Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Oyinza Otya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli n’Okugiganyulwamu?

Oyinza Otya Okunyumirwa Okusoma Bayibuli n’Okugiganyulwamu?

YOSWA ayolekaganye n’okusoomooza okw’amaanyi. Alina okukulembera Abayisirayiri okubayingiza mu Nsi Ensuubize wadde ng’ekyo tekigenda kuba kyangu. Naye Yakuwa amuzzaamu amaanyi n’amugamba nti: ‘Beera muvumu era wa maanyi. Kwata Amateeka gange. Gasomenga emisana n’ekiro, era fuba okukwata byonna ebiwandiikiddwamu osobole okutuuka ku buwanguzi era weeyise mu ngeri ey’amagezi.’​—Yos. 1:7, 8.

Mu ‘biseera bino ebizibu ennyo,’ naffe twolekaganye n’okusoomooza okw’amaanyi. (2 Tim. 3:1) Okufaananako Yoswa, naffe tusobola okutuuka ku buwanguzi singa tukolera ku magezi Yakuwa ge yamuwa. Tusaanidde okusoma Bayibuli obutayosa n’okukolera ku misingi egirimu nga tulina bye tusalawo.

Naye bangi ku ffe okusoma kuyinza okuba nga tekutunyumira era nga tekutwanguyira. Naye okuva bwe kiri nti kikulu nnyo okusoma Bayibuli, weetegereze akasanduuko “ Gezaako Amagezi Gano” olabe ebyo by’osobola okukola ebiyinza okukuyamba okunyumirwa okusoma Bayibuli n’okugiganyulwamu.

Omuwandiisi wa Zabbuli yagamba nti: “Nnuŋŋamya ntambulire mu kkubo ly’ebiragiro byo kubanga mu byo mwe nsanyukira.” (Zab. 119:35) Osobola okufuna essanyu lingi mu kusoma Ekigambo kya Katonda. Bw’okisoma n’obwegendereza osobola okuyiga ebintu bingi.

Wadde nga togenda kukulemberamu ggwanga nga Yoswa bwe yalikulembera, oyolekagana n’okusoomooza okutali kumu. N’olwekyo, okufaananako Yoswa, soma Ekigambo kya Katonda era okolere ku ebyo by’osoma. Bw’onookola bw’otyo, ojja kutuuka ku buwanguzi era ojja kweyisa mu ngeri ey’amagezi.