Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Engeri Okufa kwa Yesu Gye Kuyinza Okukununula

Engeri Okufa kwa Yesu Gye Kuyinza Okukununula

Engeri Okufa kwa Yesu Gye Kuyinza Okukununula

EMYAKA nga 2,000 emabega, ku mukolo gw’Ekiyudaaya ogw’Okuyitako ogwaliwo mu 33 C.E., omusajja ataalina musango yafiirwa obulamu bwe abalala basobole okuba abalamu. Omusajja oyo yali ani? Yali Yesu ow’e Nazaaleesi. Baani abaganyulwa mu kufa kwe? Olulyo lw’omuntu lwonna luganyulwa. Olunyiriri lwa Baibuli olumanyiddwa obulungi lwogera bwe luti ku ssaddaaka eyo ey’okuwonyaawo obulamu: “Katonda bwe yayagala ensi bw’ati, n’okuwaayo n’awaayo Omwana we eyazaalibwa omu yekka, buli muntu yenna amukkiriza aleme okubula, naye abeere n’obulamu obutaggwaawo.”​—Yokaana 3:16.

Wadde ng’abantu bangi abamanyi olunyiriri olwo, batono nnyo abategeera amakulu gaalwo. Beebuuza nti: ‘Lwaki twetaaga ssaddaaka ya Kristo? Okufa kw’omuntu omu kuyinza kutya okununula olulyo lw’omuntu okuva mu kufa okw’olubeerera?’ Baibuli eddamu bulungi nnyo ebibuuzo ebyo.

Engeri Okufa gye Kwayingira mu Lulyo lw’Omuntu

Abamu balowooza nti abantu baatondebwa babeere ku nsi mu bulamu obulimu essanyu n’okubonaabona, n’oluvannyuma bafe bagende mu kifo ekisingako obulungi. Okusinziira ku ndowooza eno, ekigendererwa kya Katonda eri olulyo lw’omuntu kitwaliramu okufa. Kyokka Baibuli yo eraga nti okufa kwava ku kintu kirala nnyo. Egamba nti: ‘Ku bw’omuntu omu ekibi kyayingira mu nsi, okufa ne kuyingira olw’ekibi, bwe kityo okufa ne kubuna ku bantu bonna kubanga bonna baayonoona.’ (Abaruumi 5:12) Olunyiriri luno lulaga nti abantu bafa lwa kibi. Naye “omuntu omu” oyo eyaleetera olulyo lw’omuntu okubonaabona olw’ekibi y’ani?

Ekitabo ekiyitibwa The World Book Encyclopedia kigamba nti bannasayansi abasinga bakkiriza nti abantu bonna balina ensibuko emu, era Baibuli eraga bulungi nti ensibuko eyo emu​—ye ‘muntu omu.’ Mu Olubereberye 1:27 wagamba nti: “Katonda n’atonda omuntu mu ngeri ye, mu ngeri ya Katonda mwe yamutondera; omusajja n’omukazi bwe yabatonda.” N’olwekyo Baibuli egamba nti abantu ababiri abasooka bye bitonde Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna bye yasembayo okutonda.

Ekitabo ky’Olubereberye kitubuulira ebirala ebikwata ku bulamu bw’omuntu nga Yakuwa Katonda amaze okumutonda. Mu ebyo byonna, tewali Katonda we yayogerera kufa kwa muntu okuggyako ng’ajeemye. (Olubereberye 2:16, 17) Yali ayagala abantu babeere ku nsi erabika obulungi ennyo emirembe gyonna, nga basanyufu era nga balamu bulungi. Yali tayagala bakaddiwe era baffe. Kati olwo okufa kwajja kutya okufuga olulyo lw’omuntu?

Essuula 3 mu Olubereberye etulaga engeri abantu ababiri abasooka gye baasalawo mu bugenderevu okujeemera Omutonzi waabwe, Yakuwa Katonda. Bw’atyo Katonda yabawa ekibonerezo nga bwe yali abalabudde. Yagamba omusajja nti: “Oli nfuufu gwe, ne mu nfuufu mw’olidda.” (Olubereberye 3:19) Nga Katonda bwe yagamba, ekiseera kyatuuka abantu abo ababiri abajeemu ne bafa.

