Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Munywerere mu Kukkiriza”

“Munywerere mu Kukkiriza”

“Munywerere mu kukkiriza, . . . mubeere ba maanyi.”—1 KOL. 16:13.

ENNYIMBA: 60, 64

1. (a) Kiki ekyatuuka ku Peetero ng’ali ku Nnyanja y’e Ggaliraaya? (Laba ekifaananyi waggulu.) (b) Lwaki Peetero yatandika okubbira?

OMUTUME Peetero n’abayigirizwa abalala bali mu lyato ku Nnyanja y’e Ggaliraaya era obudde bwa kiro. Amangu ago, balaba Yesu ng’atambulira ku nnyanja. Peetero agamba Yesu amulagire atambulire ku mazzi agende gy’ali. Yesu bw’amulagira okutambulira ku mazzi agende gy’ali, Peetero ava mu lyato n’atandika okutambulira ku mazzi ng’agenda eri Yesu. Kyokka, oluvannyuma lw’akaseera katono, Peetero atandika okubbira. Lwaki? Atunuulidde omuyaga n’atya. Peetero akoowoola Yesu amuyambe era amangu ago Yesu agolola omukono gwe n’amukwata n’amugamba nti: “Ggwe alina okukkiriza okutono, lwaki obuusabuusizza?”—Mat. 14:24-32.

2. Kiki kye tugenda okwetegereza mu kitundu kino?

2 Mu kitundu kino tugenda kwetegereza ebintu bisatu ebikwata ku kukkiriza bye tuyigira ku Peetero: (1) engeri Peetero gye yayolekamu okukkiriza okw’amaanyi, (2) ekyaleetera okukkiriza kwa Peetero okuddirira, ne (3) ekyayamba Peetero okuddamu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi. Okwetegereza ebintu ebyo kijja kutuyamba okulaba engeri gye tuyinza ‘okunywerera mu kukkiriza.’—1 Kol. 16:13.

KIKULU OKUBA N’OKUKKIRIZA OKW’AMAANYI

3. Lwaki Peetero yava mu lyato, era kiki naffe kye twakola ekifaananako ekyo Peetero kye yakola?

3 Peetero yayoleka okukkiriza okw’amaanyi bwe yava mu lyato n’atandika okutambulira ku mazzi. Yesu yali amuyise, era Peetero yali mukakafu nti Katonda yandimuyambye nga bwe yali ayamba Yesu. Mu ngeri y’emu, naffe okukkiriza kwe kwatuleetera okwewaayo eri Yakuwa ne tubatizibwa. Yesu yatuyita okuba abagoberezi be, tutambulire mu bigere bye. Ekyo okusobola okukikola, twalina okuba n’okukkiriza okw’amaanyi mu Yesu ne mu Katonda, nga tuli bakakafu nti bandituyambye mu mbeera zonna ze twandyolekaganye nazo.—Yok. 14:1; soma 1 Peetero 2:21.

4, 5. Lwaki kikulu nnyo okuba n’okukkiriza?

4 Kikulu nnyo okuba n’okukkiriza. Ng’okukkiriza bwe kwasobozesa Peetero okutambulira ku mazzi, naffe okukkiriza kwe tulina kutusobozesa okukola ebintu ebirabika ng’ebitasoboka mu ndaba ey’obuntu. (Mat. 21:21, 22) Ng’ekyokulabirako, bangi ku ffe tukoze enkyukakyuka ez’amaanyi mu bulamu bwaffe ne kiba nti abamu ku bantu abaatulabanga edda kibazibuwalira okukkiriza nti ye ffe. Yakuwa yatusobozesa okukola enkyukakyuka ezo olw’okukkiriza okw’amaanyi kwe twalina. (Soma Abakkolosaayi 3:5-10.) Okukkiriza kwatusobozesa okwewaayo eri Yakuwa, ne tufuuka mikwano gye, ekintu kye tutandisobodde kukola ku lwaffe.—Bef. 2:8.

