Ebyawandiikibwa Ebitukuvu Byakyusibwa?
Abantu abamu beebuuza obanga obubaka obuli mu Byawandiikibwa Ebitukuvu bukyali nga bwe bwali mu kusooka. Nnabbi Isaaya yagamba nti Ekigambo kya Katonda “kibeerawo emirembe gyonna.” (Isaaya 40:8) Tuyinza tutya okuba abakakafu nti ebisuubizo bya Katonda ebiri mu Byawandiikibwa tebikyusibwanga?
Katonda asobola okukuuma Ekigambo kye era n’okukakasa nti tekikyusibwa. Mu biseera eby’edda, abakoppolozi bwe baabanga bakoppolola Ebyawandiikibwa Ebitukuvu, baabalanga buli nnukuta okukakasa nti tewali kyongeddwamu, kikyusiddwa, oba kiggiddwamu. Naye olw’okuba abantu tebatuukiridde, abakoppolozi abamu baakola ensobi entonotono.
TUKAKASA TUTYA NTI EBYAWANDIIKIBWA BYE TULINA LEERO TEBIKYUSIBWANGA?
Leero, waliwo ebiwandiiko eby’edda nkumi na nkumi eby’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu. Bwe wabaawo ekiwandiiko ekirimu ekintu ekyawukanamu ku birala, kisobola okugeraageranyizibwa n’ebiwandiiko ebirala, ekituufu ne kizuulibwa.—Okumanya ebisingawo, laba ekitundu “Has the Bible Been Changed or Tampered With?” ekiri ku jw.org.
Ng’ekyokulabirako, lowooza ku mizingo gy’Ebyawandiikibwa egyazuulibwa okumpi n’Ennyanja Enfu mu 1947. Ebiwandiiko ebyo birimu ebitabo ebimu eby’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu ebyawandiikibwa emyaka egisukka mu nkumi bbiri emabega. Abakugu baageraageranya ebiri mu biwandiiko ebyo n’Ebyawandiikibwa Ebitukuvu bye tulina leero. Kiki kye baazuula?
Baakizuula nti obubaka obuli mu Byawandiikibwa bye tulina leero bwe bumu n’obwo obuli mu biwandiiko ebyasookera ddala. * Ekyo kitukakasa nti Katonda akuumye obubaka bwe obuli mu Byawandiikibwa Ebitukuvu ne butakyusibwa.
N’olwekyo, tusobola okusoma Ebyawandiikibwa Ebitukuvu nga tuli bakakafu nti ebirimu byonna bituufu era byesigika. Kati ka tulabe bye tuyinza okuyiga ebikwata ku Katonda okuyitira mu bannabbi be.
^ lup. 7 Ekitabo ekiyitibwa The Complete Dead Sea Scrolls in English, ekyawandiikibwa Geza Vermes, olupapula 16.