Kyokka ebizibu ebyava mu kwonoona tebyakoma ku bantu abo ababiri abasooka. Olw’obujeemu bwabwe baafiiriza bazzukulu baabwe obulamu obutuukiridde bwe bandyeyagaliddemu. Abazzukulu abo bonna abandizaaliddwa Yakuwa yabatwaliramu bwe yagamba Adamu ne Kaawa nti: “Mweyongerenga mwalenga mujjuze ensi mugirye; mufugenga eby’omu nnyanja n’ebibuuka waggulu na buli ekirina obulamu ekitambula ku nsi.” (Olubereberye 1:28) Ekiseera kyandituuse abantu ne bajjuza ensi era ne babeera mu bulamu obulungi ennyo obutaliimu kufa. Kyokka jjajjaabwe Adamu​—“omuntu omu”​—yabatunda mu buddu bw’ekibi, nga tebakyasobola kwewala kufa. Omutume Pawulo, omu ku bazzukulu b’omuntu oyo eyasooka, yawandiika nti: “Nze ndi wa mubiri, n[n]atundibwa okufugibwanga ekibi.”​—Abaruumi 7:14.

Ng’omuntu ow’ettima bw’ayinza okwonoona ekintu kya munne eky’omuwendo, Adamu naye bwe yakola ekibi yattattana olulyo lw’omuntu Katonda lwe yali atonze nga lutuukiridde. Adamu yazaala abaana, nabo ne bagenda nga bazaala bannaabwe. Buli mugigi ogwazaalibwanga gwakulanga ne guzaala omulala, era n’oluvannyuma ne gufa. Lwaki bonna bafudde? Kubanga bonna baava mu Adamu. Baibuli egamba nti: “Olw’okwonoona kw’omu abaafa bangi.” (Abaruumi 5:15) Okulwala, okukaddiwa, obwonoonyi, n’okufa, byonna byajjawo Adamu bwe yatunda bazzukulu be mu buddu bw’ekibi. Naffe ffenna tuli bazzukulu be.

Mu bbaluwa gye yawandiikira Abakristaayo b’e Ruumi, omutume Pawulo, nga naye yeebaliddemu, yayogera ku mbeera embi abantu abatatuukiridde gye balimu, ne ku ngeri gye tulwana n’ekibi. Yagamba nti: “Nze nga ndi muntu munaku! Ani alindokola mu mubiri ogw’okufa kuno?” Ekibuuzo ekyo si kikulu nnyo? Ani yandinunudde Pawulo​—n’abantu abalala bonna​—okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa? Pawulo kennyini addamu ekibuuzo ekyo ng’agamba nti: “Nneebaza Katonda ku bwa Yesu Kristo Mukama waffe.” (Abaruumi 7:14-25) Yee, Omutonzi waffe akoze enteekateeka okutununula ng’ayitira mu Mwana we Yesu Kristo.

Engeri Katonda gy’Akozesaamu Yesu Okununula Olulyo lw’Omuntu

Yesu yannyonnyola engeri gye yali ow’okukozesebwamu okununula olulyo lw’omuntu okuva mu buddu bw’ekibi. Yagamba nti: ‘Omwana w’omuntu y’ajja okuwaayo obulamu bwe ekinunulo eky’abangi.’ (Matayo 20:28) Mu ngeri ki obulamu bwa Yesu gye bukola ng’ekinunulo? Okufa kwe kutuganyula kutya?

Baibuli eyogera ku Yesu ‘ng’ataalina kibi’ era ‘eyayawulibwa okuva mu abo abalina ebibi.’ Mu bulamu bwe bwonna, Yesu yagondera Amateeka ga Katonda awatali kumenyako n’erimu. (Abaebbulaniya 4:15; 7:26) N’olwekyo, obutafaananako Adamu, Yesu teyafa lwa bujeemu. (Ezeekyeri 18:4) Yakkiriza okufa awatali musango asobole okutuukiriza ekigendererwa kya Kitaawe eky’okununula abantu okuva mu kibi n’okufa. Nga bwe kiragiddwa waggulu, Yesu yakkiriza okujja ‘okuwaayo obulamu bwe ng’ekinunulo.’ Olw’okwagala okw’ensusso, Yesu ‘yalega ku kufa ku lwa buli muntu.’​—Abaebbulaniya 2:9.

Omuwendo gw’obulamu Yesu bwe yawaayo gwali gwenkanira ddala n’ogw’obulamu Adamu bwe yafiirwa ng’ayonoonye. Kiki ekyava mu kufa kwa Yesu? Yakuwa yakkiriza ssaddaaka eyo ‘ng’omutango olwa bonna.’ (1 Timoseewo 2:6) Mu ngeri eyo Katonda yakozesa omuwendo gw’obulamu bwa Yesu okugula oba okununula olulyo lw’omuntu okuva mu buddu bw’ekibi n’okufa.

