Amagaali n’Engule Bitukuuma
“[Kiribaawo], bwe muliwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wammwe.”—ZEK. 6:15.
1, 2. Okwolesebwa okw’omusanvu Zekkaliya kwe yafuna we kwaggweera, Abayudaaya mu Yerusaalemi baali mu mbeera ki?
OKWOLESEBWA okw’omusanvu bwe kwaggwa, Zekkaliya yalina bingi eby’okulowoozaako. Yakuwa yali akakasizza nti ajja kubonereza abantu ababi. Ekyo kiteekwa okuba nga kyazzaamu Zekkaliya amaanyi. Wadde kyali kityo, abantu baali bakyakola ebikolwa ebitali bya bwesigwa, n’ebikolwa ebirala ebibi. Ate era omulimu gw’okuddamu okuzimba yeekaalu mu Yerusaalemi gwali tegunnaggwa. Lwaki Abayudaaya baali balagajjalidde omulimu ogwo Katonda gwe yabawa? Baali bakomyewo mu nsi yaabwe kwekolera byabwe?
2 Zekkaliya yali akimanyi nti Abayudaaya abaali bazzeeyo e Yerusaalemi baalina okukkiriza okw’amaanyi. Beebo Katonda ow’amazima be yateekamu ekirowoozo ne baleka amayumba gaabwe ne bizineesi zaabwe mu Babulooni ne baddayo e Yerusaalemi. (Ezer. 1:2, 3, 5) Baava mu nsi gye baali bamanyidde ne bagenda mu nsi bangi ku bo gye baali batalabangako. Singa omulimu ogw’okuddamu okuzimba yeekaalu tegwali mukulu gye bali, tebanditindizze lugendo olwo olwa mayiro nga 1,000 era olutaali lwangu.
3, 4. Bizibu ki Abayudaaya abaddayo mu Yerusaalemi bye baayolekagana nabyo?
Ezer. 3:12) Singa wali omu ku bo, wandiwulidde otya nga mwakatuuka mu Yerusaalemi, kati gye wali ogenda okubeera? Wandiwulidde bubi ng’olabye ebizimbe ebyamenyekamenyeka era ebimezeemu omuddo? Wanditandise okugeraageranya bbugwe wa Babulooni eyali omugulumivu ku bbugwe wa Yerusaalemi eyali amenyesemenyese, nga takyaliko na nzigi wadde eminaala? Wadde ng’embeera bw’etyo bwe yali, abantu abo baali bagumu. Baali balabye engeri Yakuwa gye yali abayambyemu mu lugendo olwo oluwanvu nga bakomawo mu nsi yaabwe. Ekintu kye baasooka okukola nga baakatuuka kwe kuzimba ekyoto awaali yeekaalu, era ne batandika okuwaayo ebiweebwayo eri Yakuwa buli lunaku. (Ezer. 3:1, 2) Baali basanyufu nnyo era nga beetegefu okukola omulimu gwa Yakuwa. Waali walabika ng’awatali kintu kyonna kisobola kubamalamu maanyi.
3 Olugendo olwo lwali lutya? Abayudaaya abo bwe baali batambula olugendo olwo, bateekwa okuba nga baalowoozanga ku wa gye baali bagenda. Baali baawulirako nti ekibuga Yerusaalemi edda kyali kirabika bulungi nnyo. Abamu ku bo abaali babaddeko mu Yerusaalemi baali balabye ku yeekaalu yaamu eyali amatiribona. (4 Ng’oggyeeko omulimu ogw’okuzimba yeekaalu, Abayisirayiri abo baalina n’okuddamu okuzimba ebibuga byabwe. Baalina okuddamu okuzimba amayumba gaabwe, okulima ennimiro, n’okufunira ab’omu maka gaabwe eky’okulya. (Ezer. 2:70) Omulimu gwe baalina okukola gwali munene nnyo. Okugatta ku ekyo, waayita ekiseera kitono ne bafuna okuyigganyizibwa okw’amaanyi. Okuyigganyizibwa okwo kwamala emyaka 15 era mpolampola Abayudaaya baggwaamu amaanyi. (Ezer. 4:1-4) Embeera yeeyongera okwonooneka mu mwaka gwa 522 E.E.T., kabaka Omuperusi bwe yabalagira okulekera awo kuzimba Yerusaalemi. Yerusaalemi kyalabika ng’ekitandizzeemu kuzimbibwa.—Ezer. 4:21-24.
