Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Yamba Abaana Bo Abatiini Okuweereza Yakuwa

Yamba Abaana Bo Abatiini Okuweereza Yakuwa

“Yesu ne yeeyongera okufuna amagezi n’okukula era n’okusiimibwa Katonda n’abantu.”—LUK. 2:52.

ENNYIMBA: 41, 89

1, 2. (a) Kiki ekitera okweraliikiriza abazadde abalina abaana abatiini? (b) Abaana Abakristaayo bayinza batya okuganyulwa mu myaka gyabwe egy’obutiini?

EKIMU ku bintu ebisinga okuleetera abazadde essanyu kwe kulaba omwana waabwe ng’abatizibwa. Mwannyinaffe Berenice, alina abaana abana abaabatizibwa nga tebannaweza myaka 14, agamba nti: “Twasanyuka nnyo okulaba ng’abaana baffe beewaddeyo okuweereza Yakuwa. Naye era twali tukimanyi nti okuva bwe kiri abaana baffe baali batiini, baali bajja kwolekagana n’okusoomooza okutali kumu.” Bw’oba ng’olina omwana omutiini oba anaatera okuyingira emyaka gy’obutiini, oteekwa okuba ng’otegeera engeri Berenice gye yali awuliramu.

2 Omukugu omu eyeekenneenya enneeyisa y’abaana agamba nti: ‘Wadde ng’abaana bwe batuuka mu myaka egy’obutiini kireetawo okusoomooza eri bo bennyini n’eri bazadde baabwe, ekyo tekitegeeza nti abaana bwe baba mu myaka egy’obutiini balina kuba balalu oba kweyisa nga baana bato. Mu kifo ky’ekyo, abatiini basobola okuba ab’obuvunaanyizibwa, basobola okufaayo ku balala, n’okukola emikwano.’ Abatiini basobola okuganyulwa mu myaka gyabwe egyo nga beeyongera okunyweza enkolagana yaabwe ne Yakuwa, nga ne Yesu bwe yakola ng’akyali muto. (Soma Lukka 2:52.) Kati olwo kiki abazadde kye bayinza okukola okuyamba abaana baabwe abatiini? Abazadde balina bingi bye bayinza okuyigira ku ngeri Yesu gye yayolekamu okwagala, obwetoowaze, n’okutegeera ng’atendeka abayigirizwa be.

YAGALA NNYO OMWANA WO OMUTIINI

3. Kiki ekiraga nti Yesu yali mukwano gw’abatume be?

3 Yesu yali ayagala nnyo abatume be era yali mukwano gwabwe. (Soma Yokaana 15:15.) Mu biseera bya Bayibuli, mukama w’abaddu teyateranga kubuulira baddu be nneewulira ze oba ebyama bye. Naye Yesu teyali bw’atyo. Yafunangayo akadde okubeerako awamu n’abatume be, yanyumyangako nabo, era yabawulirizanga nga baliko bye bamugamba. (Mak. 6:30-32) Ekyo kyanyweza omukwano ogwali wakati wa Yesu n’abatume be era kyayamba abatume be okuba abeetegefu okwetikka obuvunaanyizibwa oluvannyuma bwe baafuna.

4. Oyinza otya okubeera mukwano gw’abaana bo? (Laba ekifaananyi ku lupapula 8.)

4 Ow’oluganda Michael, alina abaana ababiri agamba nti: “Wadde ng’omuzadde aba n’obuyinza ku mwana we, era asobola okubeera mukwano gwe.” Ab’omukwano bafuna akadde okubeerako awamu. Naawe oyinza okukiraba nti kyetaagisa okubaako enkyukakyuka z’okola osobole okufuna obudde obuwerako okubeerako awamu n’abaana bo. Ab’omukwano era batera okunyumirwa ebintu bye bimu. N’olwekyo, fuba okulaba nti onyumirwa ebintu omwana wo omutiini by’anyumirwa, gamba ng’ennyimba, firimu, oba eby’emizannyo. Ilaria, abeera mu Italy, agamba nti: “Bazadde bange baanyumirwanga ennyimba ezannyumiranga. Mu butuufu, taata yafuuka mukwano gwange ow’oku lusegere era saatyanga kumubuulira bintu oboolyawo bye nnandibadde ntya okumubuulira.” Bw’obeera mukwano gw’abaana bo abatiini era n’obayamba okuba mikwano gya Yakuwa, oba teweggyeeko buyinza bwo. (Zab. 25:14) Mu kifo ky’ekyo, kiba kiraga nti obaagala, obawa ekitiibwa, era nti otuukirikika. Ekyo kijja kuleetera abaana bo okukweyabiza.

