Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Omuntu Wo ow’Omunda Akola Bulungi?

Omuntu Wo ow’Omunda Akola Bulungi?

“Ekigendererwa ky’ekiragiro kino kwe kuba n’okwagala okuva mu mutima omulongoofu, mu muntu ow’omunda omulungi.”—1 TIM. 1:5.

ENNYIMBA: 57, 48

1, 2. Ani yatuwa omuntu ow’omunda, era lwaki tuli basanyufu okuba nti tulina omuntu ow’omunda?

YAKUWA KATONDA yatonda abantu nga balina eddembe ery’okwesalirawo. Okusobola okuyamba abantu okusalawo obulungi, Katonda yabawa omuntu ow’omunda, kwe kugamba, obusobozi obw’okwawulawo ekituufu ku kikyamu. Bwe tukozesa obulungi omuntu waffe ow’omunda, asobola okutuyamba okukola ekituufu n’okwewala okukola ekikyamu. Omuntu waffe ow’omunda bukakafu bwa maanyi obulaga nti Katonda atwagala nnyo era nti ayagala tukole ekituufu.

2 Leero waliwo abantu abamu abakola ebirungi era ne beewala okukola ebibi wadde nga tebamanyi mitindo gya Bayibuli. (Soma Abaruumi 2:14, 15.) Lwaki kiri bwe kityo? Olw’okuba balina omuntu ow’omunda abayamba okwewala okukola ebintu ebibi. Lowooza ku ngeri ensi gye yandibaddemu singa abantu tebaalina muntu ow’omunda! Abantu bandibadde bakola ebintu ebibi ennyo n’okusinga bye bakola leero. Nga tuli basanyufu nnyo okuba nti Katonda yatonda abantu nga balina omuntu ow’omunda!

3. Omuntu ow’omunda atuganyula atya mu kibiina Ekikristaayo?

3 Obutafaananako bantu abali mu nsi eno, abaweereza ba Yakuwa bafuba okutendeka omuntu waabwe ow’omunda. Baagala okutendeka omuntu waabwe ow’omunda nga basinziira ku mitindo egiri mu Kigambo kya Katonda egikwata ku kituufu n’ekikyamu, ku kirungi n’ekibi. Bwe tutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, tuba ba mugaso nnyo mu kibiina Ekikristaayo. Kyokka okutendeka omuntu waffe ow’omunda n’okumukozesa kisingawo ku kumanya obumanya ebyo Bayibuli by’egamba. Bayibuli eraga nti waliwo akakwate wakati w’omuntu ow’omunda omulungi, okukkiriza, n’okwagala. Pawulo yawandiika nti: “Ekigendererwa ky’ekiragiro kino kwe kuba n’okwagala okuva mu mutima omulongoofu, mu muntu ow’omunda omulungi, ne mu kukkiriza okutaliimu bukuusa.” (1 Tim. 1:5) Bwe tutendeka omuntu waffe ow’omunda era ne tumuwuliriza, kijja kutuyamba okwongera okwagala Yakuwa era okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera. Engeri gye tukozesaamu omuntu waffe ow’omunda eraga wa we tutuuse mu kukula mu by’omwoyo, eraga ekyo ekiri mu mitima gyaffe, era eraga obanga ddala twagala okusanyusa Yakuwa. Mu butuufu, omuntu waffe ow’omunda alaga ekyo kyennyini kye tuli.

4. Tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda?

4 Naye tuyinza tutya okutendeka omuntu waffe ow’omunda? Tuyinza okumutendeka nga tusoma Bayibuli, nga tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, era nga tukolera ku ebyo bye tuba tuyize. Ekyo kitegeeza nti tetusaanidde kukoma ku kumanya bumanya ebyo ebiri mu Bayibuli oba amateeka ga Katonda. Bwe tuba tusoma Bayibuli, tusaanidde okufuba okwongera okutegeera Yakuwa, engeri ze, by’ayagala, ne by’atayagala. Bwe tweyongera okumanya Yakuwa, omuntu waffe ow’omunda ajja kwanguwa okutuyamba okumanya ebyo Yakuwa by’ayagala ne by’atayagala. Mu butuufu, gye tukoma okutendeka omuntu waffe ow’omunda, gye tukoma okuba n’endowooza ng’eya Yakuwa.

