Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Bayibuli eyogera ki ku kukuba ebirayiro?
Okukuba ekirayiro kitegeeza “omuntu okukakasa mu lujjudde nti ajja kutuukiriza ekyo kye yeeyamye, era ng’emirundi egisinga akoowoola Katonda okuba omujulizi.” Ekirayiro kiyinza okwogerwa mu bigambo oba kiyinza okuteekebwa mu buwandiike.
Abamu bayinza okulowooza nti kikyamu okukuba ekirayiro kubanga Yesu yagamba nti: “Temulayiranga n’akatono . . . Naye ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda; ekisingako awo kiva eri omubi.” (Mat. 5:33-37) Yesu yali akimanyi nti amateeka agamu Katonda ge yawa Musa gaali galagira Abayisirayiri okulayira, era waliwo n’abaweereza ba Katonda abeesigwa abaalayira. (Lub. 14:22, 23; Kuv. 22:10, 11) Ate era yali akimanyi nti waliwo emirundi Yakuwa kennyini lwe yalayira. (Beb. 6:13-17) N’olwekyo Yesu yali tategeeza nti kikyamu okulayira, wabula yali atulabula obutamala galayira. Bulijjo tusaanidde okutuukiriza ekyo kye tuba tweyamye kubanga ekyo Yakuwa ky’ayagala tukole.
Kati olwo wandikoze ki singa ogambibwa okukuba ekirayiro? Sooka okakase nti ojja kusobola okutuukiriza ekyo ky’ogenda okweyama. Bw’oba nga toosobole kukituukiriza, kiba kirungi n’otolayira. Ekigambo kya Katonda kigamba nti: “Waakiri oleme okweyama, okusinga okweyama n’ototuukiriza.” (Mub. 5:5) Ate era lowooza ku misingi gya Bayibuli egikwata ku ekyo ky’ogenda okweyama era osalewo ng’osinziira ku muntu wo ow’omunda. Egimu ku misingi egyo gye giruwa?
Ebirayiro ebimu tebikontana na misingi gya Bayibuli. Ng’ekyokulabirako, Abajulirwa ba Yakuwa bakuba ebirayiro nga bafumbiriganwa. Abagole balayira mu maaso ga Katonda ne mu maaso g’abantu ababa baliwo nti buli omu ajja kwagala munne era amuwe ekitiibwa, era basuubiza nti ekyo bajja kukikola “obulamu bwabwe bwonna.” (Abagole abalala bayinza obutayogera bigambo bye bimu ebyo, naye era baba balayidde mu maaso ga Katonda.) Oluvannyuma balangirirwa nti bafuuse omwami n’omukyala abafumbo, era obufumbo bwabwe buba bulina kuba bwa lubeerera. (Lub. 2:24; 1 Kol. 7:39) Enteekateeka eyo etuukana n’ekigendererwa kya Katonda.
Ebirayiro ebimu bikontana n’ebyo Katonda by’ayagala. Omukristaayo ow’amazima tasobola kukuba birayiro bya kulwanirira nsi ye ng’akozesa eby’okulwanyisa oba okwegaana enzikiriza ye. Bw’akola bw’atyo, aba amenye amateeka ga Katonda. Abakristaayo ab’amazima “si ba nsi.” N’olwekyo, tetwenyigira mu nkaayana z’ensi ne mu ntalo.—Yok. 15:19; Is. 2:4; Yak. 1:27.
Ebirayiro ebimu Omukristaayo asobola okusalawo okubikuba oba obutabikuba. Oluusi kiyinza okutwetaagisa okupimaapimamu okulaba Luk. 20:25.
obanga tunaakuba ebirayiro ebimu, nga tulowooza ku bigamba bya Yesu ebigamba nti: “Ebya Kayisaali mubiwe Kayisaali, naye ebya Katonda mubiwe Katonda.”—Ng’ekyokulabirako, ka tugambe nti Omukristaayo ayagala okufuna obutuuze bw’ensi endala oba paasipooti, era n’akimanyaako nti alina okubaako ekirayiro ky’akuba. Bwe kiba nti ebimu ku ebyo biri mu kirayiro ekyo bikontana n’amateeka ga Katonda, omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli tajja kumukkiriza kukuba kirayiro ekyo. Kyokka gavumenti eyinza okumukkiriza okukyusaamu ebimu ku bigambo ebiri mu kirayiro ekyo, asobole okukikuba ng’omuntu we ow’omunda tamulumiriza.
Okukuba ekirayiro ng’ekyo kiba kituukagana n’omusingi oguli mu Abaruumi 13:1, awagamba nti: “Buli muntu agonderenga ab’obuyinza.” N’olwekyo, Omukristaayo ayinza okukiraba nti si kikyamu kulayira kukola kintu Katonda ky’amwetaagisa okukola.
Ate era singa ogambibwa okubaako ekintu ky’okozesa oba ky’okola ng’olayira, awo nawo oba weetaaga okukozesa omuntu wo ow’omunda. Abaruumi ab’edda n’Abasukusi baalayiranga nga bakutte ebitala byabwe era nga bakoowoola katonda ow’entalo okulaga nti ekirayiro omuntu kye yabanga akubye kyesigika. Abayonaani baawanikanga omukono waggulu nga balayira. Mu ngeri eyo, baalaganga nti waaliwo katonda eyali awulira bye boogera era eyali alaba bye baali bakola.
Kyo kituufu nti omuweereza wa Katonda tasobola kulayira ng’akozesa akabonero k’eggwanga oba ekintu kyonna ekikwataganyizibwa n’okusinza okw’obulimba. Naye watya singa bakugamba mu kkooti nti okwate ku Bayibuli era olayire nti byonna by’ogenda okwogera bituufu? Ekyo oyinza okukikola, okuva bwe kiri nti Ebyawandiikibwa biraga nti waliwo n’abaweereza ba Katonda abeesigwa abaliko ebintu bye baakola nga balayira. (Lub. 24:2, 3, 9; 47:29-31) Naye osaanidde okukijjukira nti bw’okuba ekirayiro ng’ekyo, oba olayira mu maaso ga Katonda nti ogenda kwogera mazima. N’olwekyo olina okuba omwetegefu okwogera amazima ng’oddamu buli kibuuzo kye banaakubuuza.
Olw’okuba enkolagana yaffe ne Yakuwa tugitwala nga kintu kikulu nnyo, tusaanidde okusooka okusaba Yakuwa era n’okukakasa nti ekirayiro kye tugenda okukuba tekikontana na misingi gya Bayibuli, era tekireetera muntu waffe ow’omunda okutulumiriza. Bwe tusalawo okukuba ekirayiro, tulina okuba abeetegefu okutuukiriza ekyo kye tuba tweyamye.—1 Peet. 2:12.