OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2017
Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Agusito 28 okutuuka nga Ssebutemba 24, 2017.
Beewaayo Kyeyagalire—Mu Butuluuki
Mu 2014, Abajulirwa ba Yakuwa baakola kaweefube ow’enjawulo ow’okubuulira mu Butuluuki. Lwaki baakola kaweefube oyo? Biki ebyavaamu?
Noonya eby’Obugagga Ebya Nnamaddala
Oyinza otya okukozesa eby’obugagga byo okunyweza enkolagana yo ne Katonda?
“Mukaabire Wamu n’Abo Abakaaba”
Omuntu afiiriddwako omuntu we ayinza atya okubudaabudibwa? Oyinza otya okumuyamba?
Lwaki Tusaanidde Okutendereza Yakuwa?
Zabbuli 147 etuyamba okulaba ebintu ebitali bimu ebyanditukubirizza okutendereza Katonda n’okumwebaza.
Yakuwa k’Awe “Enteekateeka Zo Zonna Omukisa”
Abavubuka balina okusalawo engeri gye banaakozesaamu obulamu bwabwe. Ekyo si kyangu naye Yakuwa awa omukisa abo abamwesiga.
Weewale Okutwalirizibwa Pokopoko
Sitaani asaasaanya pokopoko. Oyinza otya okumwewala?
Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiba kituufu Omukristaayo okuba n’emmundu asobole okugikozesa ng’alumbiddwa abantu abaagala okumutuusaako obulabe?