Ebyafaayo
Ekiseera Kye Mmaze nga Mpeereza Yakuwa
Mu 1947, abassasseroddooti Abakatuliki mu Santa Ana, El Salvador, baalumba Abajulirwa ba Yakuwa abaali mu maka g’abaminsani. Ab’oluganda bwe baali mu lukuŋŋaana lw’Okusoma Omunaala gw’Omukuumi, abalenzi baatandika okukasuka amayinja mu kizimbe mwe baali. Oluvannyuma ekibinja ky’abantu kyajja nga kikulembeddwa abassasseroddooti. Abamu ku abo abaali mu kibinja ekyo baali bakutte ttooki n’ebibumbe. Baamala essaawa bbiri nga bakasuka amayinja ku kizimbe era nga bawogganira waggulu nti, ‘Awangaale Biikira Mariya!’ era, “Yakuwa afe!” Baali baagala okutiisatiisa abaminsani bave mu kibuga ekyo. Ekyo nkimanyi kubanga nnali omu ku baminsani abaali mu lukuŋŋaana olwo emyaka 67 emabega. *
EMYAKA ebiri emabega ng’ebyo tebinnabaawo, nze ne Evelyn Trabert, omuminsani gwe nnali mpeereza naye, twamaliriza emisomo gyaffe mu Ssomero lya Gireyaadi ery’omulundi ogw’okuna, eryali okumpi ne Ithaca, New York, era oluvannyuma, twasindikibwa okuweereza mu Santa Ana. Nga sinnababuulira ebikwata ku myaka 29 gye nnamala nga mpeereza ng’omuminsani, ka nsooke mbabuulire lwaki nnasalawo okuweereza ng’omuminsani.
OBUSIKA BWANGE OBW’EBY’OMWOYO
Nnazaalibwa mu 1923, era mu kiseera ekyo bazadde bange, John Olson ne Eva, baali babeera mu Spokane, Washington, Amerika. Baali Bapolotesitante naye nga tebakkiririza mu njigiriza egamba nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira. Baali tebakkiriza nti Katonda ow’okwagala asobola okukola ekintu ng’ekyo. (1 Yok. 4:8) Taata yali akola mu bbekeeri. Lumu mukozi munne yamukakasa nti Bayibuli tegamba nti Katonda ayokya abantu mu muliro ogutazikira. Bazadde bange baatandika okuyiga Bayibuli n’Abajulirwa ba Yakuwa era ne bategeera bulungi ekyo Bayibuli ky’eyigiriza ku ekyo ekituuka ku muntu ng’afudde.
Mu kiseera ekyo, nnali wa myaka mwenda gyokka, naye nkyajjukira essanyu ery’ensusso bazadde bange lye baafuna nga bazudde amazima. Essanyu lyabwe lyeyongera bwe baategeera erinnya lya Katonda, Yakuwa, era ne bakitegeera nti Katonda tali mu busatu. Bazadde bange baatandikirawo okunjigiriza amazima ago ag’omuwendo, ‘agafuula abantu ab’eddembe.’ (Yok. 8:32) Bwe kityo, nnakula nnyumirwa nnyo okusoma Bayibuli, era n’okutuusa leero njagala nnyo okwekenneenya Ekigambo kya Katonda. Wadde nga nnalina ensonyi, nnagendanga ne bazadde bange okubuulira. Bazadde bange baabatizibwa mu 1934, ate nze ne mbatizibwa mu 1939, nga ndi wa myaka 16.
Mu 1940, bazadde bange baatunda ennyumba yaabwe, era ffenna abasatu ne tutandika okuweereza nga bapayoniya mu Coeur d’Alene, Idaho. Twapangisa ennyumba eyali okumpi n’ekifo we baakanikiranga emmotoka. Ate era mu maka gaffe twafunirangamu enkuŋŋaana. Mu kiseera ekyo Ebizimbe by’Obwakabaka byali bitono nnyo ne kiba nti ebibiina ebisinga obungi enkuŋŋaana byazifuniranga mu maka g’ab’oluganda oba mu bifo ebipangise.
Mu 1941 nze ne bazadde bange twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu St. Louis, Missouri. Ku Ssande lwe lwali “Olunaku lw’Abaana,” era ku olwo abaana abaali wakati w’emyaka 5 ne 18 baatuula mu maaso. Bwe yali afundikira emboozi ye, Ow’oluganda Joseph F. Rutherford yatugamba ffe abaana nti: “Mmwe . . . abaana . . . abakkirizza okugondera Katonda ne Kabaka we, tubasaba muyimirire!” Ffenna twayimirira, era Ow’oluganda Rutherford n’agamba nti: “Mulabe, ababuulizi b’Obwakabaka bano abapya abasukka mu 15,000!” Mu kiseera ekyo kyennyini, nnamalirira okuweereza nga payoniya obulamu bwange bwonna.
