Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

‘Okuba Obulindaala’ Lwaki Kikulu Nnyo?

‘Okuba Obulindaala’ Lwaki Kikulu Nnyo?

‘Okuba Obulindaala’ Lwaki Kikulu Nnyo?

“KABONERO ki akaliraga okubeerawo kwo n’amafundikira g’enteekateeka eno ey’ebintu?” (Mat. 24:3) Bwe yali addamu ekibuuzo ekyo, Yesu yabuulira abayigirizwa be akabonero akandyeyolese obulungi eri abantu bonna, nga bwe kiragibwa mu Matayo essuula 24, Makko essuula 13, ne Lukka essuula 21. Yagattako nti: “Mubeere bulindaala.”​—Mat. 24:42.

Bwe kiba nti akabonero ako kandyeyolese bulungi eri abantu bonna, ate lwaki Yesu yakubiriza abayigirizwa be okuba obulindaala? Lowooza ku bintu bino ebibiri. Ekisooka, ebintu ebiwugula bisobola okuleetera abantu abamu okulekera awo okussaayo omwoyo ku kabonero ako, ne kibaviirako okuddirira mu by’omwoyo n’okulekera awo okuba obulindaala. Eky’okubiri, Omukristaayo ayinza okuba ng’alaba ebintu ebyayogerwako mu kabonero ako nga bituukirira naye nga ye awulira nti ebintu ebyo tebimukosa nnyo. Ayinza okutandika okulowooza nti “ekibonyoobonyo ekinene” kikyali wala era nti tekinnaba kwetaagisa ‘kubeera bulindaala.’​—Mat. 24:21.

‘Tebeefiirayo’

Yesu yayamba abagoberezi be okulowooza ku bantu abaaliwo mu kiseera kya Nuuwa. Abantu abo bateekwa okuba nga baalaba Nuuwa ng’abuulira, ng’azimba eryato, era bateekwa okuba nga baali balaba n’ebikolwa eby’obukambwe ebyaliwo mu kiseera ekyo. Wadde kyali kityo, abasinga obungi ku bo ‘tebeefiirayo.’ (Mat. 24:37-39) Ne leero abantu bwe batyo bwe bali, tebafaayo ne bwe baba balabuddwa. Ng’ekyokulabirako, ku makubo kubaako obupande obulabula abavuzi b’ebidduka obutavuga ndiima. Naye olw’okuba abavuzi b’ebidduka tebafaayo ku bubaka obuba ku bupande obwo, ab’obuyinza basalawo okuteeka obugulumu mu nguudo basobole okuwaliriza abavuzi b’ebidduka okusala ku sipiidi. Mu ngeri y’emu, Omukristaayo ayinza okuba ng’alaba akabonero akalaga nti tuli mu nnaku ez’oluvannyuma naye ng’ate alina ebintu by’akola ebiyinza okumuwugula ne bimulemesa okubeera obulindaala. Ekyo kye kyatuuka ku mwannyinaffe Arielle, omuvubuka abeera mu bugwanjuba bwa Afirika.

Arielle yanyumirwanga nnyo okulaba omuzannyo gw’omupiira ku ttivi. Ttiimu y’omupiira bwe yatandikibwawo ku ssomero lye, Arielle yasalawo okugiyingira nga tasoose kulowooza ku ngeri ekyo gye kyandikutte ku mbeera ye ey’eby’omwoyo. Yalondebwa okuba omukwasi wa ggoolo. Biki ebyaddirira? Agamba nti: “Abamu ku baana be nnazannyanga nabo ku ttiimu baalina abalenzi ate ng’abalenzi abo baali banywa enjaga ne sigala. Olw’okuba nnali seeyisa nga bo, baatandika okunjerega. Nnali ndowooza nti ekyo nnali nsobola okukigumira. Mpolampola, okuzannya omuzannyo ogwo kyandeetera okuddirira mu by’omwoyo. Buli kiseera ebirowoozo byange byabanga ku mupiira. Bwe nnabanga mu nkuŋŋaana z’ekibiina, ebirowoozo byange tebyabanga mu Kizimbe ky’Obwakabaka wabula byabanga mu kisaawe. Nnatandika okweyisa mu ngeri etetuukana na mitindo gya Kikristaayo. Olw’okuba nnali njagala nnyo omupiira, nnafuna omwoyo ogw’okuvuganya. Ekyo kyandeetera okutandika okumala ebiseera bingi nga nneetendeka nsobole okuyamba ttiimu yaffe okuwangula. Nnatandika okweraliikirira ennyo. Nnatuuka n’okwesala ku mikwano gyange mu kibiina olw’okuba ebiseera byange byonna kati nnali mbimalira ku mupiira.

