Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Twongere Okukkiriza”

“Twongere Okukkiriza”

“Nnyamba okukkiriza kwange kweyongereko!”MAK. 9:24.

ENNYIMBA: 81, 135

1. Lwaki kikulu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? (Laba ekifaananyi waggulu.)

WALI weebuuzizzaako ekibuuzo kino: ‘Yakuwa akiraba nga nsaana okuwonyezebwawo mu kibonyoobonyo ekinene nnyingire mu nsi empya?’ Kya lwatu nti waliwo ebintu ebitali bimu ebyetaagisa bwe tuba ab’okuwonawo. Ekimu ku bintu ebyo omutume Pawulo yakyogerako ng’agamba nti: “Awatali kukkiriza tekiyinzika kusanyusa Katonda.” (Beb. 11:6) Ekyo kiyinza okulabika ng’ekintu ekitono, naye ekituufu kiri nti, “okukkiriza si kwa bonna.” (2 Bas. 3:2) Ebyawandiikibwa ebyo biraga nti kikulu nnyo okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.

2, 3. (a) Peetero yakiraga atya nti kikulu okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? (b) Bibuuzo ki bye tugenda okwekenneenya?

2 Omutume Peetero yakiraga nti kikulu okuba n’okukkiriza bwe yagamba nti okukkiriza ‘okugezeseddwa kuviirako omuntu okufuna ettendo n’ekitiibwa mu kubikkulibwa kwa Yesu Kristo.’ (Soma 1 Peetero 1:7.) Okuva bwe kiri nti ekibonyoobonyo ekinene kinaatera okutuuka, twagala okuba n’okukkiriza okunaatusobozesa okubeera mu abo abanaaweebwa empeera mu kubikkulibwa kwa Kabaka waffe. Mu butuufu, twagala okuba ‘n’okukkiriza okusobola okuwonyaawo obulamu’ bwaffe. (Beb. 10:39) Tusaanide okuba ng’omusajja eyagamba Yesu nti: “Nnyamba okukkiriza kwange kweyongereko!” (Mak. 9:24) Era tusaanidde okuba ng’abatume ba Yesu abaamugamba nti: “Twongere okukkiriza.”—Luk. 17:5.

3 N’olwekyo, tusaanidde okwebuuza: Kiki ekinaatuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi? Tuyinza tutya okulaga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi? Lwaki tuli bakakafu nti bwe tunaasaba Katonda okutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, ajja kuddamu essaala yaffe?

OKUBA N’OKUKKIRIZA OKUSANYUSA KATONDA

4. Byakulabirako ki ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe?

4 Okuva bwe kiri nti “ebintu byonna ebyawandiikibwa edda byawandiikibwa okutuyigiriza,” tulina bingi bye tusobola okuyigira ku bantu aboogerwako mu Bayibuli abaayoleka okukkiriza. (Bar. 15:4) Bwe tusoma ku bantu nga Ibulayimu, Saala, Isaaka, Yakobo, Musa, Lakabu, Gidyoni, Balaka, n’abalala bangi kiyinza okutuyamba okulaba engeri gye tuyinza okunywezaamu okukkiriza kwaffe. (Beb. 11:32-35) Okugatta ku ekyo, bwe tusoma ku byafaayo bya bakkiriza bannaffe ab’omu kiseera kino aboolese okukkiriza okw’amaanyi, nakyo kisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. *

5. Eriya yayoleka atya okukkiriza okw’amaanyi, era ekyokulabirako kye yateekawo kitukubiriza kukola ki?

5 Ekimu ku byokulabirako eby’abantu aboogerwako mu Bayibuli kye kya nnabbi Eriya. Lowooza ku ngeri gye yayolekamu okukkiriza okw’amaanyi mu mbeera zino wammanga. Eriya bwe yali ategeeza Kabaka Akabu nti Yakuwa yali agenda kuleeta ekyeya, yayogera nga taliimu kubuusabuusa kwonna. Yagamba nti: “Nga Yakuwa . . . bw’ali omulamu, tewajja kubaawo musulo wadde enkuba . . . okuggyako nga ŋŋambye nti bibeewo!” (1 Bassek. 17:1, NW) Eriya yali mukakafu nti Yakuwa yandikoze ku byetaago bye eby’omubiri n’eby’abalala mu kiseera ky’ekyeya. (1 Bassek. 17:4, 5, 13, 14) Era yali mukakafu nti Yakuwa yali ajja kuzuukiza omwana eyali afudde. (1 Bassek. 17:21) Teyaliimu kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa yandisindise omuliro ne gwokya ekiweebwayo kye ku Lusozi Kalumeeri. (1 Bassek. 18:24, 37) Ekiseera bwe kyatuuka Yakuwa okukomya ekyeya, Eriya yali mukakafu nti enkuba yanditonnye, wadde nga waali tewannalabika kabonero konna kaali kakiraga. Yagamba Akabu nti: “Golokoka olye onywe; kubanga waliwo okuwuuma kw’enkuba nnyingi.” (1 Bassek. 18:41) Ebyokulabirako ng’ebyo tebyandituleetedde okwekebera okulaba obanga okukkiriza kwaffe kunywevu?

