ETTEREKERO LYAFFE
“Yakuwa Yabaleeta mu Bufalansa Muyige Amazima”
BWE yali akyali muto, Antoine Skalecki yalina embalaasi gye yabeeranga nayo kumpi buli kiseera. Yagikozesanga okwettika amanda agaasimibwanga mu kirombe kye yakolerangamu. Taata wa Antoine yafuna obuvune ettaka bwe lyayiika mu kirombe mwe yali, bwe kityo ab’omu maka ge ne bawalirizibwa okusindika Antoine okugenda okukola mu kirombe okumala essaawa mwenda buli lunaku. Lumu, ekirombe ekyo kyayiikamu ettaka era Antoine yabulako katono okufiirwa obulamu bwe.
Antoine y’omu ku baana abangi abaazaalibwa mu Bufalansa mu myaka gya 1920 ne 1930 naye nga bazadde baabwe Bapolandi. Abantu b’omu Poland baatuuka batya okubeera mu Bufulansa? Poland bwe yafuna obwetwaze oluvannyuma lwa Ssematalo I, yayolekagana n’obuzibu bw’omujjuzo gw’abantu. Ku luuyi olulala, Bufalansa yali efiiriddwa abasajja abasukka mu kakadde mu lutalo era yali yeetaaga abakozi okukola mu birombe. N’olwekyo, mu Ssebutemba 1919, gavumenti ya Bufalansa ne Poland zaakola endagaano ekkiriza abantu b’omu Poland okugenda okubeera mu Bufalansa. Omwaka gwa 1931 we gwatuukira, Abapolandi abaali mu Bufalansa baali nga 507,800, ng’abasinga obungi babeera mu bitundu eby’omu bukiikakkono omwali ebirombe.
Abapolandi abo abaali abanyiikivu bwe baagenda mu Bufalansa, tebeerabira buwangwa bwabwe era baasigala bettanira nnyo eddiini. Antoine, kati ali mu myaka 90, agamba nti: “Jjajja wange Joseph bwe yabanga ayogera ku Byawandiikibwa Ebitukuvu yalaganga nti abissaamu nnyo ekitiibwa, ekintu kitaawe kye yali yamuteekamu.” Buli lwa Ssande, Abapolandi awamu n’ab’omu maka gaabwe baayambalanga bulungi ne bagenda mu masinzizo, nga bwe baakolanga nga bakyali e Poland. Ekyo Abafalansa abamu abaali bettanira ennyo okukola tekyabasanyusanga.
Abapolandi abasinga obungi baasooka okuwulira ku mazima nga bali mu Nord-Pas-de-Calais, ekitundu Abayizi ba Bayibuli gye baatandika okubuulira mu 1904. Mu 1915, magazini y’Omunaala gw’Omukuumi yatandika okukubibwa buli mwezi mu Lupolandi, ate Awake! (mu kiseera ekyo eyali eyitibwa The Golden Age) nayo yatandika okukubibwa mu Lupolandi mu 1925. Abapolandi bangi baakwatibwako nnyo amazima ag’omuwendo agaali mu magazini ezo awamu n’ebyo ebyali mu katabo The Harp of God ak’Olupolandi.
Antoine ne bazadde be baasooka okuwulira ebikwata ku Bayizi ba Bayibuli okuva ku kojja we, eyasooka okugenda mu nkuŋŋaana z’Abayizi ba Bayibuli mu 1924. Mu mwaka ogwo gwennyini, Abayizi ba Bayibuli mu Bruay-en-Artois, baafuna olukuŋŋaana olunene olwasooka mu Lupolandi. Waali tewannayita na mwezi, Joseph F. Rutherford, okuva ku kitebe ekikulu, n’akuba olukuŋŋaana mu kibuga ekyo, era abantu nga 2,000 be baaliwo. Bwe yakiraba nti bangi ku bo baali Bapolandi, Ow’Oluganda Rutherford yabagamba nti: “Yakuwa yabaleeta mu Bufalansa muyige amazima. Kati mmwe n’abaana bammwe mulina okuyamba Abafalansa! Omulimu gw’okubuulira gukyali munene, era Yakuwa ajja kukakasa nti wabaawo ababuulizi abagukola.”
Ekyo kyennyini Yakuwa Katonda kye yakola! Abakristaayo Abapolandi baali banyiikivu nnyo mu mulimu gw’okubuulira nga bwe baali abanyiikivu nga bakola mu birombe! Abamu ku bo baasalawo okuddayo mu Poland bayambe abaliyo okuyiga amazima. Mu abo mwalimu Teofil Piaskowski, Szczepan Kosiak, ne Jan Zabuda.
Kyokka bangi ku Bakristaayo Abapolandi baasigala mu Bufalansa ne beeyongera okubuulira awamu ne bakkiriza bannaabwe Abafalansa. Ku lukuŋŋaana olunene olwali mu Sin-le-Noble mu 1926, kwaliko Abapolandi nga 1,000 n’Abafalansa nga 300. Akatabo Yearbook aka 1929 kaagamba nti: “Mu mwaka oguwedde Abapolandi 332 be baabatizibwa.” Ssematalo II bwe yali tannatandika, ku bibiina 84 ebyali mu Bufalansa, 32 ku byo byali bya Lupolandi.
Mu 1947, gavumenti ya Poland bwe yasaba Abapolandi okuddayo ku butaka Abajulirwa ba Yakuwa bangi nabo baddayo. Kyokka n’oluvannyuma lw’okuddayo ku butaka, okufuba kwabwe n’okwa bakkiriza bannaabwe Abafalansa kwali kukyavaamu ebibala. Mu mwaka ogwo gwennyini, waaliwo okweyongerayongera mu muwendo gw’ababuulizi kwa bitundu 10 ku buli 100. Ate okuva mu 1948 okutuuka mu 1950, waaliwo okweyongerayongera kwa bitundu 20, 23, ne 40 ku buli 100! Okusobola okutendeka ababuulizi abo abapya, mu 1948, ettabi lya Bufalansa lyalonda abalabirizi abakyalira ebibiina abaasooka mu Bufalansa. Ku balabirizi abataano abaalondebwa, bana ku bo baali Bapolandi, era Antoine Skalecki yali omu ku bo.
Bangi ku Bajulirwa ba Yakuwa abali mu Bufalansa balina amannya ag’Ekipolandi ge bajja ku bajjajjaabwe abaakola n’obunyiikivu mu birombe ne mu mulimu gw’okubuulira. Ne leero, waliwo abantu bangi ababa bagenze mu Bufalansa ne bayigirayo amazima. Ababuulizi abatali Bafalansa ka babe nga basazeewo okuddayo mu nsi zaabwe oba okusigala mu Bufalansa, beeyongera okubuulira n’obunyiikivu nga bakoppa ab’oluganda Abapolandi abaaliwo mu myaka gy’edda.—Etterekero lyaffe mu Bufalansa.