EBYAFAAYO
Okukola Yakuwa by’Atugamba Okukola Kivaamu Emikisa
“Ekyo tujja kukikola!” Nze n’omwami wange awamu ne mwannyinaze ne mukyala we bwe tutyo bwe twaddamu nga batusabye okubaako kaweefube gwe twenyigiramu. Lwaki twakkiriza okwenyigira mu kaweefube oyo, era mikisa ki Yakuwa gye yatuwa? Ka nsooke mbabuulire ebinkwatako.
NNAZAALIBWA mu 1923 mu kabuga akayitibwa Hemsworth akasangibwa mu Yorkshire, mu Bungereza. Nnalina mwannyinaze omu ayitibwa Bob era ye yali omukulu ku nze. Bwe nnali wa myaka nga mwenda, taata wange, eyali yakyawa obunnanfuusi bw’amadiini, yafuna ebitabo ebyali byanika obunnanfuusi bw’amadiini. Bye yasoma byamukwatako nnyo. Nga wayise emyaka mitono, Bob Atkinson yajja awaka n’atuteerako emboozi z’Ow’oluganda Rutherford ku gramufomu. Twakiraba nti ebyo bye twali tuwuliriza byali biva mu bantu be bamu abaakuba ebitabo ebyo! Bazadde bange baasaba Ow’oluganda Atkinson alyenga naffe eky’eggulo asobole okuddamu ebibuuzo bye twalina ebikwata ku Bayibuli. Twayitibwa okugendanga mu nkuŋŋaana ezaali mu maka g’ow’oluganda omu eyali abeera mayiro ntonotono okuva ewaffe. Twatandika okugenda mu nkuŋŋaana era ekibiina kyatandikibwawo mu Hemsworth. Mu kiseera kitono, twatandika okusuza abaweereza ba zooni (kati abayitibwa abalabirizi abakyalira ebibiina) era twasembezanga ne bapayoniya okuliirako awamu naffe emmere. Okubeerako awamu n’ab’oluganda abo kyannyamba nnyo.
Twalina bizineesi gye twali tutandiseewo, naye taata n’agamba mwannyinaze nti, “Bw’oba oyagala okuweereza nga payoniya, bizineesi eyo tulina okugireka.” Bob yakkiriza, era n’ava awaka nga wa myaka 21, n’agenda okuweereza nga payoniya. Oluvannyuma lw’emyaka ebiri nange nnatandika okuweereza nga payoniya nga nnina emyaka 16. Ng’oggyeeko wiikendi, emirundi egisinga nnabuuliranga nzekka nga nkozesa bukaadi ne gramufomu. Naye Yakuwa yannyamba ne nfuna omuyizi wa Bayibuli eyakulaakulana. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, bangi ku b’eŋŋanda ze nabo bakkiriza amazima. Omwaka ogwaddako nnalondebwa okuweereza nga payoniya ow’enjawulo nga mpeerereza wamu ne Mary Henshall. Twasindikibwa mu ssaza ly’e Cheshire mu kitundu ekitaalina kibiina kikibuuliramu.
Mu kiseera ekyo Ssematalo II yali agenda mu maaso era n’abakazi baagambibwa okuyambako mu magye. Olw’okuba twali mu buweereza obw’ekiseera kyonna, ffe bapayoniya twali tulowooza nti bajja kutukkiriza obuteenyigira mu ntalo nga bwe kyali eri abakulu Is. 41:10, 13.