OBUVUNAANYIZIBWA OBWATUWEEBWA NG’AMAKA
Nga wayise emyezi mitono oluvannyuma lw’olukuŋŋaana olwali mu St. Louis, nze ne bazadde bange twasengukira mu kibuga Oxnard mu bukiikaddyo bwa California. Twaweebwa obuvunaanyizibwa okutandikawo ekibiina mu kibuga ekyo. We twasulanga waali wafunda nnyo, era twalina ekitanda kimu kyokka. Buli lunaku nnalinanga okwala obuliri bwange kungulu ku mmeeza kwe twaliiranga. Eyo yali nkyukakyuka ya maanyi okuva bwe kiri nti nga tetunnasengukira eyo, nnalina ekisenge ekyange ku bwange!
Bwe twali tetunnatuuka mu California, eggwanga lya Japan lyasuula bbomu ku mwalo oguyitibwa Pearl Harbor mu Hawaii, nga Ddesemba 7, 1941. Olunaku olwaddako, Amerika yayingira mu Ssematalo II. Mu kiseera ekyo, amaato ga Japan lubbira, gaali galawuna buli wamu ku lubalama lw’ennyanja. Ab’obuyinza baalagira abantu bonna okuggyangako amataala gonna ekiro, kiremese Abajapaani okulaba abantu we bali okubakuba ebikompola.
Mu Ssebutemba 1942, twagenda ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Cleveland, Ohio. Ku lukuŋŋaana olwo Ow’oluganda Nathan H. Knorr yawa emboozi eyalina omutwe “Emirembe—Ginaabaawo Ebbanga Lyonna?” Yannyonnyola Okubikkulirwa essuula 17, awoogera ku ‘nsolo eyaliwo nga kati teriiwo, naye ng’eneetera okuva mu bunnya.’ (Kub. 17:8, 11) Ow’oluganda Knorr yagamba nti “ensolo” kye Kinywi ky’Amawanga ekyalekera awo okukola emirimu gyakyo mu 1939. Bayibuli yalaga nti ekibiina ekyo kyandivuddewo ne waddawo ekirala, era nti wandibaddewo ekiseera eky’emirembe emisaamusaamu. Bwe kityo bwe kyali mu 1945. Ssematalo II yaggwa era ensolo n’eddamu okulabika ng’ekibiina ky’Amawanga Amagatte. Abajulirwa ba Yakuwa baayongera amaanyi mu mulimu gw’okubuulira mu nsi yonna, era okuva olwo abantu bangi bayize amazima!
Obunnabbi obwo bwannyamba okumanya ebyo ebyali bijja mu maaso. Bwe kyalangirirwa nti Essomero lya Gireyaadi lyali ligenda kutandika mu mwaka oguddako, nnatandika okwagala okuweereza ng’omuminsani. Mu 1943, nnasindikibwa okuweereza nga payoniya mu Portland, Oregon. Mu kiseera ekyo, bwe twabanga tubuulira twakozesanga gramufomu, era oluvannyuma twawanga abantu ebitabo ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda. Omwaka ogwo gwonna nnagumala ndowooza ku kya kufuuka muminsani.
Mu 1944, nze ne mukwano gwange Evelyn Trabert twayitibwa okugenda mu Ssomero lya Gireyaadi, era ekyo kyansanyusa nnyo. Okumala emyezi ettaano, ab’oluganda abaatusomesa baatulaga engeri gye tuyinza okuganyulwa mu bujjuvu mu kusoma Bayibuli. Baali beetoowaze nnyo, era ekyo kyankwatako nnyo. Ebiseera ebimu, bwe twabanga tulya emmere, ab’oluganda abo be baatugabulanga. Twamaliriza emisomo gyaffe nga Jjanwali 22, 1945.
