Ebibuuzo Ebiva mu Basomi
Kiki ekiyinza okukolebwa okuyamba bakkiriza bannaffe obuwoowo be buyisa obubi?
Abantu obuwoowo be buyisa obubi boolekagana n’obuzibu obw’amaanyi. Bangi ku bo baba tebayinza kwewalira ddala buwoowo ng’obwo kubanga basanga abantu abatali bamu ababa beekubye obuwoowo. Kyokka, wabaddewo ab’oluganda abamu ababuuza obanga kisoboka okusaba baganda baffe ne bannyinaffe obuteekuba buwoowo nga bagenda mu nkuŋŋaana ennene oba entono.
Kya lwatu nti tewali Mukristaayo n’omu yandyagadde kukola kintu kyonna ekiyinza okuleetera abalala okukaluubirirwa okubeerawo mu nkuŋŋaana zaffe. Ffenna twetaaga okubaawo mu nkuŋŋaana zaffe tusobole okuzzibwamu amaanyi. (Beb. 10:24, 25) N’olwekyo, abo bonna obuwoowo be buyisa obubi ennyo basobola okutuukirira abakadde ne babategeeza ku kizibu kyabwe ekyo. Wadde nga tewali kyawandiikibwa kyonna kigaana muntu kwekuba buwoowo, abakadde bwe bategeezebwa ku kizibu ekyo basobola okuyamba abalala mu kibiina okutegeera embeera bakkiriza bannaffe ng’abo gye baba bayitamu. Okusinziira ku mbeera eba eriwo, abakadde basobola okunoonyereza mu bitabo byaffe ku nsonga ekwata ku buwoowo era ne boogera ku ebyo ebituukirawo mu kitundu eky’ebyetaago by’ekibiina mu Lukuŋŋaana lw’Obuweereza, oba mu ngeri ey’amagezi bayinza okuyisa ekirango ekikwata ku nsonga eyo. * Kyokka, abakadde basaanidde okwewala okuba nga buli kiseera bayisa ebirango ebikwata ku nsonga eyo. Kikulu okukijjukira nti mu nkuŋŋaana zaffe mubaamu abantu abapya abatamanyi ku kizibu ekyo, era tetwagala kubamalako mirembe. Tetwandyagadde muntu yenna akozesa obuwoowo mu ngeri esaana okuwulira nti emirembe gimuweddeko.
Bwe kiba nti mu kibiina kyammwe mulimu abantu obuwoowo be buyisa obubi ennyo, bwe kiba kisoboka, enteekateeka ziyinza okukolebwa ne batuula bokka ng’enkuŋŋaana zigenda mu maaso. Ng’ekyokulabirako, Ekizimbe kyammwe eky’Obwakabaka kiyinza okuba nga kiriko ekisenge ekirala ab’oluganda ng’abo mwe bayinza okutuula ne baba nga basobola bulungi okuwulira ebigenda mu maaso mu nkuŋŋaana. Ekyo bwe kikolebwa era ne basigala nga bakyayisibwa bubi nnyo, enteekateeka ziyinza okukolebwa ne babakwatiranga enkuŋŋaana ku butambi oba ne babayunganga ku nkuŋŋaana nga bakozesa amasimu, nga bwe kitera okukolebwa eri abo ababa batakyasobola kuva waka.
Obuweereza Bwaffe obw’Obwakabaka buzze butukubiriza okufaayo ennyo ku balala bwe kituuka ku kwekuba obuwoowo nga tugenda ku nkuŋŋaana ennene. Okuva bwe kiri nti enkuŋŋaana ezimu ennene ziba munda mu bizimbe, abo abajja ku nkuŋŋaana ezo basabibwa obutakozesa buwoowo obuwunya ennyo. Ensonga eyo etera okukkaatirizibwa nnaddala bwe kituuka ku lukuŋŋaana olunene olw’ennaku esatu, okuva bwe kiri nti ku lukuŋŋaana ng’olwo tekiba kyangu kufunira abo obuwoowo be buyisa obubi kifo kya njawulo mwe bayinza okutuula bokka. Kyokka, obulagirizi obwo tebukwata ku nkuŋŋaana ze tufunira mu bibiina byaffe.