b’amadiini. Naye ekyo kkooti teyakikkiriza era nnasibibwa mu kkomera okumala ennaku 31. Omwaka ogwaddako bwe nnaweza emyaka 19, nnasaba nzikirizibwe obutayingira magye. Nnawozesebwa mu kkooti za mirundi ebiri naye ng’omusango gwange bagugoba. Kyokka mu mbeera eyo yonna, nnali mukakafu nti omwoyo omutukuvu gwali gunnyamba era nti Yakuwa yali ankutte ku mukono ng’ampa amaanyi.—MUKOZI MUNNANGE OMUPYA
Nze ne Arthur Matthews twasisinkana mu 1946. Mu kiseera ekyo Arthur yali yaakava mu kkomera oluvannyuma lw’okusibibwa okumala emyezi esatu olw’okugaana okuyingira amagye, era yeegatta ku muganda we Dennis, eyali aweereza nga payoniya ow’enjawulo mu Hemsworth. Arthur ne Dennis, taata waabwe yabayigiriza ebikwata ku Yakuwa okuviira ddala mu buto era ne babatizibwa nga bali mu myaka egy’obutiini. Nga wayise ekiseera kitono Dennis yasindikibwa okuweerereza mu Ireland, n’aleka Arthur nga talina gw’abuulira naye. Olw’okuba bazadde bange baakiraba nti Arthur yali payoniya munyiikivu era nga yeeyisa bulungi, baamugamba agende abeere nabo. Bwe nnajjanga awaka, nze ne Arthur twayorezanga wamu ebintu oluvannyuma lw’okulya emmere. Era oluvannyuma lw’ekiseera, twatandika okwewandiikira amabaluwa. Mu 1948, Arthur yaddamu okusibibwa mu kkomera okumala emyezi esatu. Twafumbiriganwa mu Jjanwali 1949 era twalina ekiruubirirwa eky’okusigala mu buweereza obw’ekiseera kyonna. Yakuwa yatuwa emikisa mingi era twafuba okuba abatetenkanya. Twakolanga omulimu ogw’okukungula ebibala, era omwo mwe twaggyanga ssente ezaatuyamba okweyimirizaawo ne tusobola okweyongera okuweereza nga bapayoniya.
Nga wayise omwaka nga gumu, twasindikibwa okuweerereza mu Northern Ireland, era twasookera Armagh oluvannyuma ne tugenda e Newry, era ebitundu ebyo byombi okusinga byalimu Bakatuliki. Embeera mu kitundu ekyo teyali nnyangu era twalina okwegendereza ennyo nga twogera n’abantu. Enkuŋŋaana twazifuniranga mu maka g’ow’oluganda omu eyali abeera mayiro kkumi okuva we twali tubeera. Abantu nga munaana be baabangawo mu nkuŋŋaana. Bwe baatugambanga okusula, twasulanga wansi era enkeera twalyanga eky’enkya ekiwoomu. Kinsanyusa nnyo okulaba nti kati mu kitundu ekyo eriyo Abajulirwa ba Yakuwa bangi.
“EKYO TUJJA KUKIKOLA!”
Mwannyinaze ne mukyala we, Lottie, baali baweereza nga bapayoniya ab’enjawulo mu Northern Ireland, era mu 1952 ffenna abana twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Belfast. Ffenna abana awamu ne Pryce Hughes eyali aweereza ng’omuweereza w’ettabi mu Bungereza twasula mu maka g’ow’oluganda omu. Lumu ekiro twayogera ku katabo God’s Way Is Love, akaali kafulumiziddwa okusingira ddala okugabibwa mu Ireland. Ow’oluganda Hughes yayogera ku buzibu obwali mu kubuulira abantu b’omu Ireland abaali Abakatuliki. Ab’oluganda mu Ireland baagobebwanga mu mayumba era ne balumbibwa ebibinja by’abantu abaabanga basindikiddwa abakulu b’eddiini. Pryce yagamba nti: “Twetaaga abafumbo abalina emmotoka beenyigire mu kaweefube ow’okugaba akatabo kano mu Ireland.” * Twamuddamu nti, “Ekyo tujja kukikola!” Ebyo bye bigambo bye njogeddeko ku ntandikwa.
Bapayoniya bangi baasulako mu maka ga mwannyinaffe Ma Rutland eyali abeera mu Dublin, era eyaweereza Yakuwa n’obwesigwa okumala emyaka mingi. Naffe twasulako mu maka ago era bwe twamala okutunda ebimu ku bintu byaffe, ffenna abana twalinnya ppikipiki ya Bob eyali asobola okwetikka abantu abangi ne tugenda okunoonya emmotoka. Twagula emmotoka enkozeseeko era oyo gwe twagigulako twamusaba agituvugire okutuuka eka kubanga tewali n’omu ku ffe yali amanyi kuvuga. Ekiro ekyo kyonna Arthur yakimala atudde ku buliri nga yeegezaamu nga bw’anaavuga emmotoka. Enkeera bwe yali agezaako okufulumya emmotoka mu ggalagi, omuminsani omu ayitibwa Mildred Willett (oluvannyuma eyafumbirwa John Barr) yajja. Ye yali asobola okuvuga! Arthur yeegezaamu okumala akaseera katono era n’ayiga okuvuga!