5. Kiki kye tugenda okulaba mu kitundu kino?

5 Naye tuyinza okuba nga twebuuza: Omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa obulungi ayinza atya okutuyamba nga tulina bye tusalawo? Tuyinza tutya okulaga nti tussa ekitiibwa mu muntu ow’omunda owa bakkiriza bannaffe? Era omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutukubiriza okukola ebikolwa ebirungi? Okusobola okuddamu ebibuuzo ebyo, ka tulabe engeri omuntu ow’omunda gy’ayinza okutuyambamu mu bintu bino wammanga: (1) mu by’obujjanjabi, (2) mu by’okwesanyusaamu, ne (3) mu buweereza bwaffe.

BEERA N’ENDOWOOZA ENNUŊŊAMU

6. Nsonga ki bangi gye batera okwebuuzaako?

6 Bayibuli etukubiriza okwewala ebintu ebiyinza okututuusaako obulabe n’obutagwa lubege bwe kituuka ku bintu ng’eby’okulya n’eby’okunywa. (Nge. 23:20; 2 Kol. 7:1) Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli, kituyamba okuba n’obulamu obulungi, wadde nga tuyinza okwolekagana n’ebizibu, gamba ng’okukaddiwa n’obulwadde. Leero waliwo obujjanjabi obutali bumu obusobola okuweebwa abantu. Ofiisi z’amatabi zitera okufuna amabaluwa okuva mu b’oluganda nga beebuuza ebibuuzo ebikwata ku by’obujjanjabi. Bangi ku bo babuuza nti, “Ddala omuweereza wa Yakuwa asaanidde okukkiriza obujjanjabi nga buno?”

7. Tuyinza tutya okusalawo ku bikwata ku by’obujjanjabi?

7 Ofiisi y’ettabi oba abakadde mu kibiina tebalina buyinza kusalirawo muweereza wa Yakuwa bujjanjabi ki bw’alina kukkiriza oba kugaana, ne bw’aba ng’abasabye okumusalirawo. (Bag. 6:5) Wadde kiri kityo, basobola okumuyamba okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Kigambo kya Katonda ebisobola okumuyamba okusalawo obulungi. Ng’ekyokulabirako, Omukristaayo asaanidde okujjukira etteeka lya Yakuwa erikwata ku ‘kwewala omusaayi.’ (Bik. 15:29) Okusinziira ku tteeka eryo, Omukristaayo asaanidde okwewala obujjanjabi obuzingiramu okukozesa omusaayi oba ebitundu ebikulu ebina eby’omusaayi. Okulowooza ku tteeka eryo kiyinza n’okuluŋŋamya omuntu ow’omunda ow’Omukristaayo ng’asalawo obanga anakkiriza obujjanjabi obuzingiramu okukozesa obutundutundu obuba buggiddwa mu bitundu ebikulu ebina eby’omusaayi. * Naye bulagirizi ki obulala okuva mu Bayibuli obusobola okutuyamba okusalawo obulungi ku bikwata ku bujjanjabi?