MPEEREZA NG’OMUMINSANI
Nze, Evelyn, ne Leo Mahan awamu ne mukyala we Esther, twatuuka mu El Salvador mu Jjuuni 1946. Twasanga ennimiro “zituuse okukungula.” (Yok. 4:35) Ebyo ebyayogeddwako ku ntandikwa biraga bulungi nti omulimu gwaffe ogw’okubuulira tegwasanyusa bakulembeze ba ddiini. Wiiki emu emabega ng’ebyo tebinnabaawo, twali tufunye olukuŋŋaana lwaffe olunene lwe twasooka okuba nalwo mu Santa Ana. Twabuulira n’obunyiikivu nga tuyita abantu okujja okuwuliriza emboozi ya bonna, era kyatusanyusa nnyo okuba nti abantu nga 500 be baaliwo ku lukuŋŋaana olwo. Mu kifo ky’okutya ne tuva mu kibuga ekyo, twali bamalirivu okusigalamu tusobole okuyamba abantu abaali baagala okuyiga amazima. Wadde ng’abakulembeze b’eddiini baali bagaana abantu okusoma Bayibuli, era ng’abantu abasinga obungi tebaalina Bayibuli, bangi ku bantu mu kitundu ekyo baali baagala nnyo okuyiga amazima. Baasiima nnyo eky’okuba nti twafuba okuyiga Olusipeyini tusobole okubabuulira ebikwata ku Katonda ow’amazima, Yakuwa, n’ekisuubizo kye eky’okuleeta ensi empya.
Rosa Ascencio y’omu ku bantu be nnasooka okuyigiriza Bayibuli mu kitundu ekyo. Bwe yatandika okuyiga Bayibuli, yaleka omusajja gwe yali abeera naye. Omusajja oyo naye yatandika okuyiga Bayibuli. Baafumbiriganwa, ne babatizibwa, era ne bafuuka Abajulirwa ba Yakuwa abanyiikivu. Rosa ye payoniya eyasooka mu Santa Ana. *
Rosa yalina akadduuka mwe yatundiranga eby’okulya. Yakaggalanga ng’agenda okubuulira era ne yeesiga Yakuwa okukola ku byetaago bye. Bwe yaddangayo n’aggulawo, yafunanga abaguzi bangi. Mu butuufu Rosa yeerabirako n’agage nti ebigambo ebiri mu Matayo 6:33 ddala bituufu. Yaweereza Yakuwa n’obwesigwa okutuusa lwe yafa.
Lumu, omukulembeze w’eddiini yagenda ew’omusajja eyali atupangisa ennyumba, ffe abaminsani omukaaga, n’amugamba nti singa talekera awo kutupangisa nnyumba ye, ye ne mukyala we baali ba kugobebwa mu Kkereziya. Omusajja oyo yali munnabizineesi mututumufu era yali yeetamwa dda enneeyisa y’abakulembeze b’eddiini. Yagamba omukulembeze w’eddiini oyo nti ne bwe bandimugobye teyandifuddeyo. Yatugamba nti tuli ba ddembe okubeera mu nnyumba ye okutuusa nga twagadde okugivaamu.
OMUSAJJA OMUTUTUMUFU AFUUKA OMUJULIRWA WA YAKUWA
Mu kibuga ekikulu, San Salvador, waliwo omuminsani eyali asoma Bayibuli ne mukyala wa Baltasar Perla, omusajja eyali yinginiya. Omusajja oyo yalina omutima omulungi naye nga takyakkiririza mu Katonda olw’obunnanfuusi bwe yali alaba mu bakulembeze b’amadiini. Ekiseera bwe kyatuuka okuzimba ofiisi y’ettabi, Baltasar, wadde nga yali tannayiga mazima, yeeyama okukuba pulaani ya ofiisi eyo n’okugizimba ku bwereere.
Oluvannyuma lw’okumala akabanga ng’akolera wamu n’Abajulirwa ba Yakuwa nga bazimba ofiisi y’ettabi, Baltasar yakiraba nti yali azzudde eddiini ey’amazima. Yabatizibwa nga Jjulaayi 22, 1955, era oluvannyuma lw’ekiseera kitono ne mukyala we, Paulina, yabatizibwa. Abaana baabwe bombi, n’okutuusa leero, baweereza Yakuwa n’obwesigwa. Kati mutabani waabwe, Baltasar, Jr., amaze emyaka 49 ng’aweereza ku Beseri y’omu Brooklyn, Amerika, era ali ku Kakiiko k’Ettabi. *
Bwe twatandika okufuna enkuŋŋaana za disitulikiti mu San Salvador, Ow’oluganda Perla yatuyamba okufuna ekifo ekigazi aw’okukuŋŋaanira. Mu kusooka, twabanga batono nnyo; naye Yakuwa yatuwa omukisa, era buli mwaka twagenda tweyongera obungi okutuusa ekifo ekyo bwe kyaba nga tekikyatumala! Ku nkuŋŋaana ng’ezo, nnasisinkananga abantu bangi be nnali nnayigirizaako Bayibuli. Lowooza ku ssanyu lye nnafuna ng’abo be nnali nnayigiriza Bayibuli banyanjulira “bazzukulu bange” ab’eby’omwoyo, be baabanga bayigirizza ne babatizibwa!