Ate era twali twetaaga ekifo aw’okusula. Baatugamba okwewala okusula mu kyana ky’emmotoka kubanga abantu abaali bataagala mulimu gwaffe baali bayinza okukikumako omuliro. Bwe kityo, twanoonya ennyumba naye n’etubula. Ekiro ekyo, ffenna abana twasula mu mmotoka. Ku lunaku olwaddako, ekifo kyokka aw’okusula kye twasobola okufuna kye kyana ky’emmotoka ekyalimu ebitanda bibiri. Eyo ye yafuuka ennyumba yaffe. Naye tetwabulwanga wa kukisimba kubanga abalimi ab’ekisa baatukkirizanga okukisimba ku bibanja byabwe. Twasookanga kubuulira mu kitundu ekyabanga kyesudde mayiro 10 oba 15, oluvannyuma ne tulyoka tubuulira mu kitundu mwe twabanga tusimbye ekyana ky’emmotoka.
Twatuuka mu maka gonna agaali mu bukiikaddyo bwa Ireland era tetwafuna buzibu bwonna. Twagaba obutabo obusukka mu 20,000 era amannya g’abantu abaali baagala okumanya ebisingawo ne tugaweereza ku ofiisi y’ettabi ey’e Bungereza. Nga kya ssanyu okuba nti kati mu kitundu ekyo eriyo Abajulirwa ba Yakuwa bangi nnyo!
TUDDAYO E BUNGEREZA OLUVANNYUMA NE TUGENDA E SCOTLAND
Oluvannyuma lw’ekiseera, twasindikibwa okuweerereza mu bukiikaddyo bwa London. Twali twakabeerayo wiiki ntono, Arthur n’afuna essimu okuva ku ofiisi y’ettabi ey’omu Bungereza nga bamugamba nti enkeera atandike omulimu gw’okukyalira ebibiina! Oluvannyuma lw’okutendekebwa okumala wiiki emu, twagenda okukyalira ebibiina mu Scotland. Arthur teyalina budde bumala kutegeka mboozi ze yalina okuwa, naye okuba nti yali mwetegefu okwaŋŋanga okusoomooza kwonna kwe yafunanga ng’aweereza Yakuwa kyanzizzaamu nnyo amaanyi. Twanyumirwa nnyo omulimu gw’okukyalira ebibiina. Twali tumaze emyaka mingi nga tubeera mu bitundu ebitaliimu Bajulirwa ba Yakuwa bangi, naye kati twali tuweereza mu bitundu omuli ab’oluganda abangi.
Mu 1962, Arthur yayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi okumala emyezi kkumi, era twalina okusalawo oba akkirize okugenda oba nedda. Twakiraba nti wadde nga nnali ŋŋenda kusigala nzekka, kyali kituufu Arthur okukkiriza enkizo eyo. Okuva bwe kiri nti nnali wa kusigala nga sirina gwe mbuulira naye, nnasindikibwa e Hemsworth mpeereze nga payoniya ow’enjawulo. Arthur bwe yakomawo nga wayise omwaka gumu, yalondebwa okuweereza ng’omulabirizi wa disitulikiti
mu Scotland, mu bukiikakkono bwa Bungereza, ne mu Northern Ireland.TUWEEBWA ENKIZO ENDALA MU IRELAND
Mu 1964, Arthur yalondebwa okuweereza ng’omuweereza w’ettabi mu Ireland. Twali tunyumirwa nnyo omulimu gw’okukyalira ebibiina, era mu kusooka saasanyukira nkyukakyuka eyo. Naye kati nkiraba nti okuweereza ku Beseri nkizo ya maanyi. Nkirabye nti bw’okkiriza okukola kyonna Yakuwa ky’aba akugambye okukola ne bw’oba nga muli owulira tokyagala, Yakuwa akuwa emikisa. Ku Beseri nnakolanga mu ofiisi, nnapakiranga ebitabo, nnafumbanga, era nnakolanga omulimu gw’okuyonja. Ebiseera ebimu twasindikibwanga okukyalira ebibiina era ekyo kyatusobozesa okusisinkana ab’oluganda bangi mu Ireland. Okukyalira ebibiina n’okulaba ng’abantu be twayigiriza Bayibuli bakulaakulana kyatuleetera essanyu lingi nnyo.