Okuva bwe kiri nti tukyali mu nteekateeka eno ey’ebintu, ffenna twolekagana n’ebizibu ebiva ku butali butuukirivu bwe twasikira. Kyokka kitusanyusa nnyo abalala bwe babaako kye bakolawo okukendeeza ku bizibu bye tufuna! Kiyinza okutwetaagisa okwefiiriza ne tuteekuba buwoowo obuyinza okukifuula ekizibu eri bakkiriza bannaffe okujja mu Bwe tuba nga ddala twagala bakkiriza bannaffe, tujja kuba beetegefu okukikola.
Waliwo obukakafu obulaga nti Pontiyo Piraato yaliyo?
Abasomi ba Bayibuli bangi bamanyi Pontiyo Piraato olw’ekyo kye yakola mu kuwozesa Yesu n’okumusalira ogw’okufa. (Mat. 27:1, 2, 24-26) Naye erinnya lye lirabikira ne mu biwandiiko ebirala eby’edda ebyawandiikibwa mu kiseera kye. Ekitabo ekiyitibwa The Anchor Bible Dictionary kiraga nti ebiwandiiko ebyogera ku Piraato “bingi nnyo okusinga ebyo ebyogera ku gavana omulala yenna Omuruumi owa Buyudaaya.”
Erinnya lya Piraato okusingira ddala lirabikira mu biwandiiko bya munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Josephus, eyawandiika ku bizibu bisatu Piraato bye yayolekagana nabyo ng’afuga nga gavana wa Buyudaaya. Munnabyafaayo Omuyudaaya ayitibwa Philo, naye yayogera ku kizibu eky’okuna Piraato kye yayolekagana nakyo. Omuwandiisi w’ebitabo omu Omuruumi ayitibwa Tacitus, eyawandiika ku byafaayo bya ba empula ba Rooma, yalaga nti Pontiyo Piraato yasalira Yesu ogw’okufa mu kiseera ky’obufuzi bwa Tiberiyo.
Mu 1961, abanoonyereza ku bintu eby’edda baazuula ejjinja mu Kayisaliya eryaliko erinnya lya Piraato mu Lulattini. Ebigambo ebimu ebiri ku jjinja eryo (eriragiddwa wano) tebirabika bulungi, naye kigambibwa nti byali bigamba nti: “(Ekizimbe kino) Tiberiyamu, Pontiyo Piraato, omukulu wa Buyudaaya, yakiwaayo eri katonda ow’ekitiibwa.” Ekizimbe ekyogerwako kirabika yali yeekaalu eyazimbibwa okujjukira empula wa Rooma Tiberiyo.
Omubuulizi omukazi bw’aba alina omuntu gw’ayigiriza Bayibuli nga waliwo omubuulizi omusajja, omubuulizi omukazi kiba kimwetaagisa okubikka ku mutwe?
Ekitundu “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” ekyafulumira mu Watchtower eya Jjulaayi 15, 2002, kyagamba nti mwannyinaffe aba alina okubikka ku mutwe singa aba ayigiriza omuntu Bayibuli nga waliwo omubuulizi omusajja, k’abe nga mubatize oba nga si mubatize. Oluvannyuma lw’okwongera okwekenneenya ensonga eno tukirabye nti waliwo enkyukakyuka erina okukolebwa ku bulagirizi obwo.
Bwe kiba nti ali n’omubuulizi omusajja omubatize, mwannyinaffe aba alina okubikka ku mutwe gwe ng’ayigiriza omuyizi wa Bayibuli. Ekyo bw’akikola aba akiraga nti assa ekitiibwa mu nteekateeka y’obukulembeze mu kibiina Ekikristaayo, okuva bwe kiri nti aba akola omulimu ogwandibadde gukolebwa ow’oluganda. (1 Kol. 11:
Kyokka singa mwannyinaffe aba ayigiriza omuntu Bayibuli ng’ali n’omubuulizi omusajja atali mubatize ate nga si mwami we, okusinziira ku Byawandiikibwa, kiba tekimwetaagisa kubikka ku mutwe gwe. Wadde kiri kityo, mwannyinaffe bw’awulira ng’omuntu we ow’omunda amukubiriza okubikka ku mutwe gwe ne mu mbeera eyo, ekyo ayinza okukikola.
^ lup. 4 Okumanya ebisingawo ku buwoowo, laba Awake! eya Agusito 8, 2000, olupapula 8-10.