5. Yakuwa yakola ki ng’abantu be balekedde awo okuzimba yeekaalu?
5 Yakuwa yali amanyi abantu be kye baali beetaaga. Mu kwolesebwa okusembayo kwe yawa Zekkaliya, Yakuwa yakakasa Abayudaaya nti yali abaagala era nti yali asiimye ebintu bye baali baakakolako, era yabakakasa nti yandibakuumye singa bandizzeemu okukola omulimu gwe. Yakuwa yabakakasa nti ‘bwe bandiwulirizza eddoboozi lye,’ bandisobodde okuddamu okuzimba yeekaalu.—Zek. 6:15.
EGGYE LYA BAMALAYIKA
6. (a) Okwolesebwa okw’omunaana Zekkaliya kwe yafuna kutandika kutya? (Laba ekifaananyi ku lupapula 26.) (b) Lwaki embalaasi zirina langi za njawulo?
6 Okwolesebwa okw’omunaana era okwasembayo, Zekkaliya kwe yafuna kuzzaamu nnyo amaanyi. (Soma Zekkaliya 6:1-3.) Zekkaliya yalaba amagaali ana nga gava ‘wakati w’ensozi bbiri ez’ekikomo.’ Kirabika amagaali ago gaali ga lutalo. Embalaasi ezaali zisika amagaali ago zaali za langi za njawulo. Oboolyawo ekyo kyali kya kuyamba Zekkaliya okwawula abavuzi b’amagaali ago. Zekkaliya yabuuza malayika nti: “Biki ebyo?” (Zek. 6:4) Naffe twagala okutegeera amakulu g’okwolesebwa okwo kubanga kutukwatako.
Yakuwa akyakozesa bamalayika okukuuma abantu be n’okubazzaamu amaanyi
7, 8. (a) Ensozi ebbiri zikiikirira ki? (b) Lwaki ensozi ezo za kikomo?
7 Mu Bayibuli oluusi ensozi zikiikirira obwakabaka oba obufuzi. Ensozi ebbiri ezoogerwako mu kwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna ze zimu n’ensozi ebbiri ezoogerwako mu bunnabbi bwa Danyeri. Olusozi olumu lukiikirira obufuzi bwa Yakuwa obw’obutonde bwonna era obw’emirembe n’emirembe, ate olusozi olulala lukiikirira Obwakabaka bwa Masiya obwakwasibwa Yesu. (Dan. 2:35, 45) Okuva Yesu lwe yatuuzibwa ku ntebe y’Obwakabaka mu 1914, ensozi ezo zombi zibaddewo era zikoze kinene mu kutuukirizibwa kw’ekigendererwa kya Katonda ku nsi.
8 Lwaki ensozi ezo za kikomo? Okufaananako zzaabu, ekikomo nakyo kya muwendo nnyo era kimasamasa. Yakuwa yalagira Abayisirayiri okukozesa ekikomo mu kuzimba weema entukuvu ne mu kuzimba yeekaalu eyali mu Yerusaalemi. (Kuv. 27:1-3; 1 Bassek. 7:13-16) Okuba nti ensozi ezo za kikomo kiraga nti obufuzi bwa Yakuwa n’Obwakabaka bwa Masiya bwa mutindo gwa waggulu nnyo. Obwakabaka obwo bujja kuleetera abantu emirembe n’emikisa mingi nnyo.