Emirundi mingi Baibuli eyogera ku kikolwa ky’Omutonzi kino eky’okwagala. Pawulo yajjukiza Abakristaayo nti ‘baagulibwa na muwendo.’ (1 Abakkolinso 6:20; 7:23) Peetero yagamba nti Katonda teyakozesa zaabu oba ffeeza okununula Abakristaayo okuva mu bulamu obutuusa mu kufa wabula yakozesa musaayi gwa Mwana we. (1 Peetero 1:18, 19) Okuyitira mu ssaddaaka y’ekinunulo kya Kristo, Yakuwa yakola enteekateeka okununula abantu okuva mu kufa okw’olubeerera.

Onooganyulwa mu Kinunulo kya Kristo?

Ng’ayogera ku abo abaganyulwa mu kinunulo kya Kristo, omutume Yokaana yawandiika nti: “[Yesu Kristo] gwe mutango olw’ebibi byaffe; so si lwa bibi byaffe f[f]ekka, era naye n’olw’ensi zonna.” (1 Yokaana 2:2) Yee, abantu bonna basobola okuganyulwa mu kinunulo kya Kristo. Ekyo kitegeeza nti buli omu ajja kuganyulwa mu ssaddaaka eno nga taliiko ky’akozeewo? Nedda. Jjukira abasajja bali abaanunulibwa abayogeddwako mu kitundu ekivuddeko. Abadduukirize baabaweereza akatimba, naye kyali eri buli omu ku basajja abo okuyingira akatimba ako. Mu ngeri y’emu, abo abaagala okuganyulwa mu ssaddaaka ya Kristo tebalina kulinda bulinzi Katonda kubawa mikisa. Balina okubaako kye bakola.

Kiki Katonda ky’ayagala bakole? Mu Yokaana 3:36 wagamba nti: “Akkiriza Omwana alina obulamu obutaggwaawo; naye atakkiriza Mwana, taliraba bulamu, naye obusungu bwa Katonda bubeera ku ye.” Katonda ayagala tukkiririze mu ssaddaaka ya Kristo. Era waliwo n’ekirala ky’ayagala tukole. ‘Ku kino kwe tutegeerera nga tutegedde Yesu, bwe tukwata ebiragiro bye.’ (1 Yokaana 2:3) N’olwekyo, kyeyoleka bulungi nti okusobola okununulibwa okuva mu kibi n’okufa, tulina okukkiririza mu kinunulo kya Kristo n’okugondera ebiragiro bye.

Engeri emu enkulu mwe tulagira nti tukkiririza mu kinunulo kya Yesu kwe kujjukira okufa kwe, nga bwe yalagira. Bwe yali n’abatume be abeesigwa mu kiro kye ekyasembayo ku nsi, Yesu yatandikawo ekijjulo ekyalina amakulu ag’akabonero era n’abagamba nti: “Mukolenga bwe mutyo okunjijukiranga nze.” (Lukka 22:19) Abajulirwa ba Yakuwa batwala enkolagana yaabwe n’Omwana wa Katonda nga ya muwendo nnyo, era bagondera ekiragiro ekyo. Omwaka guno, Ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu Kristo kijja kubaawo ku Lwomukaaga, Maaki 22, ng’enjuba emaze okugwa. Tukwaniriza okubaawo ku lukuŋŋaana luno olw’enjawulo, ogondere ekiragiro kya Yesu. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo bajja kukubuulira essaawa n’ekifo omukolo ogwo we gunaabeera. Ku Kijjukizo, ojja kuyiga ebisingawo ku ekyo kye weetaaga okukola ekinunulo kya Kristo bwe kiba eky’okukununula okuva mu bizibu ebyaleetebwa ekibi kya Adamu.

Abantu batono nnyo leero abategeera obulungi era ne basiima ssaddaaka ey’omuwendo Omutonzi waabwe n’Omwana we gye baawaayo okusobola okubanunula okuva mu kuzikirira. Abo abakkiririza mu ssaddaaka eyo balina essanyu ery’enjawulo. Omutume Peetero yawandiika bw’ati ku Bakristaayo banne: ‘Mukkiriza Yesu, ne mujaguza essanyu eritayogerekeka, eririna ekitiibwa: nga muweebwa ekyabakkirizisa, bwe bulokozi bw’obulamu.’ (1 Peetero 1:8, 9) Bw’oneeyongera okwagala Yesu Kristo n’okukkiririza mu ssaddaaka y’ekinunulo kye, osobola okwongera essanyu mu bulamu bwo kati era n’olindirira okununulibwa okuva mu kibi n’okufa mu biseera eby’omu maaso.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

Yesu yawaayo obulamu bwe okumalawo ebyo ebyava mu kwonoona kwa Adamu

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 7]

Ekijjukizo ky’okufa kwa Yesu Kristo kijja kubaawo ku Lwomukaaga, Maaki 22, 2008, ng’enjuba emaze okugwa