5 Okukkiriza kutuyamba ne mu ngeri endala nnyingi. Ng’ekyokulabirako, okukkiriza kutuyamba okuziyiza obulumbaganyi bw’omulabe waffe, Sitaani. (Bef. 6:16) Era bwe twesiga Yakuwa kituyamba obuteeraliikirira kisukkiridde nga tufunye ebizibu. Yakuwa atukakasa nti bwe tukulembeza Obwakabaka mu bulamu bwaffe, ajja kutuwa ebyo bye twetaaga. (Mat. 6:30-34) Ate era bwe tuba n’okukkiriza okw’amaanyi, tujja kusobola okufuna obulamu obutaggwaawo, ekintu omuntu yenna ky’atasobola kufuna mu maanyi ge.—Yok. 3:16.

OKUWUGULIBWA KUYINZA OKUTULEETERA KUKKIRIZA KWAFFE OKUDDIRIRA

6, 7. (a) Omuyaga n’amayengo ebyali byetoolodde Peetero biyinza kugeraageranyizibwa ku ki? (b) Lwaki kikulu okukijjukira nti okukkiriza kwaffe kusobola okuddirira?

6 Omuyaga n’amayengo ebyali byetoolodde Peetero ng’atambulira ku mazzi biyinza okugeraageranyizibwa ku bizibu n’ebikemo bye tufuna nga tuweereza Katonda. Ebizibu ebyo ne bwe biba bya maanyi kwenkana wa, tusobola okuba abakakafu nti Yakuwa ajja kutuyamba. Kijjukire nti omuyaga n’amayengo si bye byaleetera Peetero okubbira. Bayibuli egamba nti: “Bwe yatunuulira omuyaga n’atya.” (Mat. 14:30) Peetero yawugulibwa n’alekera awo okutunuulira Yesu, era ekyo kyaleetera okukkiriza kwe okuddirira. Mu ngeri y’emu, singa tumalira ebirowoozo byaffe ku bizibu bye tufuna, kiyinza okutuleetera okutandika okubuusabuusa obanga Yakuwa anaatuyamba.

7 Tusaanidde okukijjukira nti okukkiriza kwaffe kusobola okuddirira. Bayibuli egamba nti obutaba na kukkiriza kye ‘kibi ekitwezingako amangu.’ (Beb. 12:1) Ng’ebyo ebyatuuka ku Peetero bwe biraga, okukkiriza kwaffe kusobola okukendeera singa ebirowoozo byaffe tubissa ku bintu ebibi. Kati olwo tuyinza tutya okutegeera obanga okukkiriza kwaffe kuli mu kabi? Ka tulabe ebimu ku bibuuzo ebisobola okutuyamba okwekebera.

8. Kiki ekiyinza okuleetera okukkiriza kwe tulina mu bisuubizo bya Katonda okukendeera?

8 Nkyali mukakafu nti ebisuubizo bya Katonda bijja kutuukirira? Ng’ekyokulabirako, Katonda yasuubiza nti ajja kuzikiriza enteekateeka eno ey’ebintu embi. Naye, kyandiba nti tuwuguliddwa eby’okwesanyusaamu ebiri mu nsi eno, ne kiba nti tutandise n’okubuusabuusa obanga ekyo Katonda kye yasuubiza kinaatuukirira? Tuyinza okutandika okubuusabuusa nti enkomerero eri kumpi. (Kaab. 2:3) Ate lowooza ku kyokulabirako ekirala. Katonda asuubiza okutusonyiwa ng’asinziira ku ssaddaaka ya Yesu. Naye singa tumalira ebirowoozo byaffe ku bibi bye twakola mu biseera by’emabega, tuyinza okutandika okubuusabuusa obanga ddala Yakuwa yatusonyiwa ebibi ebyo. (Bik. 3:19) Ekyo kiyinza okutumalako essanyu lye tufuna mu kuweereza Katonda era kiyinza n’okutuviirako okuddirira mu by’omwoyo.

