OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Jjulaayi 2018

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Ssebutemba 3-30, 2018.

BEEWAAYO KYEYAGALIRE

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Myanmar

Kiki ekyaleetera Abajulirwa ba Yakuwa bangi okugenda okuyambako mu mulimu gw’okubuulira e Myanmar?

Ani gw’Oyagala Akumanye?

Kiki kye tuyigira ku ngeri Katonda gy’alagamu abaweereza be abeesigwa nti abamanyi?

Amaaso Go Gatunudde Wa?

Tulina ekintu ekikulu kye tuyinza okuyigira ku nsobi ey’amaanyi Musa gye yakola.

“Ani Ali ku Ludda lwa Yakuwa?”

Ebyo bye tusoma ku Kayini, Sulemaani, Musa, ne Alooni biraga ensonga lwaki kya magezi okubeera ku ludda lwa Yakuwa.

Tuli ba Yakuwa

Tuyinza tutya okukiraga nti tusiima Yakuwa olw’okutusobozesa okuba n’enkolagana naye?

Fuba Okusaasira “Abantu aba Buli Ngeri”

Koppa Yakuwa ng’olaba obwetaavu bw’abalala era ng’oba mwetegefu okubayamba.

Ebibuuzo Ebiva mu Basomi

Singa omusajja n’omukazi abatali bafumbo basula bokka mu nnyumba y’emu nga tewaliwo nsonga ya maanyi ebaviiriddeko okukola ekyo, buba bukakafu obulaga nti bakoze ekibi eky’amaanyi?