9. Abo abaali bavuga amagaali be baani, era mulimu ki ogwabaweebwa?
9 Kati ka tuddemu tulowooze ku magaali. Amagaali ago n’abavuzi baago bikiikirira ki? Abavuzi b’amagaali ago bamalayika, oboolyawo nga bibinja bya bamalayika eby’enjawulo. (Soma Zekkaliya 6:5-8.) Baafuluma nga bava “mu maaso ga Mukama w’ensi yonna” okugenda okukola omulimu ogw’enjawulo ogwali gubaweereddwa. Mulimu ki ogwabaweebwa? Baalina ebitundu eby’enjawulo gye baali basindikiddwa. Obuvunaanyizibwa bwabwe bwali bwa kukuuma bantu ba Yakuwa baleme kutuusibwako kabi, nnaddala okuva “mu nsi ey’ebukiikakkono,” kwe kugamba, Babulooni. Yakuwa yandikakasizza nti Babulooni teddamu kutwala bantu be mu buwambe. Ekyo nga kiteekwa okuba nga kyazzaamu nnyo amaanyi Abayudaaya abaaliwo mu kiseera kya Zekkaliya abaali bazimba yeekaalu! Baali tebeetaaga kweraliikirira nti abalabe bandibalemesezza okuzimba yeekaalu.
10. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna okukwata ku magaali n’abavuzi baago kukakasa ki abantu ba Katonda leero?
10 Nga bwe kyali mu kiseera kya Zekkaliya, ne leero Yakuwa ow’eggye akyakozesa bamalayika be okukuuma n’okuzzaamu abantu be amaanyi. (Mal. 3:6; Beb. 1:7, 14) Okuva Isirayiri ow’omwoyo bwe yateebwa okuva mu Babulooni Ekinene mu 1919, tewali kintu kyonna, ka kube kuyigganyizibwa okw’amaanyi, kisobodde kulemesa kusinza okw’amazima kugenda mu maaso. (Kub. 18:4) Olw’okuba bamalayika batukuuma, tetusaanidde kutya nti ekibiina kya Yakuwa kijja kuddamu okutwalibwa mu buwambe bw’amadiini ag’obulimba. (Zab. 34:7) Mu kifo ky’ekyo, tuli bakakafu nti abantu ba Katonda bajja kweyongera okumuweereza n’obunyiikivu. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kutuyamba okukiraba nti tulina obukuumi okuva eri ensozi ebbiri.
11. Lwaki tetusaanidde kutya bulumbaganyi obujja okukolebwa ku bantu ba Katonda mu kiseera eky’omu maaso?
11 Mu kiseera ekitali kya wala gavumenti z’ensi ya Sitaani zijja kwegatta wamu nga zirina ekigendererwa eky’okulumba abantu ba Katonda zibasaanyeewo. (Ezk. 38:2, 10-12; Dan. 11:40, 44, 45; Kub. 19:19) Obunnabbi bwa Ezeekyeri bugeraageranya eggye eryo ku kire ekibisse ensi era bulaga nti lijja kujja nga lirina obusungu bungi era nga lyebagadde embalaasi. (Ezk. 38:15, 16) * Ekyo kyanditutiisizza? Nedda! Tulina eggye eddene eritukuuma. Mu kiseera ekyo eky’akazigizigi ng’ekibonyoobonyo ekinene kigenda mu maaso, eggye lya bamalayika lijja kukuuma abantu be era lizikirize abo bonna abatawagira bufuzi bwa Katonda. (2 Bas. 1:7, 8) Olwo nga lujja kuba lunaku lwa njawulo nnyo! Naye ani anaakulemberamu eggye eryo ery’omu ggulu?
YAKUWA ASSA ENGULE KU KABAKA WEERA KABONA WE
12, 13. (a) Kiki Zekkaliya kyagambibwa okukola? (b) Lwaki kiyinza okugambibwa nti Mutunsi akiikirira Yesu Kristo?