KYE TUYINZA OKUKOLA OKUNYWEZA OKUKKIRIZA KWAFFE

6. Kiki kye tusaanidde okusaba Yakuwa bwe tuba ab’okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

6 Tetusobola kuba na kukkiriza kunywevu mu maanyi gaffe. Kikulu okukijjukira nti okukkiriza kye kimu ku ebyo ebiri mu kibala eky’omwoyo omutukuvu. (Bag. 5:22) N’olwekyo, tusaanidde okusaba Katonda atuwenga omwoyo gwe omutukuvu nga Yesu bwe yatukubiriza okukola, kubanga Yesu yatukakasa nti Katonda awa “omwoyo omutukuvu abo abamusaba.”—Luk. 11:13.

7. Waayo ekyokulabirako ekiraga engeri gye tuyinza okukuuma okukkiriza kwaffe nga kunywevu.

7 Bwe tumala okufuna okukkiriza okunywevu, tulina okufuba okukukuuma. Okukkiriza kwaffe kuyinza okugeraageranyizibwa ku muliro. Bwe tuba twakakuma omuliro, guyinza okuba ogw’amaanyi. Kyokka singa tetuguseesaamu, gusobola okuzikira. Naye singa tuguseesaamu, gusobola okweyongera okwaka awatali kuzikira. Mu ngeri y’emu, okukkiriza kwaffe okusobola okusigala nga kunywevu tulina okwesomesa Ekigambo kya Katonda obutayosa. Bwe tufuba okwesomesanga Bayibuli, tujja kweyongera okugyagala n’okwagala Oyo eyagiwandiisa, era ekyo kijja kutuyamba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi.

8. Kiki ekiyinza okutuyamba okuba n’okukkiriza okunywevu era n’okukukuuma?

8 Kiki ekirala ky’oyinza okukola okusobola okuba n’okukkiriza okunywevu era n’okukukuuma? Toba mumativu n’ebyo byokka bye wayiga okutuusa lwe wabatizibwa. (Beb. 6:1, 2) Weetegereze engeri obunnabbi bwa Bayibuli gye bwatuukirizibwamu kubanga ekyo kisobola okukuyamba okunyweza okukkiriza kwo. Era kozesa Ekigambo kya Katonda okwekebera okulaba obanga okukkiriza kwo kunywevu.—Soma Yakobo 1:25; 2:24, 26.

9, 10. Ebintu bino bituyamba bitya okuzimba okukkiriza kwaffe: (a) emikwano emirungi? (b) enkuŋŋaana z’ekibiina? (c) omulimu gw’okubuulira?

9 Omutume Pawulo yagamba Bakristaayo banne nti bandibadde ‘bazziŋŋanamu amaanyi okuyitira mu kukkiriza kwabwe.’ (Bar. 1:12) Bwe tubeera awamu ne bakkiriza bannaffe, naddala abo abalina okukkiriza “okugezeseddwa,” buli omu asobola okuzimba okukkiriza kwa munne. (Yak. 1:3) Emikwano emibi gisaanyaawo okukkiriza, naye emikwano emirungi gikuzimba. (1 Kol. 15:33) Eyo y’emu ku nsonga lwaki tukubirizibwa obutalekaayo “kukuŋŋaananga wamu” n’okwongera ‘okuzziŋŋanamu amaanyi.’ (Soma Abebbulaniya 10:24, 25.) Ate era, ebyo ebiyigirizibwa mu nkuŋŋaana bituyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Ekyo kituukagana bulungi n’ebigambo bya Pawulo bino: “Okukkiriza kufunibwa oluvannyuma lw’okuwulira ekigambo.” (Bar. 10:17) Tufuba okubeerawo mu nkuŋŋaana obutayosa?

10 Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira, tuzimba okukkiriza kw’abalala era ne tunyweza n’okukkiriza kwaffe. Okufaananako Abakristaayo abaaliwo mu kyasa ekyasooka, tuyiga okwesiga Yakuwa ekyo ne kituyamba okwogera n’obuvumu mu mbeera zonna.—Bik. 4:17-20; 13:46.