“Kyokka lumu bwe tuba tuzannya, ttiimu gye twali tuzannya nayo baagiwa penati. Nneetegeka okukwata omupiira baleme kututeeba ggoolo. Mu kaseera ako, nneesanga nsabye Yakuwa annyambe nsobole okukwata omupiira ogwo! Ekyo ekyaliwo ku olwo kyannyamba okukiraba nti nnali mulwadde muyi mu by’omwoyo. Kiki ekyannyamba okutereeza enkolagana yange ne Yakuwa?

“Emabegako, nnali nnalabako DVD eyitibwa Young People Ask​—What Will I Do With My Life? * Nnaddamu okugiraba era ku mulundi guno nnafuba okufumiitiriza ku ebyo ebigirimu. Embeera gye nnalimu yali efaanana n’eyo André, omuvubuka ayogerwako mu DVD eyo, gye yalimu. Nnalowooza nnyo ku magezi omukadde ge yawa André​—okusoma n’okufumiitiriza ku bigambo ebiri mu Abafiripi 3:8. Ekyawandiikibwa ekyo kyankwatako nnyo. Nnasalawo okuva mu ttiimu y’omupiira eyo.

“Ng’ekyo kyannyamba nnyo! Nnalekera awo okuba n’omwoyo gw’okuvuganya era nnalekera awo okweraliikirira. Nnaddamu okufuna essanyu era n’okunyweza enkolagana yange ne mikwano gyange mu kibiina. Ebintu eby’omwoyo nnaddamu okubitwala nga bikulu nnyo mu bulamu bwange. Nnatandika okussaayo omwoyo nga ndi mu nkuŋŋaana. Nnayongera ku biseera bye mmala nga mbuulira era kati ntera n’okuweerezaako nga payoniya omuwagizi.”

Bwe kiba nti waliwo ekintu kyonna ekikuwugula ne kikulemesa okussaayo omwoyo ku kabonero Yesu ke yatuwa, baako ne ky’okolawo mu bwangu, nga Arielle bwe yakola. Ebintu bino wammanga bisobola okukuyamba. Kozesa Watch Tower Publications Index, bangi gye bayita mmaapu eyamba omuntu okuzuula eby’obugagga ebyakwekebwa. Esobola okukuyamba okumanya wa w’osobola okuzuula amagezi ku nsonga ezitali zimu awamu n’ebyokulabirako by’abo abasobodde okuziyiza ebikemo. Weetegekere enkuŋŋaana era obeeko ensonga enkulu z’owandiika okuva mu ebyo by’oba owulidde kikuyambe okuziganyulwamu mu bujjuvu. Abamu bakirabye nti okutuula mu bifo eby’omu maaso kibayambye nnyo okuganyulwa mu nkuŋŋaana. Ekitundu bwe kiba nga kya kukubaganya birowoozo, fuba okubaako ne ky’oddamu ng’ekitundu ekyo kyakatandika. Ate era, sigala ng’otunula mu by’omwoyo nga weetegereza engeri ebintu ebiriwo mu nsi leero gye bituukirizaamu ebyo ebiri mu kabonero awamu n’ebintu ebirala ebiraga nti tuli mu “nnaku ez’oluvannyuma.”​—2 Tim. 3:1-5; 2 Peet. 3:3, 4; Kub. 6:1-8.

“Mubeerenga Beetegefu”

Akabonero ak’ennaku ez’oluvannyuma kati kalabibwa abantu “mu nsi yonna etuuliddwamu.” (Mat. 24:7, 14) Bangi bali mu bitundu ebikoseddwa ennyo kawumpuli, enjala, musisi, n’ebintu ebirala ebyalagulwako. Ku luuyi olulala, abantu abamu ebitundu bye balimu tebikosebwa nnyo bintu ebyo. Bwe kiba nti ebintu ebimu ebyalagulwako mu kabonero ggwe tebikutuukangako, ekyo kyandikuleetedde okulowooza nti ekibonyoobonyo ekinene kiri wala nnyo? Ekyo tekiba kya magezi.