9. Kiki ekiyinza okubaawo singa twemalira ku bintu ebyaffe ku bwaffe?

9 Mpeereza Katonda n’obunyiikivu nga bwe nnakolanga edda? Omutume Pawulo yakiraga nti bwe tuweereza Yakuwa n’obunyiikivu kituleetera okuba “n’essuubi ekkakafu okutuukira ddala ku nkomerero.” Naye, kiki ekiyinza okubaawo singa tutandika okwemalira ku bintu ebyaffe ku bwaffe, gamba ng’okufuna omulimu ogusasula obulungi naye nga guyingirira enteekateeka zaffe ez’eby’omwoyo? Okukkiriza kwaffe kuyinza okunafuwa, era tusobola okufuuka ‘abagayaavu,’ ne tulekera awo okuweereza Yakuwa n’obunyiikivu.—Beb. 6:10-12.

10. Bwe tusonyiwa abalala, kiraga kitya nti tulina okukkiriza okw’amaanyi?

10 Kinzibuwalira okusonyiwa abalala nga balina ekibi kye bankoze? Abalala bwe batusobya, ne tumalira ebirowoozo byaffe ku ngeri gye tuwuliramu, kiyinza okutuleetera okubanyiigira oba obutaddamu kwogera nabo. Ku luuyi olulala, bwe tusonyiwa, tuba tukiraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi mu Yakuwa. Mu ngeri ki? Abo abatusobya baba ng’abafunye ebbanja gye tuli, nga naffe bwe tufuna ebbanja eri Katonda nga tukoze ebintu ebitamusanyusa. (Luk. 11:4) Bwe tusonyiwa abalala, tuba tukiraga nti okusiimibwa mu maaso ga Katonda kye tutwala ng’ekikulu okusinga okusasuza abalala ebbanja lye baba balina gye tuli. Abayigirizwa ba Yesu baali bakimanyi nti okusonyiwa abalala kyetaagisa okukkiriza. Yesu bwe yabagamba okusonyiwa n’abo abaabanga babasobezza enfunda n’enfunda, baamugamba nti: “Twongere okukkiriza.”—Luk. 17:1-5.

11. Kiki ekiyinza okutulemesa okuganyulwa mu kuwabulwa kwe tuba tufunye okuva mu Byawandiikibwa?

11 Nsambajja okuwabulwa okuba kuvudde mu Byawandiikibwa? Mu kifo ky’okunoonya engeri gye tuyinza okuganyulwa mu kuwabulwa kwe tuba tufunye, tuyinza okutandika okunoonya ensobi mu kuwabulwa okwo oba mu oyo aba atuwabudde. (Nge. 19:20) Ekyo kiyinza okutulemesa okutuukanya endowooza yaffe n’eya Katonda.

12. Omuntu bw’aba atera okwemulugunya ku abo Yakuwa b’alonze okutwala obukulembeze mu bantu be, kiba kiraga ki?

12 Nneemulugunya ku abo abatwala obukulembeze mu kibiina? Abaisiraeri bwe bassa essira ku bigambo ebimalamu amaanyi abakessi ekkumi abataalina kukkiriza bye baayogera, baatandika okwemulugunya ku Musa ne Alooni. Bw’atyo Yakuwa yabuuza Musa nti: “Balituusa wa obutanzikiriza?” (Kubal. 14:2-4, 11) Mu butuufu, Abaisiraeri okwemulugunya kyalaga nti baali tebeesiga Katonda, eyali yalonda Musa ne Alooni. Mu ngeri y’emu, singa naffe twemulugunya ku abo Katonda b’alonze okutwala obukulembeze mu bantu be, ekyo kiyinza okulaga nti okukkiriza kwaffe kukendedde.

13. Bwe tukizuula nti okukkiriza kwaffe kukendedde, lwaki ekyo tekisaanidde kutumalamu maanyi?

13 Kyokka singa oluvannyuma lw’okwekebera okizuula nti okukkiriza kwo kukendedde, tosaanidde kuggwaamu maanyi. Kijjukire nti n’omutume Peetero yatya era n’atandika okubuusabuusa. Mu butuufu, ebiseera ebimu Yesu yanenyanga abatume be olw’okuba ‘n’okukkiriza okutono.’ (Mat. 16:8) Kyokka waliwo ekintu ekikulu kye tuyinza okuyigira ku Peetero. Lowooza ku ekyo kye yakola oluvannyuma lw’okubuusabuusa n’atandika okubbira.

