Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

3. Endwadde

3. Endwadde

3. Endwadde

‘Abantu balirumwa endwadde ez’akabi ennyo.’​—LUKKA 21:11, Contemporary English Version.

● Bonzali, omukungu mu kitongole ky’eby’obulamu mu kibuga mw’abeera mu nsi emu mu Afirika ekoseddwa ennyo olutalo olw’omunda, akoze kyonna ekisoboka okujjanjaba abakozi b’omu kirombe ekiri mu kibuga kye abafa olw’akawuka akaleeta obulwadde obuyitibwa Marburg. * Asabye abasawo abakulu abali mu bibuga ebinene obuyambi naye tabufunye. Nga wayise emyezi ena, obuyambi buleetebwa, naye nga Bonzali amaze okufa. Yakwatibwa obulwadde bwa Marburg okuva ku balombe be yali agezaako okuwonya.

OBUKAKAFU OBULIWO BULAGA KI? Obulwadde bw’amawuggwe (gamba nga pneumonia), endwadde z’ekiddukano, akawuka ka siriimu, akafuba, n’omusujja gw’ensiri z’ezimu ku ndwadde ez’akabi ennyo eziruma abantu. Mu mwaka oguyise, endwadde zino etaano zatta abantu ng’obukadde kkumi mu emitwalo nsanvu. Mu ngeri endala, endwadde zino zattanga omuntu omu buli luvannyuma lw’obutikitiki busatu, okumala omwaka mulamba.

ABATAKKIRIZIGANYA NA BUKAKAFU BUNO BATERA KWOGERA KI? Omuwendo gw’abantu gugenda gweyongera okwetoloola ensi yonna, n’olwekyo endwadde zirina kuba nnyingi. Abantu bangi basobola okukwatibwa obulwadde.

ENDOWOOZA EYO NTUUFU? Omuwendo gw’abantu gweyongedde nnyo okwetoloola ensi yonna. Kyokka, abantu nabo beeyongedde okukuguka mu kunoonyereza ebikwata ku ndwadde, okuziziyiza, n’okuzijanjaba. N’olw’ensonga eyo tetwandisuubidde ndwadde kukendeera? Bwe kityo bwe kyandibadde, naye endwadde zeeyongera bweyongezi.

GGWE OLOWOOZA OTYA? Abantu balumwa endwadde ez’akabi ennyo nga Bayibuli bwe yalagula?

Musisi, enjala, n’endwadde bikosezza nnyo obukadde n’obukadde bw’abantu. Abantu abalala bukadde na bukadde babonyabonyezebwa bannaabwe—nga bangi babonyabonyezebwa abo abaandibawadde obukuumi. Weetegereze ekyo ekyandibaddewo ekyogerwako mu bunnabbi bwa Bayibuli.

[Obugambo obuli wansi]

^ Obulwadde obuyitibwa Marburg Hemorrhagic Fever buleetebwa akawuka akefaananyirizaako ako akaleeta Ebola.

[Ebigambo ebisimbuddwa mu kitundu ekiri ku lupapula 6]

‘Nga bwe kiba eky’entiisa okulaba ng’empologoma oba ng’ensolo endala egenda ku kulya, bwe kityo bwe kiba eky’entiisa okulaba nga gwe n’abantu abalala abakwetoolodde obulwadde obw’akabi bubalya mpolampola.’​—OMUSAWO AYITIBWA MICHAEL OSTERHOLM.

[Ensibuko y’Ekifaananyi ekiri ku lupapula 6]

© William Daniels/Panos Pictures