5. Kiki Yesu kye yakola okuyamba abayigirizwa be okufuna essanyu eriva mu kuweereza Yakuwa n’obunyiikivu?

5 Yesu yali ayagala abayigirizwa be bafune ku ssanyu eriva mu kuweereza Yakuwa n’obunyiikivu. Bwe kityo, yabakubiriza okubuulira n’obunyiikivu era n’abakakasa nti yandibayambye.—Mat. 28:19, 20.

6, 7. Lwaki kikulu nnyo abazadde okuteerawo abaana baabwe enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo n’okuginywererako?

6 Kya lwatu nti oyagala okuyamba abaana bo okuba n’enkolagana ennungi ne Yakuwa. Era Katonda ayagala okuze abaana bo ‘mu kukangavvula kwa Yakuwa era obateekemu endowooza ye.’ (Bef. 6:4) N’olwekyo, kozesa obuyinza Katonda bwe yakuwa okuteekawo enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo n’okuginywerako. Ng’ekyokulabirako: Ofuba okulaba nti otwala abaana bo ku ssomero kubanga okimanyi nti ekyo kijja kubaganyula. Mu ngeri y’emu, abazadde abaagala abaana baabwe bafuba okulaba nti abaana baabwe baganyulwa mu buyigirize obuva eri Yakuwa okuyitira mu nkuŋŋaana z’ekibiina ne mu nteekateeka endala ez’eby’omwoyo. Okuva bwe kiri nti obuyigirize obuva eri Katonda bukulu nnyo, fuba okuyamba abaana bo okwagala ebintu eby’omwoyo n’okukiraba nti ebintu ebyo bijja kubayamba okuba ab’amagezi. (Nge. 24:14) Nga Yesu bwe yayamba abayigirizwa be, naawe fuba okuyamba abaana bo okwenyigira mu bujjuvu mu mulimu gw’okubuulira ng’obaleetera okwagala okuyigiriza abalala Ekigambo kya Katonda era ng’obayamba okuba n’enteekateeka ey’okubuulira obutayosa.

7 Okuba n’enteekateeka ennungi ey’eby’omwoyo, kiyamba kitya abatiini? Erin, abeera mu South Africa, agamba nti: “Ffe abaana tetwayagalanga kusoma Bayibuli, kugenda mu nkuŋŋaana, na kugenda kubuulira. Ebiseera ebimu twagezangako n’okutaataaganya okusinza kw’amaka. Naye bazadde baffe baanywereranga ku kituufu.” Agattako nti: “Ekyo kyanjigiriza okunywerera ku nteekateeka zange ez’eby’omwoyo. Singa wabaawo ekintu kyonna ekitaataaganya enteekateeka yange ey’eby’omwoyo, nkola kyonna ekisoboka okulaba nti nzirayo mangu ku nteekateeka yange eyo. Sirowooza nti nnandibadde bwe ntyo singa bazadde bange tebaanywereranga ku nteekateeka ey’eby’omwoyo. Singa baali tebanyweredde ku kituufu, oboolyawo kyandimbeeredde kyangu okulagajjalira enkuŋŋaana n’enteekateeka endala ez’eby’omwoyo.”

YOLEKA OBWETOOWAZE

8. (a) Yesu yayoleka atya obwetoowaze? (b) Okuba nti Yesu yali mwetoowaze kyakwata kitya ku bayigirizwa be?