TUNUULIRA YESU, ONYWEZE OKUKKIRIZA KWO

14, 15. (a) Kiki Peetero kye yakola ng’atandise okubbira? (b) Okuva bwe kiri nti tetusobola kulaba Yesu, tusobola tutya ‘okumwekaliriza’?

14 Peetero bwe yatunuulira omuyaga n’atandika okubbira, yali asobola okusalawo okuddayo mu lyato ku lulwe. Yali amanyi bulungi okuwuga, era ekyo kye yandisoose okulowooza okukola. (Yok. 21:7) Kyokka, mu kifo ky’okukola ebintu mu maanyi ge, yaddamu okussa amaaso ge ku Yesu, era n’akkiriza obuyambi bwe yamuwa. Bwe tukizuula nti okukkiriza kwaffe kutandise okunafuwa, tusaanidde okukoppa Peetero. Naye ekyo tuyinza kukikola tutya?

15 Nga Peetero bwe yaddamu okussa amaaso ge ku Yesu, naffe tusaanidde ‘okwekaliriza Yesu, Omubaka Omukulu era Omutuukiriza w’okukkiriza kwaffe.’ (Soma Abebbulaniya 12:2, 3.) Kya lwatu nti tetusobola kulaba Yesu nga Peetero bwe yamulaba. Wadde kiri kityo, tusobola ‘okwekaliriza’ Yesu nga twekenneenya ebyo bye yayigiriza n’ebyo bye yakola era ne tufuba okumukoppa. Ekyo bwe tukikola, tujja kufuna obuyambi bwe twetaaga okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe. Kati ka tulabe engeri gye tuyinza okukoppamu Yesu.

Bwe tutunuulira Yesu era ne tufuba okutambulira mu bigere bye, tusobola okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza (Laba akatundu 15)

16. Tuyinza tutya okusoma Bayibuli mu ngeri eneetuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?

16 Nyweza okukkiriza kw’olina mu Bayibuli. Yesu yali mukakafu nti Bayibuli Kigambo kya Katonda era nti erimu obulagirizi obusingayo okuba obulungi. (Yok. 17:17) Tusobola okukoppa Yesu nga tusoma Bayibuli, nga twekenneenya ebigirimu, era nga tufumiitiriza ku ebyo bye tuba tusomye. Okugatta ku ekyo, tusaanidde okunoonyereza ku bintu bye tuba tetutegedde bulungi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okunyweza okukkiriza kw’olina nti enkomerero eri kumpi nga weekenneenya obukakafu obuli mu Byawandiikibwa obulaga nti tuli mu nnaku ez’enkomerero. Osobola okunyweza okukkiriza kw’olina mu bisuubizo ebiri mu Bayibuli ebikwata ku biseera eby’omu maaso nga weekenneenya obunnabbi obutali bumu obugirimu obwatuukirira. Ate era osobola okwongera okwesiga amagezi agali mu Bayibuli ng’osoma ku ngeri gye gayambyemu abantu abatali bamu okuba n’obulamu obulungi. *1 Bas. 2:13.

17. Kiki ekyayamba Yesu okusigala nga mwesigwa ne mu mbeera enzibu ennyo, era oyinza otya okumukoppa?

17 Fumiitiriza ku mikisa Yakuwa gy’asuubizza. Yesu bwe yakuumira ebirowoozo bye ku ‘ssanyu eryali liteekeddwa mu maaso ge,’ yasobola okusigala nga mwesigwa ne mu mbeera eyali enzibu ennyo. (Beb. 12:2) Teyakkiriza kuwugulibwa bintu ebiri mu nsi. (Mat. 4: 8-10) Osobola okukoppa Yesu ng’ofumiitiriza ku bintu eby’ekitalo Yakuwa by’asuubizza. Kuba akafaananyi ng’oli mu nsi empya. Osobola okuwandiika oba okukuba ebifaananyi by’ebintu bye weesunga okukola ng’oli mu nsi empya. Osobola okuwandiika amannya g’abantu be weesunga okulaba nga bazuukiziddwa era na biki bye wandyagadde okunyumyako nabo. Ebisuubizo ebyo bitwale nga gy’obeera Katonda abisuubizza ggwe kinnoomu, so si bantu bonna okutwalira awamu.

