Eddiini emu ey’Ekikristaayo ey’Amazima Weeri
Eddiini emu ey’Ekikristaayo ey’Amazima Weeri
YESU KRISTO yatandikawo eddiini emu oba ekibiina kimu kyokka. Ekibiina ekyo kyali kya bya omwoyo, amaka ag’eby’omwoyo. Mu kino tuba tutegeeza nti baali bantu abakuŋŋaanyiziddwa awamu abalondeddwa omwoyo gwa Katonda omutukuvu era nga Katonda abatwala okuba “abaana” be.—Abaruumi 8:16, 17; Abaggalatiya 3:26.
Yesu yayigiriza nti Katonda yali akozesa ekkubo limu lyokka okukulembera abantu okubatuusa ku mazima ne mu bulamu. Ng’alaga amazima ago amakulu ennyo, Yesu yageraageranya eddiini etuusa abantu mu bulamu obutaggwaawo ku kkubo. Yagamba: “Muyingire mu mulyango omufunda: kubanga omulyango mugazi n’ekkubo eridda mu kuzikirira ddene, n’abo abayitamu bangi. Kubanga omulyango mufunda n’ekkubo eridda mu bulamu lya kanyigo, n’abo abaliraba batono.”—Matayo 7:13, 14; Yokaana 14:6; Ebikolwa 4:11, 12.
Ekibiina Ekiri Obumu
Tetusaanidde kulowooza nti ekibiina ekyo ekyasooka “kyali kibunye wonna mu nsi ng’eddiini y’ekikatuliki bw’eri leero,” bwe kityo ekitabo ekiyitibwa The New Dictionary of Theology bwe kigamba. Lwaki? Ekitabo ekyo kigamba nti “olw’okubanga mu kiseera ekyo tewaaliwo kibiina kyonna kya ngeri eyo ekyali kibunye ensi yonna.”
Kyeraga nti ekibiina Ekikristaayo ekyasooka kyali tekirina bwe kifaanana nteekateeka z’amadiini agaliwo leero. Wadde kiri kityo, kyali kitegeke bulungi. Ebibiina kinnakimu, tebyemaliriranga byokka. Byonna byagobereranga obulagirizi bw’akakiiko akafuzi akaali mu Yerusaalemi. Akakiiko ako akaalimu abatume n’abakadde b’omu kibiina ky’omu Yerusaalemi, kaayamba okukuuma obumu bw’ekibiina nga “omubiri ogumu” ogwa Kristo.—Abaefeso 4:4, 11-16; Ebikolwa 15:22-31; 16:4, 5.
Kiki ekyatuuka ku kibiina ekyo ekimu eky’amazima? Kyafuuka eddiini ennene ennyo ey’Ekikatuliki? Kyeyawulamu obubiina obw’Ekipolotesitanti obw’enjawulo bwe tulaba leero? Oba waliwo ekintu ekirala ekyabaawo?
“Eŋŋaano Ennungi” ne “Eŋŋaano ey’Omu Nsiko”
Okusobola okufuna eby’okuddamu, ka twekenneenye ekyo Yesu Kristo kennyini kye yagamba nti kye kyandibaddewo. Kiyinza okukwewuunyisa okumanya nti Yesu yasuubira ekibiina kye okulabika ng’ekitaliiwo era nti yandikkiriza embeera efaananako bw’etyo okubaawo okumala ebyasa bingi.
Ng’akwataganya ekibiina kye ‘n’obwakabaka obw’omu ggulu,’ yagamba: “Obwakabaka obw’omu ggulu bufaananyizibwa n’omuntu eyasiga ensigo ennungi mu nnimiro ye: naye abantu bwe baali beebase omulabe we n’ajja n’asigamu eŋŋaano ey’omu nsiko mu ŋŋaano ennungi, n’agenda. Naye bwe yameruka, bwe yayanya, n’erabika n’eŋŋaano ey’omu nsiko. Abaddu be ne bajja ne bagamba omwami nti Ssebo, tewasiga nsigo nnungi mu nnimiro yo? kale yali etya okubaamu eŋŋaano ey’omu nsiko? N’abagamba nti Omulabe ye yakola atyo. Abaddu ne bamugamba nti Kale oyagala tugende tugikoolemu? Naye n’agamba nti Nedda; mpozzi bwe munaaba mukoolamu eŋŋaano ey’omu nsiko, munaggiramu n’eŋŋaano yennyini. Muleke bikule byombi bituuse amakungula: mu biro eby’amakungula ndigamba abakunguzi nti Musooke mukuŋŋaanye eŋŋaano ey’omu nsiko, mugisibe emiganda eyokebwe: naye eŋŋaano yennyini mugikuŋŋaanyize mu ggwanika lyange.”—Matayo 13:24-30.