8 Wadde nga Yesu yali atuukiridde, yayoleka obwetoowaze ng’akiraga nti naye yali yeetaaga obuyambi bwa Yakuwa. (Soma Yokaana 5:19.) Okuba nti Yesu yali mwetoowaze kyaleetera abayigirizwa be obutamussaamu kitiibwa? Nedda. Mu butuufu, ekyo kyaleetera abayigirizwa be okwongera okumwesiga. Era nabo kyabakubiriza okwoleka obwetoowaze nga Yesu bwe yakola.—Bik. 3:12, 13, 16.

9. Bwe weetonda era n’okkiriza nti waliwo ebintu by’otosobola kukola, kiyinza kitya okukwata ku baana bo abatiini?

9 Ffenna tulina obunafu obutali bumu, era obutafaananako Yesu, tetutuukiridde. Kikulu okukkiriza nti waliwo ebintu bye tutasobola kukola era nti tukola ensobi. (1 Yok. 1:8) Lowooza ku kino: Singa oba ne mukama wo eyeetonda ng’akoze ensobi n’oyo atakkiriza nsobi ze, ani ku bombi gwe wandisinze okussaamu ekitiibwa? Omwana wo omutiini bw’akiraba nti weetonda ng’okoze ensobi, kisobola okumuleetera okwongera okukussaamu ekitiibwa era naye kiyinza okumwanguyira okukkiriza ensobi ze. Rosemary, alina abaana abasatu abakuze, agamba nti: “Twakkirizanga ensobi zaffe era kyayamba abaana baffe okutweyabizanga nga balina ebizibu. Twakijjukiranga nti waliwo ebintu bye tutasobola kukola mu maanyi gaffe, bwe kityo, twayamba abaana baffe okumanya wa we basobola okufuna obuyambi obusingayo obulungi. Bwe baabanga beetaaga obuyambi, twabawanga amagezi okuva mu bitabo ebikubibwa omuddu omwesigwa era twasabanga nabo.”

10. Yesu yayoleka atya obwetoowaze ng’awa abagoberezi be ebiragiro?

10 Yesu yalina obuyinza okuwa abayigirizwa be ebiragiro. Wadde kyali kityo, teyabawanga buwi biragiro, wabula yabawanga n’ensonga lwaki yabibawanga. Ng’ekyokulabirako, teyagamba bugambi bagoberezi be kusooka kunoonya Bwakabaka bwa Katonda n’obutuukirivu bwe, naye era yabagamba nti: “Ebintu ebirala byonna biribongerwako.” Oluvannyuma lw’okugamba nti, “Mulekere awo okusalira abalala omusango,” Yesu yawa ensonga ng’agamba nti, “nammwe guleme okubasalirwa; kubanga nga bwe musala emisango, nammwe bwe mulisalirwa.”—Mat. 6:31–7:2.

11. Bwe kiba kituukirawo, lwaki kiba kirungi abazadde okuwa abaana baabwe ensonga lwaki bataddewo etteeka oba lwaki basazeewo okukola ekintu ekimu?

11 Bwe kiba kituukirawo, nnyonnyola omwana wo omutiini ensonga lwaki otaddewo etteeka erimu oba lwaki osazeewo okukola ekintu ekimu. Bw’ategeera endowooza gy’olina ku nsonga, kiyinza okumwanguyira okukugondera. Barry, eyakuza abaana abana, agamba nti: “Abaana bo abatiini bw’obawa ensonga lwaki obateereddewo etteeka erimu, bajja kukiraba nti tolitaddeewo lwa kuba obalinako obuyinza naye lwa kuba olina ensonga ennungi kw’osinzidde okulissaawo.” Ate era kijjukire nti omwana wo omutiini takyali mwana muto. Agenda ayiga ‘okukozesa amagezi ge okusalawo.’ (Bar. 12:1) Barry era agamba nti: “Abatiini balina okuyiga okusalawo mu ngeri ey’amagezi.” (Zab. 119:34) Bw’oyoleka obwetoowaze n’owa abaana bo abatiini ensonga lwaki osazeewo okukola ekintu ekimu, kisobola okubayamba okukiraba nti tokyabatwala ng’abaana abato, era kisobola okubayamba okuyiga ‘okukozesa amagezi gaabwe’ nga baliko kye basalawo.