12 Zekkaliya yafuna okwolesebwa kwa mirundi munaana era okwolesebwa okwo yakulaba yekka. Naye kati yagambibwa okukola ekintu abalala kye bandirabye era ng’ekyo kye yakola kyazzaamu amaanyi abo abaali bakola omulimu ogw’okuzimba yeekaalu ya Katonda. (Soma Zekkaliya 6:9-12.) Yakuwa yagamba Zekkaliya okuggya ffeeza ne zzaabu ku Keludayi, Tobiya, ne Yedaya abaali baakava e Babulooni abikolemu “engule ey’ekitiibwa.” (Zek. 6:11, obugambo obuli wansi.) Engule eyo Zekkaliya yalagirwa kugiteeka ku Gavana Zerubbaberi eyali ow’omu kika kya Yuda era eyali ava mu lunyiriri lwa Dawudi? Nedda. Abaaliwo bateekwa okuba nga beewuunya nnyo okulaba ng’engule agitadde ku mutwe gwa Yoswa, kabona asinga obukulu.
13 Okutikkira Yoswa kabona asinga obukulu engule kyamufuula kabaka? Nedda. Yoswa teyali wa mu lunyiriri lwa Dawudi olwavangamu bakabaka. Eky’okumutikkira engule kyali kya bunnabbi nga kisonga ku kabaka era kabona eyandifuze emirembe n’emirembe mu biseera eby’omu maaso. Kabona oyo asinga obukulu eyandirondeddwa okufuga nga kabaka ayitibwa Mutunsi oba Ensibuka. Ebyawandiikibwa byoleka kaati nti Mutunsi ye Yesu Kristo.—Is. 11:1.
14. Buvunaanyizibwa ki Yesu bw’alina nga Kabaka era Kabona Asinga Obukulu?
14 Yesu, Kabaka era Kabona Asinga Obukulu, y’akulemberamu eggye lya Yakuwa ery’omu ggulu. Yesu akakasa nti abantu ba Yakuwa babeera mu mirembe wadde nga bali mu nsi embi. (Yer. 23:5, 6) Mu kiseera ekitali kya wala, Yesu ajja kukulemberamu eggye ery’omu ggulu okulwanyisa amawanga agawakanya Obufuzi bwa Yakuwa era ajja kulwanirira abantu ba Yakuwa. (Kub. 17:12-14; 19:11, 14, 15) Kyokka nga tannakola ekyo, Yesu alina omulimu omukulu gw’asooka okukola.
AJJA KUZIMBA YEEKAALU
15, 16. (a) Abantu ba Katonda bazziddwawo batya era balongooseddwa batya leero, era ani akoze omulimu ogwo? (b) Ensi eneeba etya ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi?
15 Ng’oggyeeko okuweereza nga Kabaka era Kabona Asinga Obukulu, Yesu era yaweebwa omulimu ‘gw’okuzimba yeekaalu ya Yakuwa.’ (Soma Zekkaliya 6:13.) Mu kiseera kyaffe, omulimu gwa Yesu ogw’okuzimba gwazingiramu okuggya Abakristaayo ab’amazima mu Babulooni ekinene n’okuzzaawo ekibiina Ekikristaayo mu 1919. Era Yesu yalonda “omuddu omwesigwa era ow’amagezi” okutwala obukulembeze mu mulimu ogukolebwa ku nsi mu mpya za yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. (Mat. 24:45) Ate era Yesu alongoosezza abantu ba Katonda basobole okusinza Katonda mu ngeri gy’asiima.—Mal. 3:1-3.
16 Mu kiseera ky’Obufuzi obw’Emyaka Olukumi, Yesu awamu ne 144,000 abanaafugira awamu naye nga bakabaka era nga bakabona bajja kusobozesa abantu abeesigwa okufuuka abatuukiridde. Ekyo bwe banaamala okukikola, ensi yonna ejja kusigalako baweereza ba Katonda ab’amazima bokka. Kyaddaaki okusinza okw’amazima kujja kuba kuzziddwawo mu nsi yonna!