Ku lukuŋŋaana olumu olunene, waliwo ow’oluganda eyantuukirira n’aŋŋamba nti ayagala kunneetondera. Nnali simumanyi, naye nnali njagala okumanya ky’ayagala okuŋŋamba. Yagamba nti, “Nze omu ku balenzi abaabakasukira amayinja mu Santa Ana.” Kyansanyusa nnyo okukimanya nti kati naye yali aweereza Yakuwa! Ebyo bye twayogera n’ow’oluganda oyo byankakasa nti obuweereza obw’ekiseera kyonna ye ngeri esingayo obulungi omuntu yenna gy’ayinza okukozesaamu obulamu bwe.
NKOZESEZZA BULUNGI OBULAMU BWANGE
Nnamala emyaka nga 29 nga mpeereza ng’omuminsani mu El Salvador. Nnasookera mu kibuga Santa Ana, ne ŋŋenda e Sonsonate, bwe nnavaayo ne ŋŋenda e Santa Tecla, era oluvannyuma ne ŋŋenda e San Salvador. Mu 1975, oluvannyuma lw’okusaba ennyo Yakuwa n’okukifumiitirizaako ennyo, nnasalawo okuva mu buminsani ne nzirayo mu Spokane nsobole okulabirira bazadde bange abeesigwa abaali bakaddiye.
Oluvannyuma lwa taata okufa mu 1979, nneeyongera okulabirira maama era naye n’agenda nga yeeyongera okunafuwa. Waayita emyaka emirala munaana naye n’afa nga wa myaka 94. Ekyo kyandeetera okwennyamira ennyo, ne kinviirako n’okulwala. Kyokka nnasaba nnyo Yakuwa era yannyamba okugumira embeera eyo. Yakuwa yali ng’aŋŋamba nti, ‘okutuusa lw’olifuna envi, nja kukusitula, nkuwanirire, era nkununule.’—Is. 46:4.
Mu 1990, nnagenda okubeera mu Omak, Washington. Bwe nnali eyo, nnadamu okuweereza mu kibiina eky’Olusipeyini, era abayizi bange aba Bayibuli abawerako baakulaakulana ne babatizibwa. Omwezi gwa Noovemba 2007 we gwatuukira, nnali sikyasobola kulabirira waka wange mu Omak. Bwe kityo, nnasalawo okufuna ennyumba entonotono mu Chelan, Washington. Ab’oluganda mu kibiina ky’Olusipeyini mwe nkuŋŋaanira bandabiridde bulungi nnyo. Okuva bwe kiri nti nze nnamukadde nzekka Omujulirwa mu kibiina ekyo, bakkiriza bannange bonna bantwala nga jjajjaabwe.
Wadde nga nnasalawo obutafumbirwa n’obutazaala baana nsobole okwemalira ku buweereza bwange awatali kuwugulibwa, nfunye abaana bangi ab’eby’omwoyo. (1 Kol. 7:34, 35) Nnakiraba nti mu nteekateeka eno ey’ebintu, tosobola kufuna buli kimu ky’oyagala. N’olwekyo, nnasalawo okusoosa ekyo ekisinga obukulu mu bulamu, kwe kugamba, okuweereza Yakuwa n’omutima gwange gwonna. Mu nsi empya tujja kusobola okukola ebintu bingi ebijja okutuleetera essanyu. Ekyawandiikibwa kye nsinga okwagala ky’ekyo ekiri mu Zabbuli 145:16, awalaga nti Yakuwa ajja ‘kukusa buli kintu ekiramu bye kyagala.’
Kati nnina emyaka 91, naye nkyalina ku maanyi era nkyaweereza nga payoniya. Okuweereza nga payoniya kinziza buto era kinnyambye okuba n’ekigendererwa mu bulamu. We nnatuukira mu El Salvador, Abajulirwa ba Yakuwa baali batono nnyo. Wadde nga Sitaani akoze kyonna ekisoboka okuziyiza omulimu gwaffe, mu nsi eyo kati mulimu ababuulizi abasukka mu 39,000. Ekyo kinywezezza nnyo okukkiriza kwange. Tewali kubuusabuusa nti Yakuwa ayamba abantu be ng’akozesa omwoyo gwe omutukuvu!