YOLEKA OKUTEGEERA

12. Yesu yayoleka atya okutegeera ng’ayamba Peetero?

12 Yesu yayoleka okutegeera era yamanyanga ekyabanga kyetaagisa okukolebwa okuyamba abayigirizwa be. Ng’ekyokulabirako, omutume Peetero teyalina kigendererwa kikyamu bwe yagamba Yesu yeesaasire aleme okuttibwa. Kyokka Yesu yakiraba nti ebigambo Peetero bye yayogera byalaga nti Peetero yalinamu endowooza enkyamu. Okusobola okuyamba Peetero n’abayigirizwa abalala, Yesu yamuwabula era n’alaga akabi akayinza okuvaamu singa omuntu yeesaasira. Ate era Yesu yalaga n’emikisa egiva mu kwoleka omwoyo ogw’okwefiiriza. (Mat. 16:21-27) Ensonga eyo Peetero yagitegeera bulungi.—1 Peet. 2:20, 21.

13, 14. (a) Kiki ekiyinza okulaga nti okukkiriza kw’omwana wo omutiini kutandise okukendeera? (b) Oyinza otya okwoleka okutegeera ng’oyamba omwana wo omutiini?

13 Saba Yakuwa akuwe amagezi osobole okumanya engeri y’okuyambamu omwana wo omutiini. (Zab. 32:8) Ng’ekyokulabirako, kiki ekiyinza okulaga nti okukkiriza kw’omwana wo kutandise okukendeera? Ayinza okuba nga takyali musanyufu, nga yeemulugunya ku bakkiriza banne, oba nga takyakweyabiza. Toyanguyiriza kulowooza nti oboolyawo omwana wo atambulira mu bulamu obw’emirundi ebiri oba nti alina ekibi eky’amaanyi kye yakola. * Kyokka ate, tosaanidde kubuusa maaso bubonero ng’obwo.

Yamba abaana bo abatiini okufuna emikwano mu kibiina Ekikristaayo (Laba akatundu 14)

14 Okufaananako Yesu, naawe buuza ebibuuzo mu ngeri ey’amagezi. Ekyo kiyinza okugeraageranyizibwa ku kusena amazzi mu luzzi ng’okozesa bbaketi. Singa omala gagisikayo mangu, amazzi agamu gayiika. Mu ngeri y’emu, singa toyoleka bugumiikiriza ng’obuuza omwana wo ebibuuzo era n’omukaka okuddamu, tojja kusobola kumanya ky’alowooza oba engeri gy’awuliramu. (Soma Engero 20:5.) Ilaria, eyayogeddwako waggulu, agamba nti: “Bwe nnali nkyali mutiini, nnali njagala nnyo okumala ebiseera bingi ne bayizi bannange wadde nga nnali nkimanyi nti ekyo si kituufu. Ekyo kyammalako essanyu era bazadde bange baakiraba. Lumu akawungeezi, baŋŋamba nti baali bakirabye nti sikyali musanyufu era ne bambuuza obanga nnalina ekizibu. Nnatulika ne nkaaba, oluvannyuma ne mbabuulira ekizibu kye nnalina era ne mbasaba bannyambe. Bangwa mu kifuba, ne bankakasa nti baali bategeera embeera yange, era ne baŋŋamba nti bajja kunnyamba.” Bazadde ba Ilaria baatandikirawo okumuyamba okufuna emikwano emirungi mu kibiina.