18. Okusaba kuyinza kutya okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo?

18 Saba Katonda akuyambe okunyweza okukkiriza kwo. Yesu yakubiriza abayigirizwa be okusaba Yakuwa abawe omwoyo omutukuvu. (Luk. 11:9, 13) Bw’oba osaba Yakuwa akuwe omwoyo gwe omutukuvu, musabe akuyambe okuba n’okukkiriza; ekimu ku bintu ebiri mu kibala ky’omwoyo omutukuvu. Tegeeza Katonda ekyo kyennyini ky’oyagala akukolere. Ng’ekyokulabirako, bw’okizuula nti kikuzibuwalira okusonyiwa abalala, saba Yakuwa anyweze okukkiriza kwo era akuyambe okuba omwetegefu okusonyiwa abalala.

19. Tuyinza tutya okulonda emikwano emirungi?

19 Londa emikwano egirina okukkiriza okw’amaanyi. Yesu yali mwegendereza ng’alonda mikwano gye egy’oku lusegere. Abatume, abaali mikwano gye egy’oku lusegere, baali bakyolese bulungi nti balina okukkiriza okw’amaanyi era nti beesigwa nga bakwata ebiragiro bye. (Soma Yokaana 15:14, 15.) N’olwekyo, bw’oba olonda emikwano, londa abo abakiraze nti balina okukkiriza okw’amaanyi nga bagondera Yesu. Era kijjukire nti ab’omukwano aba nnamaddala buli omu aba mwesimbu eri munne, ne bwe kiba nga kibeetaagisa okuwabula oba okuwabulibwa.—Nge. 27:9.

20. Birungi ki ebiyinza okuvaamu singa tuyamba abalala okunyweza okukkiriza kwabwe?

20 Yamba abalala okunyweza okukkiriza kwabwe. Yesu yayamba abayigirizwa be okunyweza okukkiriza kwabwe ng’ayitira mu ebyo bye yakola ne mu bye yayogeranga. (Mak. 11: 20-24) Tusaanidde okumukoppa, kubanga bwe tuyamba abalala okunyweza okukkiriza kwabwe, naffe tuba tunyweza okukkiriza kwaffe. (Nge. 11:25) Bw’oba obuulira era ng’oyigiriza, wa obukakafu obulaga nti Katonda gy’ali, atufaako, era nti Bayibuli Kigambo kye. Yamba bakkiriza banno okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe. Singa abamu batandika okubuusabuusa, oboolyawo nga beemulugunya ku abo abatwala obukulembeze mu kibiina, toyanguwa kubeesamba. Mu kifo ky’ekyo, fuba okubayamba okwongera okunyweza okukkiriza kwabwe. (Yud. 22, 23) Bw’oba oli ku ssomero omusomesa wo n’atandika okuyigiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa, yoleka obuvumu ng’olaga kaati ekyo ky’okkiririzaamu. Bw’okola bw’otyo, kiyinza okukwata ku musomesa wo ne ku bayizi banno.

21. Kiki Yakuwa ky’atusuubizza?

21 Okuyitira mu Yesu, Katonda yayamba Peetero okuggwaamu okutya n’okubuusabuusa, n’afuuka empagi mu kibiina Ekikristaayo ekyaliwo mu kyasa ekyasooka. Naffe Yakuwa atuyamba okusigala nga tuli banywevu mu kukkiriza. (Soma 1 Peetero 5:9, 10.) Kyetaagisa okufuba ennyo okusobola okunyweza okukkiriza kwaffe, naye bwe tufuba okukunyweza, Yakuwa ajja kutuwa emikisa mingi.

^ lup. 16 Ng’ekyokulabirako, laba ebitundu ebirina omutwe “Bayibuli Ekyusa Obulamu bw’Abantu” mu Omunaala gw’Omukuumi ogwa bonna.