11. Kiki ekyayamba Kalebu ne Yoswa okuba n’okukkiriza okw’amaanyi, era tuyinza tutya okubakoppa?

11 Bwe tulaba engeri Yakuwa gy’atuyambamu n’engeri gy’addamu okusaba kwaffe, okukkiriza kwaffe kweyongera okunywera. Bwe kityo bwe kyali eri Kalebu ne Yoswa. Baayoleka okukkiriza bwe baagenda okuketta Ensi Ensuubize. Kyokka bwe beeyongera okulaba engeri Katonda gye yali abayambamu, okukkiriza kwabwe kweyongera okunywera. Eyo ye nsonga lwaki Yoswa yali asobola okugamba Baisiraeri banne nti: “Tewali kigambo [na] kimu ekitatuuse mu birungi byonna Mukama Katonda wammwe bye yaboogerako.” Oluvannyuma yagattako nti: “Kaakano mutyenga Mukama, mumuweerezenga mu mazima awatali bukuusa . . . Nze n’ennyumba yange, ffe tunaaweerezanga Mukama.” (Yos. 23:14; 24:14, 15) Bwe twetegereza engeri Yakuwa gy’atuyambamu, naffe kisobola okutuyamba okwongera okumwesiga.—Zab. 34:8.

ENGERI GYE TUYINZA OKWOLEKAMU OKUKKIRIZA KWAFFE

12. Tuyinza tutya okukiraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi?

12 Tuyinza tutya okukiraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi? Omuyigirizwa Yakobo addamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Nnaakulaga okukkiriza kwange mu bikolwa byange.” (Yak. 2:18) Ebyo bye tukola bye biraga nti tulina okukkiriza okw’amaanyi. Ka tulabeyo ebyokulabirako.

Abo ababuulira n’obunyiikivu bakyoleka nti balina okukkiriza okw’amaanyi (Laba akatundu 13)

13. Bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira kiraga kitya nti tulina okukkiriza?

13 Engeri emu gye tuyinza okukyoleka nti tulina okukkiriza okw’amaanyi kwe kwenyigira mu mulimu gw’okubuulira. Lwaki tugamba bwe tutyo? Kubanga bwe tubuulira, kiba kiraga nti tukkiriza nti enkomerero eri kumpi era nti ‘tejja kulwa!’ (Kaab. 2:3) Tuyinza okumanya obanga tulina okukkiriza okw’amaanyi nga twebuuza ebibuuzo bino: ‘Omulimu gw’okubuulira mukulu kwenkana wa gye ndi? Nfuba okubuulira n’obunyiikivu, oboolyawo nga nnoonya engeri y’okugaziyaamu obuweereza bwange?’ (2 Kol. 13:5) Mu butuufu, bwe twenyigira mu mulimu gw’okubuulira tuba tukyoleka nti tulina okukkiriza okw’amaanyi.—Soma Abaruumi 10:10.

14, 15. (a) Tuyinza tutya okukyoleka nti tulina okukkiriza? (b) Waayo ekyokulabirako eky’abantu abaayoleka okukkiriza okw’amaanyi.

14 Ate era tuyinza okwoleka okukkiriza nga twolekagana n’ebizibu ebitali bimu mu bulamu bwaffe. Ka tube nga tulina obulwadde obw’amaanyi, nga tuweddemu amaanyi, nga tuli bennyamivu, nga tuli baavu, oba nga tulina ekizibu ekirala kyonna, tuli bakakafu nti Yakuwa n’Omwana we bajja ‘kutuyamba mu kiseera ekituufu.’ (Beb. 4:16) Tukiraga nti twesiga Yakuwa nga tumusaba atuyambe. Yesu yagamba nti tusobola okusaba Katonda atuyambe okufuna ebyetaago byaffe eby’omubiri, nga mw’otwalidde n’emmere yaffe eya buli lunaku. (Luk. 11:3) Waliwo ebyokulabirako bingi mu Bayibuli ebiraga nti Yakuwa asobola okutuwa bye twetaaga. Bwe wajjawo ekyeya eky’amaanyi mu Isiraeri, Yakuwa yawa Eriya emmere n’amazzi. Yakuwa yalagira ‘nnamuŋŋoona ne zimuleeteranga emmere n’ennyama ku makya n’akawungeezi, era yanywanga amazzi ag’omu kagga.’ (1 Bassek. 17:3-6) Tuli bakakafu nti naffe Yakuwa asobola okukola kyonna ekyetaagisa okutuwa bye twetaaga.