Yesu yannyonnyola nti ye yali “omusizi.” “Ensigo ennungi” zaali zikiikirira abayigirizwa be ab’amazima. “Omulabe” we yali Setaani Omulyolyomi. “Eŋŋaano ey’omu nsiko” baali Abakristaayo ab’obulimba abaasensera ekibiina Ekikristaayo. Matayo 13:37-43) Ebyo byonna byali bitegeeza ki?
Yagamba nti yandirese “eŋŋaano ennungi” ne “eŋŋaano ey’omu nsiko” okukulira awamu okutuuka ku “makungula,” agandibaddewo mu kiseera ‘eky’enkomerero.’ (Ekibiina Ekikristaayo Kyonoonebwa
Oluvannyuma lw’abatume okufa, bakyewaggula okuva mu kibiina mwennyini baatwala ebifo eby’obuvunaanyizibwa munda mu kibiina. Baayogeranga “ebigambo ebikyamye, okuwalula abayigirizwa ennyuma waabwe.” (Ebikolwa 20:29, 30) Ekyavaamu, Abakristaayo bangi ‘baava mu kukkiriza.’ ‘Baatwalirizibwa enfumo obufumo.’—1 Timoseewo 4:1-3; 2 Timoseewo 4:3, 4.
Ekitabo ekiyitibwa The New Dictionary of Theology, kigamba nti ekyasa eky’okuna we kyatuukirira, “eddiini ey’Ekikatuliki yali efuuse eddiini entongole . . . ey’Obwakabaka bwa Rooma.” “Waaliwo okwegatta kw’eddiini n’eby’obufuzi”—ekintu ekyali kitakkirizibwa mu nzikiriza y’Abakristaayo abaasooka. (Yokaana 17:16; Yakobo 4:4) Ekitabo kye kimu kyagamba nti ekiseera bwe kyayitawo, ekkanisa yonna nga mw’otwalidde n’enjigiriza zaayo ezisinga obungi, zaakyuka nnyo ‘nga zigoberera endowooza enkyamu ez’omu biseera eby’edda ennyo n’obufirosoofo obw’omu biseera ebyo.’ Nga Yesu Kristo bwe yali akyogeddeko, abayigirizwa be ab’amazima bandirabise ng’abatakyaliwo ng’ate bo Abakristaayo ab’obulimba beeyongera kwala.
Abantu abaali bawuliriza Yesu baali bamanyi nga bwe kiri ekizibu okwawulawo eŋŋaano ennungi n’ey’omu nsiko nga byombi byakamera. N’olwekyo Yesu yali akiraga nti okumala akabanga, kyandibadde kizibu okwawulawo Abakristaayo ab’amazima ku b’obulimba. Kino tekitegeeza nti ekibiina Ekikristaayo kyali tekikyaliwo, kubanga Yesu yasuubiza nti yandyeyongedde okukulembera baganda be ab’eby’omwoyo “ennaku zonna, okutuusa emirembe gino lwe giriggwaawo.” (Matayo 28:20) Yesu yagamba nti eŋŋaano ennungi yandyeyongedde okukula. Awatali kubuusabuusa, ebiseera bwe byagenda biyitawo Abakristaayo ab’amazima—kinnoomu oba ng’ekibiina, baakola kyonna kye basobola okunywerera ku njigiriza za Kristo. Naye mu kiseera ekyo tebaali kibiina ekitegeerekeka amangu. Mazima ddala baali tebafaanagana na nteekateeka z’amadiini ga bakyewaggula agabaddewo mu byafaayo era agavumisizza erinnya lya Yesu Kristo.—2 Peetero 2:1, 2.
