OMUNAALA GW'OMUKUUMI—OGW'OKUSOMA MU KIBIINA Janwali 2016

Magazini eno erimu ebitundu eby’okusoma okuva nga Febwali 29 okutuuka nga Apuli 3, 2016.

Beewaayo Kyeyagalire​—Mu Oceania

Abajulirwa ba Yakuwa abaweereza awali obwetaavu obusingako mu Oceania boolekaganye batya n’okusoomooza kwe basanze?

“Mweyongere Okwagalana ng’Ab’Oluganda”!

Ekyawandiikibwa ky’omwaka 2016 kisobola okutuyamba okwetegekera ebiseera ebijja mu maaso.

Kirage nti Osiima ‘Ekirabo kya Katonda Ekitalojjeka’

Okwagala Katonda kwe yatulaga kutukubiriza kutya okukoppa Yesu, okwagala baganda baffe, n’okusonyiwa abalala?

Omwoyo Guwa Obujulirwa n’Omwoyo Gwaffe

Omuntu afuuka atya eyafukibwako amafuta? Kiki ekibaawo ng’omuntu afukiddwako amafuta?

“Tuligenda Nammwe”

Kiki kye tusaanidde okujjukira ku 144,000?

Okukolera Awamu ne Katonda​—Kituleetera Essanyu Lingi

Okukolera awamu ne Katonda kituleetera kitya essanyu era kitukuuma kitya?