ETTEREKERO LYAFFE
Yanyweza Okukkiriza Kwabwe Emyaka 100 Emabega
“Nninga alaba Ow’oluganda Russell maaso ku maaso!”
—Omu ku abo abaalaba firimu ya “Photo-Drama” mu 1914.
KATI giweze emyaka 100 bukya firimu ya “Photo-Drama of Creation” efulumizibwa. Firimu eyo yategekebwa okuyamba abantu okukkiririza mu Kigambo kya Katonda. Mu kiseera we yafulumira, abantu bangi baali bakkiririza mu njigiriza egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa awamu n’enjigiriza endala ez’obulimba ezaali zinafuyizza okukkiriza kwabwe. Naye firimu eyo yalaga nti Yakuwa ye Mutonzi w’ebintu byonna.
Ow’oluganda Charles T. Russell, eyali atwala obukulembeze mu Bayizi ba Bayibuli, yafubanga okunoonya engeri ey’okutuusa amazima ku bantu bangi nga bwe kisoboka. Abayizi ba Bayibuli baali bamaze emyaka egisukka mu 30 nga bakozesa ebitabo okubunyisa amazima. Kati ekiseera kyali kituuse okutandika okukozesa ebifaananyi eby’oku ntimbe okuyamba abantu okuyiga amazima.
BAABUNYISA ENJIRI NGA BAKOZESA EBIFAANANYI EBY’OKU NTIMBE
Mu myaka gya 1890, abantu baatandika okulaga ebifaananyi ku ntimbe naye nga tekuli maloboozi. Mu 1903, waliwo ekkanisa emu mu kibuga New York eyalaga firimu ey’eddiini. Mu 1912, Ow’oluganda Russell we yatandikira okukola enteekateeka ez’okulaga firimu ya “Photo-Drama,” okulaga ebifaananyi ku ntimbe kyali kikyali kintu kipya. Russell yakiraba nti okulaga ebifaananyi ku ntimbe kyali kisobola okuyamba mu kubunyisa amazima mu ngeri ey’enjawulo ebitabo gye bitandisobodde kugabunyisaamu.
Firimu ya “Photo-Drama” yamalanga essaawa munaana era ng’eyawuziddwamu ebitundu bina. Yalimu emboozi 96 ezaaweebwa omwogezi omulungi eyali alondeddwa era nga zonna zaategekebwa Ow’oluganda Russell. Firimu eyo yalimu n’obuyimba obwali busengekeddwa obulungi. Ab’oluganda abaali batendekeddwa obulungi, be baakozesebwanga mu kulaga firimu eyo eyali eyogera ku bintu ebiri mu Bayibuli abantu abasinga obungi bye baali bamanyi. Ab’oluganda abo baakwanaganyanga obuyimba n’amaloboozi awamu n’ebifaananyi ebyali mu langi ez’enjawulo.
“Yayamba abantu okumanya engeri ebintu gye byatondebwamu n’ebyo byonna ebyandibaddewo okutuukira ddala ku nkomerero y’Obufuzi bwa Kristo obw’Emyaka Olukumi.”
—F. Stuart Barnes, yalina emyaka 14 mu 1914
Bingi ku bifaananyi ebyali mu firimu eyo byagulibwa mu situdiyo ezitali zimu. Abasiizi b’ebifaananyi abakugu okuva mu Philadelphia, New York, Paris, ne London baasiiga ebifaananyi ku bulabirwamu obwakozesebwa mu kulaga firimu eyo. Ab’oluganda abaali bakola
Omu ku b’oluganda eyali akolera awamu n’Ow’oluganda Russell yagamba bannamawulire nti enkola eyo yandireetedde “abantu bangi okwagala okuyiga ebintu ebiri mu Byawandiikibwa okusinga enkola endala yonna eyali ekozeseddwako emabega.” Naye abakulembeze b’amadiini baasanyukira ekyo Abayizi ba Bayibuli kye baali bakola okusobola okuyamba abantu mu by’omwoyo? Nedda. Abakulembeze b’amadiini ga Kristendomu baavumirira nnyo firimu ya “Photo-Drama,” era baagezaako n’okulemesa abantu okugiraba. Ng’ekyokulabirako, lumu firimu eyo bwe yali eragibwa, abakulembeze b’amadiini bajjako amasannyalaze.
Wadde kyali kityo, abantu bangi bajjanga okulaba firimu ya “Photo-Drama” ku bwereere. Mu Amerika, firimu ya “Photo-Drama” yalagibwanga mu bibuga nga 80 buli lunaku. Bangi ku abo abaalaba firimu eyo ogwo gwe gwali omulundi gwabwe ogusooka okulaba ku firimu ng’erimu n’amaloboozi. Firimu eyo, yalaga engeri akakoko gye kava mu ggi n’engeri ey’ekyewuunyo ekimera gye kimulisaamu. Ekyo kyayamba abantu okukiraba nti Yakuwa alina amagezi mangi nnyo. Ate era nga bwe tulabye ku ntandikwa, omu ku bantu abaalaba firimu eyo bwe yalaba Ow’oluganda Russell ku lutimbe ng’ayanjula firimu ya “Photo-Drama,” yali ng’eyali “alaba Ow’oluganda Russell maaso ku maaso!”
YAYAMBA BANGI OKUYIGA BAYIBULI
Munnabyafaayo eyeekenneenya ebikwata ku firimu ezitali zimu ayitibwa Tim Dirks yagamba nti “Photo-Drama” ye “firimu eyasooka okubaamu amaloboozi, ebifaananyi ebitambula, n’ebifaananyi ebiri mu langi ez’enjawulo.” Kyo kituufu nti firimu ya “Photo-Drama” we yafulumira, waali wabaddewoko firimu endala ezaalimu ebintu ng’ebyo, naye tewali n’emu ku firimu ezo yali ebaddemu bintu ebyo byonna mulundi gumu. Ate era tewali n’emu ku firimu ezo yalabibwa bantu bangi ng’abo abaalaba “Photo-Drama.” Mu mwaka ogwasooka, abantu ng’obukadde mwenda be baalaba firimu ya “Photo-Drama” mu Amerika, Bulaaya, Australia, ne New Zealand!
Firimu ya “Photo-Drama” yasooka kulagibwa nga Jjanwali 11, 1914, mu kibuga New York. Nga wayise emyezi musanvu, Ssematalo I yabalukawo. Wadde kyali kityo, abantu bangi okwetooloola ensi beeyongera okulaba firimu ya “Photo-Drama.” Firimu eyo yababudaabuda nnyo kubanga yabayamba okulaba emikisa emingi Obwakabaka bwa Katonda gye bujja okuleeta. Mu butuufu tuyinza okugamba nti, ekimu ku bintu ebikulu ebyaliwo mu 1914 kwe kufulumizibwa kwa firimu ya “Photo-Drama.”