‘Omuntu ow’Obujeemu Abikkulwa’
Omutume Pawulo yayogera ku kintu ekirala ekyandibadde kyoleka enteekateeka y’eddiini ez’obulimba. Yawandiika: “Omuntu yenna tabalimbanga mu kigambo kyonna kyonna: kubanga [olunaku lwa Yakuwa] terulijja wabula ng’okwawukana kuli kumaze kubaawo, era omuntu oli ow’okwonoona [“ow’obujeemu,” NW] nga alimala okubikkulwa.” (2 Abasessaloniika 2:2-4) ‘Omuntu oyo ow’obujeemu’ kye kibiina ky’abakulembeze b’eddiini ekyegulumiza ne kitandika okufuga ekibiina “Ekikristaayo.” *
Obwewagguzi bwatandikira mu kiseera ky’omutume Pawulo. Bweyongera amaanyi oluvannyuma lw’okufa kw’abatume abaali babukugira. Pawulo yagamba nti bwandyeyolese bulungi okuyitira mu “kukola kwa Setaani n’amaanyi gonna n’obubonero n’eby’amagero eby’obulimba.” (2 Abasessaloniika 2:6-12) Ebigambo ebyo nga byolekera ddala bulungi engeri abakulembeze b’eddiini gye babadde beeyisaamu mu byafaayo byonna!
Mu kuwagira endowooza yaabwe nti Obukatuliki ye ddiini emu ey’amazima, abakulembeze baayo bagamba nti babisopu baabwe “bali mu lunyiriri lw’abatume abaasooka.” Mazima ddala, endowooza eyo nti bali mu lunyiriri lw’abatume abaasooka, terina buwagizi bwonna mu byafaayo oba mu Byawandiikibwa. Tewaliiwo bujulizi bwonna bulaga nti enteekateeka y’eddiini eyatandikibwawo oluvannyuma lw’okufa kw’abatume ba Yesu yalina obulagirizi bw’omwoyo gwa Katonda.—Abaruumi 8:9; Abaggalatiya 5:19-21.
Naye ate go amadiini amalala ageekutula oluvannyuma ku y’Abakatuliki mu nkola eyayitibwa ey’Okuzza Obuggya? Amadiini ago gaagoberera ekyokulabirako ky’ekibiina Ekikristaayo ekyasooka? Gazzaawo obulongoofu bw’ekibiina Ekikristaayo ekyasooka? Kyo kituufu nti oluvannyuma lw’okwekutulako okwo, abantu aba bulijjo bangi baasobola okufuna Baibuli mu nnimi zaabwe. Kyokka, ebyafaayo biraga nti amadiini ago geeyongera *—Matayo 15:7-9.
okuyigiriza enjigiriza enkyamu.Kyokka weetegereze kino. Yesu Kristo yagamba nti ekibiina kye eky’amazima kyandibadde kizzibwawo mu kiseera kye yayita eky’enkomerero. (Matayo 13:30, 39) Okutuukirizibwa kw’obunnabbi bwa Baibuli kulaga nti kati tuli mu kiseera ekyo. (Matayo 24:3-35) Ekyo bwe kiba nga kituufu, buli omu ku ffe alina okwebuuza, ‘eddiini eyo ey’amazima y’eruwa?’ Eteekwa okuba nga yeeyongera bweyongezi okweyoleka.
Oboolyawo oyinza okuba ng’olowooza nti omaze okuzuula eddiini eyo oba ekibiina ekyo. Kiba kirungi okukakasiza ddala. Lwaki? Kubanga nga bwe kyali mu kyasa ekyasooka, wateekwa okubaawo eddiini emu yokka ey’amazima. Otutte ebiseera okukakasa obanga eddiini yo etuukagana bulungi n’ekyokulabirako ekyassibwawo ekibiina Ekikristaayo ekyasooka era nti egoberera enjigiriza za Yesu Kristo? Lwaki tewekenneenya ekyo kati? Abajulirwa ba Yakuwa bajja kuba basanyufu okukuyamba.—Ebikolwa 17:11.
[Obugambo obuli wansi]
^ lup. 17 Ebirala ebikwata ku ‘muntu ow’obujeemu’ biyinza kusangibwa mu The Watchtower aka Febwali 1, 1990, empapula 10-14.
^ lup. 20 Laba essuula “Enkola ey’Okuzza Obuggya—Okunoonyereza Kutojjera Buto,” mu kitabo Mankind’s Search for God, empapula 306-28, ekikubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.
[Ebifaananyi ebiri ku lupapula 5]
Eddiini gy’olimu egoberera ekyokulabirako ekyassibwawo Abakristaayo ab’omu kyasa ekyasooka ku bikwata ku kubuulira n’okuyiga?