaanidde okutwalamu okusinziza mu biggwa, naye era kijja kutuyamba okumanya okusinza Katonda kw’asiima.

SINZA “MU MWOYO N’AMAZIMA”

Yesu yali ategeeza ki bwe yagamba nti tulina okusinza mu “mwoyo n’amazima”?

Ebyo Yesu bye yayogera ng’anyumya n’omukazi Omusamaliya biraga endowooza ya Katonda ku kusinziza mu bifo ebiyitibwa ebitukuvu oba mu biggwa. Yesu bwe yali atambula mu Samaliya, yatuuka ku luzzi olwali okumpi n’ekibuga Sukali n’awummulako. Yali akyali awo, omukazi n’ajja okukima amazzi era Yesu n’atandika okunyumya naye. Baba banyumya, omukazi oyo n’ayogera ku ngeri Abayudaaya n’Abasamaliya gye baali basinzaamu. Yamugamba nti: “Bajjajjaffe baasinzizanga ku lusozi luno, naye mmwe mugamba nti Yerusaalemi kye kifo abantu gye balina okusinziza.”​—Yokaana 4:5-9, 20.

Olusozi omukazi oyo lwe yali ayogerako lwali luyitibwa Gerizimu, olwali lwesudde mayiro nga 30 mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi. Abasamaliya baalina yeekaalu ku lusozi olwo era mwe baakulizanga embaga ezitali zimu, gamba ng’Embaga ey’Okuyitako. Naye Yesu essira teyalissa ku ngeri Abayudaaya n’Abasamaliya gye baali basinzaamu. Mu kifo ky’ekyo, yagamba omukyala oyo nti: “Kkiriza kye nkugamba; ekiseera kijja lwe mutalisinziza Kitaffe ku lusozi luno wadde mu Yerusaalemi.” (Yokaana 4:21) Okuva bwe kiri nti Yesu eyali Omuyudaaya ye yayogera ebigambo ebyo, biteekwa okuba nga byewuunyisa nnyo omukazi oyo! Lwaki okusinziza Katonda mu yeekaalu e Yerusaalemi kwandikomye?

Yesu yagattako nti: “Ekiseera kijja era kituuse, abasinza mu ngeri entuufu lwe banaasinzanga Kitaffe mu mwoyo n’amazima, kubanga Kitaffe anoonya abalinga abo okumusinzanga.” (Yokaana 4:23) Okumala ebyasa bingi Abayudaaya baali batwala yeekaalu y’omu Yerusaalemi eyali ennungi ennyo okuba entabiro y’okusinza kwabwe. Baagendangayo emirundi esatu buli mwaka okuwaayo ssaddaaka eri Yakuwa Katonda waabwe. (Okuva 23:14-17) Naye Yesu yagamba nti ebyo byonna byandikyuse era nti “abasinza mu ngeri entuufu” bandisinzizza Katonda “mu mwoyo n’amazima.”

Yeekaalu y’Abayudaaya kyali kizimbe ekirabwako ekyali mu Yerusaalemi. Naye omwoyo n’amazima tebirabwako era tebibeera mu kifo kimu. N’olwekyo Yesu yali annyonnyola nti okusinza okw’amazima kwandibadde tekusinziira ku kizimbe oba ku kifo, gamba ng’Olusozi Gerizimu, yeekaalu y’omu Yerusaalemi, oba ekifo ekirala kyonna abantu kye batwala nti kitukuvu.

Ate era Yesu yagamba omukazi Omusamaliya nti “ekiseera” kyali “kijja” enkyukakyuka eyo ebeewo. Ekiseera ekyo kyandituuse ddi? Ekiseera kyatuuka Yesu n’afa, n’akomya okusinza kw’Abayudaaya okwali kwesigamiziddwa ku Mateeka ga Musa. (Abaruumi 10:4) Yesu era yagamba nti: “Ekiseera . . . kituuse.” Yayogera bw’atyo kubanga ye nga Masiya yali akuŋŋaanya abagoberezi be abanditegedde nti ‘Katonda mwoyo, era nti abamusinza bateekwa okumusinza mu mwoyo n’amazima.’ (Yokaana 4:24) Kati olwo kitegeeza ki okusinza mu mwoyo n’amazima?

Yesu bwe yayogera ku kusinza mu mwoyo, yali ategeeza nti tusaanidde okukulemberwa omwoyo gwa Katonda, era gwe gumu ku ebyo ebituyamba okutegeera Ebyawandiikibwa. (1 Abakkolinso 2: 9-12) Ate amazima Yesu ge yali ayogerako kwe kumanya okutuufu okukwata ku njigiriza eziri mu Bayibuli. N’olwekyo, mu kifo ky’okulowooza nti tulina okubaako ekifo eky’enjawulo mwe tusinziza, tusaanidde okukijjukira nti Katonda asiima okusinza kwaffe kasita kuba nga kwesigamiziddwa ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza era nga tukulemberwa omwoyo omutukuvu.

ABAKRISTAAYO BANDITUTTE BATYA OKUSINZIZA MU BIGGWA

Kati olwo, Abakristaayo basaanidde kutwala batya okulamaga n’okusinziza mu biggwa? Bwe tulowooza ku ebyo Yesu bye yayogera nti abasinza Katonda mu ngeri entuufu balina okumusinza mu mwoyo n’amazima, kyeyoleka lwatu nti abo basinziza mu biggwa Katonda tabasiima. Okugatta ku ekyo, Bayibuli eraga endowooza Katonda gy’alina ku kusinza ebifaananyi. Egamba nti: “Mudduke okusinza ebifaananyi,” era egamba nti, “mwekuume ebifaananyi.” (1 Abakkolinso 10:14; 1 Yokaana 5:21) N’olwekyo, Omukristaayo ow’amazima tasobola kusinziza mu kifo abantu kye batwala nti kitukuvu, naye nga kirimu okusinza ebifaananyi oba okukola obulombolombo obutasanyusa Katonda.

Kyokka, kino tekitegeeza nti Bayibuli egaana abantu okubaako ekifo we bayinza okugenda okusabira, okusomera, oba okufumiitiriza. Ekifo ekitegekeddwa obulungi kisobozesa abantu okuyiga n’okukubaganya ebirowoozo ku bintu ebikwata ku Katonda. Ate era Bayibuli tegaana bantu kukola bijjukizo, gamba ng’ebyo bye bateeka ku ntaana. Kino kiyinza okukolebwa okujjukirirako omugenzi. Kyokka, okutwala ekifo ng’ekyo nti kitukuvu oba okukissaamu ebifaananyi eby’okusinza kikontana n’ebigambo bya Yesu.

N’olwekyo, tekikwetaagisa kugenda mu kiggwa okusaba ng’olowooza nti Katonda ajja kuwulira essaala zo olw’okuba osabidde eyo. Ate era tosaanidde kulowooza nti bw’onoolamaga ojja kusanyusa Katonda era nti ajja kukuwa emikisa. Bayibuli egamba nti Yakuwa Katonda, ye “Mukama w’eggulu n’ensi, era tabeera mu yeekaalu zikolebwa bantu.” Naye kino tekitegeeza nti Katonda ali wala nnyo naffe. Tusobola okumusaba nga tuli mu kifo kyonna era asobola okuddamu essaala zaffe kubanga “tali wala wa buli omu ku ffe.”​—Ebikolwa 17:24-27.

^ lup. 2 Obulombolombo obukolebwa mu biggwa by’Abashinto ebitali bimu bwawukana.

^ lup. 3 Laba akasanduuko, “ Ekiggwa Kye Ki?