WEENYIGIRE MU MULIMU GW’OKUZIMBA
17. Kiki ekirala Yakuwa kye yakakasa Abayudaaya, era kyabakwatako kitya?
17 Obubaka bwa Zekkaliya bwakwata butya ku bantu b’omu kiseera kye? Yakuwa yali abakakasizza okubayamba n’okubakuuma basobole okumaliriza omulimu gw’okuzimba. Ekyo kyabawa essuubi era kyabazzaamu amaanyi. Naye abantu abatono bwe batyo bandisobodde batya okukola omulimu ogwo? Ebigambo Zekkaliya bye yaddako okwogera biteekwa okuba nga byabagumya nnyo. Ng’oggyeeko okufuna obuwagizi Zekkaliya 6:15.) Nga bakakafu nti Katonda yandibayambye, Abayudaaya baddamu okuzimba yeekaalu wadde ng’omulimu ogwo gwali guwereddwa. Okuwerebwa okwo kwali ng’olusozi olwali lwekiise mu mulimu gwabwe naye Yakuwa n’aluggyawo. Yeekaalu yamalirizibwa okuzimbibwa mu 515 E.E.T. (Ezer. 6:22; Zek. 4:6, 7) Naye ebigambo bya Yakuwa ebyo bituukirizibwa ku kigero ekisingawo mu kiseera kyaffe.
okuva mu basajja abeesigwa gamba nga Keludayi, Tobiya, ne Yedaya, Katonda yalaga nti wandibaddewo n’abalala bangi ‘abandizze ne bazimba yeekaalu ya Yakuwa.’ (Soma18. Ebigambo ebiri mu Zekkaliya 6:15 bituukirira bitya leero?
18 Leero, abantu bukadde na bukadde beegatta ku kusinza okw’amazima era bawaayo okuva ku ntobo y’omutima gwabwe ‘ebintu byabwe eby’omuwendo,’ omuli ebiseera byabwe, amaanyi gaabwe, n’eby’obugagga byabwe okuwagira omulimu ogukolebwa mu yeekaalu ya Yakuwa ey’eby’omwoyo. (Nge. 3:9) Kiki ekiraga nti Yakuwa asiima ebyo byonna bye tukola okuwagira okusinza okw’amazima? Kijjukire nti Keludayi, Tobiya, ne Yedaya baaleeta ebintu Zekkaliya bye yakozesa okukola engule. Engule eyo yakola “ng’ekijjukizo” olw’ekyo kye baakola okuwagira okusinza okw’amazima. (Zek. 6:14.) Mu ngeri y’emu, omulimu gwe tukola okuwagira okusinza okw’amazima n’okwagala kwe twoleka Yakuwa tasobola kubyerabira. (Beb. 6:10) Yakuwa ajja kubijjukira emirembe gyonna.
19. Okwolesebwa Zekkaliya kwe yafuna kwanditukutteko kutya?
19 Ebyo byonna bye tusobodde okutuukako mu kusinza okw’amazima mu nnaku zino ez’enkomerero biraga nti Yakuwa atuwa emikisa era nti Yesu atukulembera. Tuli mu kibiina ekinywevu, ekirina obukuumi, era ekijja okubeerawo emirembe gyonna. Ekigendererwa kya Yakuwa eky’okuzzaawo okusinza okw’amazima kijja kutuukirira. Enkizo gy’olina ey’okuba mu kibiina kya Yakuwa gitwale nga ya muwendo era fuba ‘okuwuliriza eddoboozi lya Yakuwa Katonda wo.’ Bw’onookola bw’otyo, Kabaka waffe era Kabona Asinga Obukulu awamu n’abavuzi b’amagaali ab’omu ggulu bajja kukukuuma. Wagira mu bujjuvu okusinza okw’amazima. Bw’onookola bw’otyo, Yakuwa ow’eggye ajja kukukuuma mu kiseera ekisigaddeyo eky’ennaku zino ez’enkomerero era ajja kukukuuma emirembe gyonna!
^ lup. 11 Okumanya ebisingawo laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Omunaala gw’Omukuumi, ogwa Maayi 15, 2015, lup. 29-30.