8. Ebyo ebiri mu Abafiripi 4:5 biyinza bitya okutuyamba nga tusalawo ku by’obujjanjabi?

8 Engero 14:15 wagamba nti: “Atalina magezi akkiriza buli kigambo kyonna: naye omuntu omutegeevu akebera nnyo amagenda ge.” Leero, waliwo obulwadde nga bwo tewali ddagala limanyiddwa lisobola kubuwonya. N’olwekyo, mu mbeera ng’eyo kiba kya magezi obutamala gakkiriza bujjanjabi obugambibwa okuba nti bwawonya omuntu eyalina obulwadde ng’obwo, naye nga tewali bukakafu bulaga nti ebyogerwa ddala bituufu. Pawulo yaluŋŋamizibwa okuwandiika nti: “Obutali bukakanyavu bwammwe [amagezi gammwe] bweyoleke eri abantu bonna.” (Baf. 4:5) Okukozesa amagezi kituyamba obutamalira birowoozo byaffe ku bya bujjanjabi ne tutuuka n’okulekera awo okukulembeza ebintu eby’omwoyo mu bulamu bwaffe. Singa ebirowoozo byaffe byonna tubimalira ku bya bujjanjabi, kiyinza okutuleetera okwerowoozaako ekisukkiridde. (Baf. 2:4) Tukimanyi bulungi nti tetusobola kubeera na bulamu butuukiridde mu kiseera kino. N’olwekyo, ebintu eby’omwoyo bye tusaanidde okukulembeza mu bulamu bwaffe.—Soma Abafiripi 1:10.

Okakaatika endowooza yo ku balala? (Laba akatundu 9)

9. Abaruumi 14:13, 19 wayinza watya okutuyamba nga tusalawo ku by’obulamu, era kiki ekiyinza okutabangula obumu bw’ekibiina?

9 Omukristaayo alina endowooza ennuŋŋamu takakaatika ndowooza ye ku balala. Mu nsi emu eya Bulaaya waaliwo ow’oluganda ne mukyala we abaali bafuba okukakasa abalala mu kibiina nti waliwo ekirungo ekimu eky’omugaso ennyo kye baalina okuteekanga mu mmere yaabwe. Baasendasenda ab’oluganda abamu ne batandika okukozesa ekirungo ekyo, naye abalala ne bagaana okukikozesa. Kyokka oluvannyuma kyeyoleka kaati nti ekirungo ekyo kyali tekikola nga bwe baali bagamba. Ow’oluganda oyo ne mukyala we baali ba ddembe okwesalirawo okukozesa ekirungo ekyo. Naye ddala kyali kya magezi okuleetawo enjawukana mu kibiina nga bassa nnyo essira ku by’obulamu? Okumala ekiseera, Abakristaayo mu Rooma baalina endowooza ez’enjawulo ku by’okulya ebimu n’okukwata ennaku ezimu. Magezi ki Pawulo ge yabawa? Ku bikwata ku kukwata ennaku, Pawulo yabagamba nti: “Omuntu omu olunaku olumu alutwala nga lusinga olulala; omulala olunaku olumu alutwala nga lulinga endala zonna; ka buli muntu abe mukakafu mu ndowooza ye.” Abakristaayo abo baalina okwewala okwesitazza abalala.—Soma Abaruumi 14:5, 13, 15, 19, 20.

10. Lwaki tusaanidde okussa ekitiibwa mu ebyo abalala bye baba basazeewo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

10 Bwe kiba nti tetutegeera bulungi nsonga lwaki mukkiriza munnaffe asazeewo mu ngeri emu oba endala ku bintu buli omu by’alina okwesalirawo ku lulwe, tetusaanidde kwanguyiriza kumusalira musango oba kumupikiriza kukyusa ndowooza ye. Kiyinzika okuba nti omuntu we ow’omunda akyali ‘munafu’ nga yeetaaga okwongera okutendeka, oba omuntu we ow’omunda ayinza okuba ng’amukugira nnyo. (1 Kol. 8:11, 12) Ku luuyi olulala, kiyinzika okuba nti ffe twetaaga okwekebera okulaba obanga omuntu waffe ow’omunda ye yeetaaga okwongera okutendekebwa asobole okukolera obulungi ku misingi gya Bayibuli. Kikulu okukijjukira nti buli omu ku ffe asaanidde okwesalirawo ku bikwata ku by’obujjanjabi, ng’akimanyi nti y’avunaanyizibwa ku ebyo ebinaavaamu.