Twoleka okukkiriza nga tugumira embeera enzibu ze twolekagana nazo (Laba akatundu 14)

15 Bwe tukolera ku misingi gya Bayibuli, kisobola okutuyamba okufuna ebyetaago byaffe. Rebecca, mwannyinaffe omufumbo abeera mu Asiya, kino akiwaako obukakafu. Ye n’ab’omu maka ge baakolera ku ebyo ebiri mu Matayo 6:33 ne mu Engero 10:4 ne bakulembeza Obwakabaka era ne bafuba okuba abakozi abanyiikivu. Rebecca agamba nti ekiseera kyatuuka omwami we n’akiraba nti omulimu gwe yali akola gwali gujja kutaataaganya enteekateeka zaabwe ez’eby’omwoyo, bw’atyo n’asalawo okuguleka. Kyokka baalina abaana bana ab’okulabirira. Rebecca agamba nti: “Twatandika okufumba eby’okulya ne tubitunda. Emyaka gyonna gye twamala nga tweyimirizaawo mu ngeri eyo, Yakuwa teyatwabulira. Mu butuufu, tetwasulako njala.” Naawe okiraga mu bulamu bwo nti okikkiriza nti Bayibuli erimu amagezi agasingayo obulungi?

16. Bwe twesiga Katonda biki ebivaamu?

16 Tetusaanidde kuba na kubuusabuusa kwonna nti bwe tukolera ku bulagirizi Katonda bw’atuwa, ebivaamu biba birungi. Ng’ajuliza ebigambo bya nnabbi Kaabakuuku, omutume Pawulo yawandiika nti: “Omutuukirivu anaabanga mulamu lwa kukkiriza.” (Bag. 3:11; Kaab. 2:4) N’olwekyo, kikulu nnyo okwesiga Oyo asobola okutuyamba. Pawulo atugamba nti Katonda “asobola okukola ebisingira ddala ebyo bye tusaba oba bye tulowooza, ng’asinziira ku maanyi ge agakolera mu ffe.” (Bef. 3:20) Wadde ng’abaweereza ba Yakuwa bakola kyonna ekisoboka okukola Katonda by’ayagala, bakimanyi bulungi nti obusobozi bwabwe buliko ekkomo. Bwe kityo, beesiga Yakuwa nti ajja kubayamba. Tekituleetera essanyu okukimanya nti Katonda waffe ali wamu naffe?

OKUSABA KWAFFE KUDDIBWAMU

17. (a) Abatume bwe baasaba bongerweko okukkiriza, okusaba kwabwe kwaddibwamu kutya? (b) Bwe tusaba Katonda atwongere okukkiriza lwaki tusaanidde okuba abakakafu nti ajja kuddamu okusaba kwaffe?

17 Okusinziira ku ebyo bye tulabye mu kitundu kino, naffe tuyinza okuwulira ng’abatume bwe baawulira bwe baagamba Yesu nti: “Twongere okukkiriza.” (Luk. 17:5) Okusaba kwabwe kwaddibwamu, naddala ku lunaku lwa Pentekooti mu mwaka gwa 33 E.E. bwe baafukibwako omwoyo omutukuvu ne basobola okwongera okutegeera ekigendererwa kya Katonda. Ekyo kyanyweza nnyo okukkiriza kwabwe. N’ekyavaamu, baakola n’obunyiikivu omulimu gw’okubuulira amawulire amalungi. (Bak. 1:23) Naffe bwe tusaba Katonda atwongere okukkiriza, asobola okuddamu okusaba kwaffe? Bayibuli etukakasa nti Katonda addamu okusaba kwaffe singa ‘bye tusaba bituukagana n’ebyo by’ayagala.’—1 Yok. 5:14.

18. Yakuwa awa atya emikisa abo abafuba okuba n’okukkiriza okw’amaanyi?

18 Tewali kubuusabuusa kwonna nti Yakuwa asanyukira nnyo abo bonna abamwesiga n’omutima gwabwe gwonna. Bwe tusaba Yakuwa okutwongera okukkiriza, ajja kuddamu okusaba kwaffe era okukkiriza kwaffe kujja kweyongera okunywera, bwe kityo tube nga ‘tubalibwa mu abo abagwana Obwakabaka bwa Katonda.’—2 Bas. 1:3, 5.

^ lup. 4 Okusobola okulabayo ebimu ku byokulabirako ebyo, laba ebyafaayo bya Lillian Gobitas Klose (Awake! eya Jjulaayi 22, 1993), Feliks Borys (Awake! eya Febwali 22, 1994), ne Josephine Elias (Awake! eya Ssebutemba 2009).