EKINTU EKIKULU MU BYAFAAYO BY’ABANTU BA YAKUWA MU IRELAND
Olukuŋŋaana olunene olubaamu ab’oluganda okuva mu mawanga ag’enjawulo olwasooka okubaawo mu Ireland lwaliwo mu 1965 mu kibuga Dublin. * Wadde nga waaliwo okuziyizibwa okw’amaanyi olukuŋŋaana olwo lwagenda mu maaso. Abantu 3,948 be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo era abaabatizibwa baali 65. Abo bonna abaasuza ab’oluganda 3,500 abaava mu nsi endala baaweebwa amabaluwa okubeebaza. Abo abaasuza ab’oluganda abo baatendereza ab’oluganda abo olw’enneyisa ennungi. Mu butuufu olukuŋŋaana olwo lwali lwa byafaayo.
Mu 1966 ofiisi y’ettabi ey’omu bukiikakkono n’ey’omu bukiikaddyo bwa Ireland zassibwa wansi wa ofiisi y’ettabi ey’omu Dublin, era ekyo kyalaga enjawulo ey’amaanyi wakati w’abaweereza ba Yakuwa n’abantu ab’omu bitundu ebyo abaalina enjawukana ez’amaanyi mu madiini ne mu by’obufuzi. Kyatusanyusa nnyo okulaba ng’Abakatuliki bangi bayiga amazima era ne baweerereza wamu n’aboluganda edda abaali Abapolotesitante.
ENKYUKAKYUKA EY’AMAANYI
Mu 2011 wajjawo enkyukakyuka ey’amaanyi mu bulamu bwaffe ettabi ly’omu Bungereza n’ery’omu Ireland bwe gaagattibwa wamu era ne tusindikibwa okugenda okuweereza ku Beseri y’e London. Ekyo kyaliwo mu kiseera nga ntandise okweraliikirira embeera y’obulamu bwa Arthur. Abasawo baali bakizudde nti Arthur yalina obulwadde obw’okukankana. Nga Maayi 20, 2015, munnange oyo gwe nnali mmaze naye emyaka 66 yanfaako.
Mu myaka emitono egiyise, mbadde n’obulumi bungi ku mutima era oluusi nga nnennyamira. Arthur bwe yali akyali mulamu, yaŋŋumyanga. Mu butuufu yansaala nnyo! Naye bw’oyita mu mbeera nga zino, weeyongera okwesiga Yakuwa. Era kinzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti ab’oluganda bangi baali baagala nnyo Arthur. Nfunye amabaluwa mangi okuva mu Ireland, mu Bungereza, ne mu America. Amabaluwa ago, awamu n’ebigambo ebibudaabuda okuva eri Dennis muganda wa Arthur ne mukyala we Mavis, n’okuva eri Ruth ne Judy, abaana ba mwannyinaze, binnyambye nnyo.
Ekyawandiikibwa ekisinga okunzizaamu ennyo amaanyi ye Isaaya 30:18 awagamba nti: “Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okubalaga ekisa, era aliyimuka okubasaasira. Kubanga Yakuwa Katonda wa bwenkanya. Balina essanyu abo bonna abamulindirira.” Kinzizaamu nnyo amaanyi okukimanya nti Yakuwa alindirira n’obugumiikiriza okutereeza embeera era atuwe emirimu mingi mu nsi empya.
Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa awadde omukisa omulimu gw’Obwakabaka mu Ireland. Ngitwala nga nkizo ya maanyi okuba nti nange nnaweerezaako mu Ireland. Mu butuufu, bwe tukola ebyo Yakuwa by’aba atugambye okukola kivaamu emikisa mingi.