EBY’OKWESANYUSAAMU

11, 12. Kulabula ki okuli mu Bayibuli okusobola okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

11 Yakuwa yatonda abantu nga basobola okunyumirwa eby’okwesanyusaamu n’okubiganyulwamu. Sulemaani yagamba nti waliwo ‘ekiseera eky’okusekeramu n’ekiseera eky’okuziniramu.’ (Mub. 3:4) Wadde kiri kityo, tekiri nti eby’okwesanyusaamu byonna bigasa era nti biwummuza ebirowoozo. Ate era si kirungi kumala budde bungi nnyo nga twesanyusaamu oba okwesanyusaamu kumpi buli kiseera. Omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutuyamba nga tulondawo eby’okwesanyusaamu?

12 Ebyawandiikibwa bitukubiriza okwewala “ebikolwa eby’omubiri.” Mu bikolwa ebyo mwe muli “obwenzi, obutali bulongoofu, obugwenyufu, okusinza ebifaananyi, eby’obusamize, empalana, okuyomba, obuggya, obusungu, empaka, okweyawulamu, okwekutulamu obubiina, ensaalwa, okwekatankira omwenge, ebinyumu, n’ebiringa ebyo.” Pawulo yagamba nti abo “abakola ebintu ng’ebyo tebalisikira Bwakabaka bwa Katonda.” (Bag. 5:19-21) N’olwekyo, kikulu okwebuuza: ‘Omuntu wange ow’omunda annyamba okwewala emizannyo egirimu ebikolwa eby’obukambwe, omwoyo ogw’okuvuganya, ne mwoyo gwa ggwanga? Omuntu wange ow’omunda andabula nga nkemebwa okulaba firimu omuli ebifaananyi eby’obuseegu, ezikubiriza ebikolwa eby’obugwenyufu, ettamiiro, oba ebikolwa eby’obusamize?’

13. Ebyo ebiri mu 1 Timoseewo 4:8 ne mu Engero 13:20 biyinza bitya okutuyamba nga tulonda eby’okwesanyusaamu?

13 Bayibuli erimu n’emisingi egisobola okutuyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda ku bikwata ku by’okwesanyusaamu. Ng’ekyokulabirako, egamba nti: “Okutendeka omubiri kugasa kitono.” (1 Tim. 4:8) Bangi bakkiriza nti okukola dduyiro kiyamba omubiri okuba omulamu obulungi era kikkakkanya ebirowoozo. Naye bwe tuba nga twagala okukola dduyiro nga tuli wamu n’abalala, ddala kiba kya magezi okumukola na buli omu gwe tuba tusanze? Engero 13:20 wagamba nti: “Otambulanga n’abantu ab’amagezi, naawe oliba n’amagezi: naye munnaabwe w’abasirusiru alibalagalwa.” Kyeyoleka bulungi nti tusaanidde okukozesa omuntu waffe ow’omunda atendekeddwa Bayibuli nga tulondawo eby’okwesanyusaamu.

14. Ab’omu maka agamu baakolera batya ku misingi egiri mu Abaruumi 14:2-4?

14 Christian ne mukyala we Daniela balina abaana babiri abavubuka. Christian agamba nti: “Lumu mu kusinza kwaffe okw’amaka, twayogera ku by’okwesanyusaamu. Twalaba nti eby’okwesanyusaamu ebimu birungi ate ebirala si birungi. Oluvannyuma twebuuza nti emikwano emirungi gye giruwa? Omu ku bawala baffe yagamba nti bwe baba bawummuddemu ku ssomero, abamu ku baana Abajulirwa ba Yakuwa beeyisa mu ngeri gy’alaba nga si ntuufu. Era oluusi naye awulira ng’ayagala okweyisa nga bo. Twamugamba nti buli omu alina omuntu ow’omunda, era alina okumukozesa ng’asalawo by’anaakola ne gw’anaabikola naye.”—Soma Abaruumi 14:2-4.