Ng’ekyokulabirako, lowooza ku bunnabbi bwa Yesu obukwata ku “kawumpuli n’enjala.” (Luk. 21:11) Kijjukire nti Yesu teyagamba nti kawumpuli n’enjala byandibaddewo mu kiseera kye kimu oba ku kigero kye kimu mu bitundu by’ensi byonna. Mu kifo ky’ekyo, yagamba nti ebintu ebyo byandibaddewo “mu bifo ebitali bimu.” Bwe kityo, tetusaanidde kulowooza nti ebintu ebyo bijja kukosa abantu bonna abali ku nsi mu kiseera kye kimu. Ate era, bwe yali yaakamala okwogera ku njala, Yesu yalaga nti abamu ku bagoberezi be kyandibeetaagisizza okuba abeegendereza baleme kwemalira ku kulya. Yagamba nti: “Mwekuumenga emitima gyammwe gireme kwemalira ku kulya.” (Luk. 21:34) N’olwekyo, tetusaanidde kulowooza nti buli Mukristaayo alina okutuukibwako buli kimu ku bintu ebiri mu kabonero. Yesu yagamba nti: “Bwe mulabanga ebintu bino nga bitandise okubaawo, mumanyanga nti obwakabaka bwa Katonda buli kumpi.” (Luk. 21:31) Leero emikutu gy’empuliziganya gitusobozesa okulaba engeri ebintu byonna ebyayogerwako mu kabonero gye bituukirizibwamu, ka kibe nti mu kitundu gye tubeera ebintu ebyo tebitukosa nnyo.

Ate era kijjukire nti Yakuwa yamala dda okussaawo ‘olunaku n’ekiseera’ ekibonyoobonyo ekinene kwe kinaatandikira. (Mat. 24:36) Tewali kintu kyonna kijja kukyusa lunaku na kiseera ekyo.

Yesu yagamba Abakristaayo bonna nti: “Mubeerenga beetegefu.” (Mat. 24:44) Tusaanidde bulijjo okuba abeetegefu. Naye ekyo tekitegeeza nti buli kiseera tulina kuba nga tukola mirimu gya Bwakabaka. Era tewali n’omu ku ffe amanyi ekyo ky’anaaba akola mu kiseera ekibonyoobonyo ekinene we kinaatandikira. Ekiseera ekyo kiyinza okusanga abamu ku ffe nga tuli mu nnimiro oba nga tukola mirimu gy’awaka. (Mat. 24:40, 41) Kati olwo, kiki kye tuyinza okukola okusobola okusigala nga tuli beetegefu?

Emmanuel, mukyala we Victorine, awamu ne bawala baabwe omukaaga babeera mu nsi emu mu Africa, naye ng’ekitundu gye babeera tebakosebwa nnyo bintu ebiri mu kabonero ak’ennaku ez’oluvannyuma. Naye baasalawo okukubaganyanga ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo buli lunaku kibayambe okusigala nga beetegefu. Emmanuel agamba nti: “Tekyali kyangu kufuna kiseera kuyigira wamu ng’amaka. Naye twasalawo okukozesa eddakiika asatu buli lunaku, okuva ku ssaawa kkumi na bbiri okutuuka ku ssaawa kkumi na bbiri n’ekitundu ez’oku makya. Bwe tumala okusoma ekyawandiikibwa ky’olunaku, tutegekayo obutundu obutonotono okuva mu bitabo bye tuba tugenda okusoma mu nkuŋŋaana z’ekibiina wiiki eyo.” Okuba n’enteekateeka eyo kibayambye okusigala nga batunula? Yee! Emmanuel aweereza ng’omukwanaganya w’akakiiko k’abakadde mu kibiina kye. Mukyala we Victorine atera okuweerezaako nga payoniya omuwagizi era ayambye abantu bangi okuyiga amazima. Bawala baabwe bonna bakulaakulana mu by’omwoyo.

Yesu atugamba nti: “Mutunulenga, mubeerenga bulindaala.” (Mak. 13:33) Tokkiriza kintu kyonna kukulemesa kusigala ng’oli bulindaala mu by’omwoyo. Mu kifo ky’ekyo, fuba okukolera ku magezi amalungi ge tufuna okuyitira mu bitabo byaffe ne mu nkuŋŋaana z’ekibiina, nga Arielle bwe yakola. Era okufaananako Emmanuel n’ab’omu maka ge, fuba okubaako n’ekintu ky’okola buli lunaku ekinaakuyamba okusigala ng’oli “bulindaala.”

[Obugambo obuli wansi]

^ DVD eyo eraga engeri omuvubuka omu Omukristaayo gye yafuba okukola ekituufu mu maaso ga Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 4]

Okukubaganya ebirowoozo ku bintu eby’omwoyo buli lunaku kiyambye nnyo Emmanuel n’ab’omu maka ge ‘okubeera abeetegefu’