15. Yesu yayoleka atya okutegeera ng’akolagana n’abalala?

15 Yesu era yayoleka okutegeera ng’alaba ebirungi mu balala. Ng’ekyokulabirako, Nassanayiri bwe yakimanya nti Yesu yali ava Nazaaleesi, yagamba nti: “Waliwo ekirungi ekiyinza okuva e Nazaaleesi?” (Yok. 1:46) Bw’olowooza ku bigambo Nassanayiri bye yayogera, wandimututte otya? Wandimututte ng’omuntu omusosoze era atalina kukkiriza? Yesu yayoleka okutegeera ng’anoonya ebirungi mu Nassanayiri. Yesu yagamba nti Nassanayiri yali ‘Muisiraeri yennyini, ataliimu bukuusa.’ (Yok. 1:47) Yesu yali asobola okumanya ekyo kyennyini ekiri mu mutima gw’omuntu era yakozesa obusobozi obwo okunoonya ebirungi mu balala.

16. Oyinza otya okuyamba omwana wo omutiini okukulaakulanya engeri ennungi?

16 Wadde ng’oyinza obutamanyira ddala ekyo ekiri ku mutima gw’omwana wo, Katonda osobola okukuyamba okwoleka okutegeera. Onoofuba okwoleka okutegeera n’onoonya ebirungi mu mwana wo omutiini? Tewali n’omu ayagala kutwalibwa ng’omuntu omubi oba omujeemu. Weewale okukiraga mu bigambo oba mu bikolwa nti omwana wo omutwala ng’omuntu omubi. Omwana wo omutiini ne bw’akola ekintu ekikunyiiza, muyambe okukiraba nti omulabamu ebirungi era nti asobola okukola ekituufu. Fuba okulaba enkyukakyuka ennungi z’aba akoze era omusiime. Muyambe okukulaakulanya engeri ennungi z’alina ng’obaako obuvunaanyizibwa bw’omuwa bwe kiba kituukirawo. Ekyo kyennyini Yesu kye yakola. Oluvannyuma lw’omwaka nga gumu n’ekitundu ng’asisinkanye Nassanayiri (era ayitibwa Battolomaayo), Yesu yamulonda okuba omu ku batume be era Nassanayiri yakola n’obunyiikivu omulimu Yesu gwe yamuwa. (Luk. 6:13, 14; Bik. 1:13, 14) Bw’osiima omwana wo era n’omuzzaamu amaanyi, n’otomutwala ng’omuntu atalina kirungi kyonna ky’asobola kukola, kisobola okumuyamba okuwulira nga wa mugaso era nti Yakuwa asobola okumukozesa.

BW’OYAMBA ABAANA BO OKUWEEREZA YAKUWA KIJJA KUKULEETERA ESSANYU LINGI

17, 18. Bwe mufuba okuyamba abaana bammwe abatiini okuweereza Yakuwa kiki ekinaavaamu?

17 Bw’oba oli muzadde, oyinza okuwulira ng’omutume Pawulo bwe yali awulira eri abo be yali atwala ng’abaana be. Yali abayambe okuyiga ebikwata ku Yakuwa era yali abaagala nnyo. Kyokka yali mweraliikirivu nti abamu ku bo baali bayinza okulekera awo okuweereza Yakuwa. (1 Kol. 4:15; 2 Kol. 2:4) Victor, eyakuza abaana abasatu, agamba nti: “Bwe baali mu myaka egy’obutiini, waaliwo okusoomooza kwa maanyi. Wadde kyali kityo, baalina ebintu ebirungi bingi bye baakolanga. Yakuwa yatuyamba nnyo, era enkolagana yaffe n’abaana baffe yeeyongera okunywera.”

18 Abazadde, mukirage nti mwagala nnyo abaana bammwe nga mukola kyonna ekisoboka okubayamba okuweereza Yakuwa. Bwe munaakola bwe mutyo, mujja kufuna essanyu lingi okulaba abaana bammwe nga basazeewo okuweereza Yakuwa era ne basigala nga “batambulira mu mazima.”—3 Yok. 4.

^ lup. 13 Abazadde bayinza okukozesa ebyo ebiri mu katabo Questions Young People Ask—Answers That Work, Muz. 1, lup. 317, ne Muz. 2, lup. 136-141.