Omuntu wo ow’omunda atendekeddwa Bayibuli asobola okukuyamba okwewala emitawaana (Laba akatundu 14)

15. Okufumiitiriza ku ebyo ebiri mu Matayo 6:33 kiyinza kitya okutuyamba nga tusalawo ku bikwata ku by’okwesanyusaamu?

15 Biseera byenkana wa by’omala nga weesanyusaamu? Ebintu eby’omwoyo, gamba ng’enkuŋŋaana, okubuulira, n’okwesomesa by’okulembeza mu bulamu bwo, oba okulembeza bya kwesanyusaamu? Kiki ky’otwala ng’ekisinga obukulu mu bulamu bwo? Yesu yagamba nti: “Musooke munoonyenga Obwakabaka n’obutuukirivu bwe, era ebintu ebirala byonna biribongerwako.” (Mat. 6:33) Bw’oba osalawo ku ngeri gy’onookozesaamu ebiseera byo, omuntu wo ow’omunda akuyamba okukolera ku bigambo bya Yesu ebyo?

OKUNYIIKIRIRA EBIKOLWA EBIRUNGI

16. Omuntu waffe ow’omunda ayinza atya okutuyamba mu mulimu gw’okubuulira?

16 Ng’oggyeeko okuba nti omuntu ow’omunda atuyamba okwewala okukola ebintu ebibi, era atuyamba okukola ebikolwa ebirungi. Mu bikolwa ebyo ebirungi mwe muli okwenyigira mu mulimu gw’okubuulira nnyumba ku nnyumba n’okubuulira embagirawo. Omuntu ow’omunda yakubiriza Pawulo okubuulira n’obunyiikivu. Yawandiika nti: “Nnina okugalangirira. Mazima ddala zinsanze bwe sirangirira mawulire malungi!” (1 Kol. 9:16) Bwe tufuba okukoppa Pawulo, muli tuwulira ng’omuntu waffe ow’omunda atukakasa nti ekyo kye tukola kirungi. Ate era bwe tubuulira amawulire amalungi, kikwata ne ku muntu ow’omunda ow’abo be tubuulira. Pawulo yagamba nti: “Nga twoleka amazima, era nga tuba kyakulabirako ekirungi eri [omuntu ow’omunda owa buli muntu] mu maaso ga Katonda.”—2 Kol. 4:2, obugambo obuli wansi.

17. Mwannyinaffe omu eyali akyali omuvubuka yakolera atya ku muntu we ow’omunda?

17 Mwannyinaffe Jacqueline bwe yali wa myaka 16, yali mu kibiina nga basoma ssaayansi. Omusomesa yali ayigiriza nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Jacqueline agamba nti: “Omuntu wange ow’omunda teyanzikiriza kwenyigira mu kukubaganya birowoozo ku olwo nga bwe nnali ntera okukola. Nnali sisobola kuwagira njigiriza eyo egamba nti ebintu tebyatondebwa butondebwa. Oluvannyuma nnatuukirira omusomesa ne mmubuulira endowooza gye nnina ku nsonga eyo. Yampuliriza bulungi era n’ampa akakisa okwogerako ne bayizi bannange bonna ku nsonga ekwata ku kutondebwa kw’ebintu.” Jacqueline yali musanyufu nnyo okuba nti yawuliriza omuntu we ow’omunda atendekeddwa Bayibuli era n’akola ekituufu. Naawe omuntu wo ow’omunda akuyamba okukola ekituufu?

18. Lwaki tusaanidde okufuba okuba n’omuntu ow’omunda omulungi?

18 Ffenna twagala okutuukanya obulamu bwaffe n’emitindo gya Yakuwa egy’obutuukirivu, era ekyo omuntu waffe ow’omunda asobola okutuyamba okukikola. Bwe tunyiikirira okusoma Ekigambo kya Katonda, ne tufumiitiriza ku ebyo bye tusoma, era ne tufuba okubikolerako, kituyamba okutendeka omuntu waffe ow’omunda. Bwe tutendeka obulungi omuntu waffe ow’omunda, ajja kutuyamba okutambuza obulamu bwaffe mu ngeri esanyusa Katonda!

^ lup. 7 Laba “Ebibuuzo Ebiva mu Basomi” mu Watchtower eya Jjuuni 15, 2004, lup. 29-31.