Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

“Nzikiriza”

“Nzikiriza”

Koppa Okukkiriza Kwabwe

“Nzikiriza”

BULI Maliza lwe yalowoozanga ku ntaana ya mwannyina​—empuku eyali eggaddwawo n’ejjinja, yanakuwalanga nnyo. Yali tasobola kukikkiriza nti Laazaalo gwe yali ayagala ennyo yali afudde. Ennaku ennya mwannyina ze yamala ng’afudde, Maliza yakoowa nnyo olw’okukungubaga, n’olw’abagenyi abajjanga okumukubagiza.

Mu kiseera kino eyali ayimiridde mu maaso ga Maliza ye musajja eyali mukwano gwa Laazaalo nfiirabulago. Bwe yaddamu okulaba Yesu ne yeeyongera okunakuwala kubanga ye musajja yekka mu nsi yonna eyandisobodde okuwonya mwannyina n’atafa. Wadde kyali kityo, Maliza yabudaabudibwa olw’okusisinkana Yesu ebweru w’akabuga Bessaniya akaali ku kasozi. Ekiseera ekitono kye yamala ng’ali naye, Maliza yaddamu amaanyi olw’okuba Yesu yamutunuulira mu ngeri ey’ekisa, era eraga nti yali amulumirirwa. Yesu yamubuuza ebibuuzo ebyamuyamba okunyweza okukkiriza kwe, n’essuubi ery’okuzuukira lye yalina. Emboozi gye baali banyumya, yaleetera Maliza okwogera ebigambo bino ebikulu ennyo: “Nzikiriza nti ggwe Kristo Omwana wa Katonda, eyali ow’okujja mu nsi.”​—Yokaana 11:27.

Maliza yali mukyala eyalina okukkiriza okw’amaanyi. Ebitono ebimwogerwako mu Bayibuli bituwa eby’okuyiga ebisobola okutuyamba okunyweza okukkiriza kwaffe. Okusobola okuba abakakafu ku ekyo, ka twetegereze ebyo Bayibuli by’esooka okutubuulira ebikwata ku Maliza.

“Weeraliikirira era Otawaana”

Emyezi mitono emabega nga Laazaalo akyali mulamu bulungi, amaka mwe yali abeera agaali gasangibwa e Bessaniya gaali ganaatera okukyaza omugenyi omukulu ennyo, Yesu Kristo. Laazaalo, Maliza, ne Maliyamu baali ba luganda era nga babeera wamu. Abeekenneenya abamu bagamba nti Maliza ayinza okuba nga ye yali abasinga obukulu, okuva bwe kiri nti bye yakola byali ng’ebiraga nti ye yali akyazizza era oluusi nga y’asooka okwogerwako. (Yokaana 11:5) Tetuyinza kumanya obanga waliwo ku bo abasatu eyayingira obufumbo. Ka kibe nti baaliko abafumbo oba nedda, baali mikwano gya Yesu egy’oku lusegere. Ng’ali mu buweereza bwe mu Buyudaaya, gye yaziyizibwa ennyo nga kw’otadde n’okumuyisa obubi, Yesu yabeeranga mu maka gaabwe.Tewali kubuusabuusa nti Yesu yasiima nnyo olw’okubeera mu maka gye yali afiibwako ennyo era omwali emirembe.

Maliza yafangayo nnyo okulaba nti abagenyi abaabanga bakyadde awaka baba mu mbeera nnungi era bafiibwako. Yali mukyala mukozi era nga kirabika yabanga n’emirimu mingi egy’okukola. Ne Yesu lwe yabakyalira bwe kityo bwe kyali. Amangu ddala, Maliza yategekera omugenyi we omukulu era oboolyawo n’abo be yali atambula nabo ekijjulo eky’enjawulo ekyaliko ebika by’emmere ebitali bimu. Mu biseera ebyo, okusembeza abagenyi kyali kintu kikulu nnyo. Omugenyi bwe yatuukanga, baamwanirizanga nga bamunywegera, baamuggyangamu engatto, baamunaazanga ebigere era baamusiiganga ku mutwe amafuta ag’akaloosa era agaweweeza. (Lukka 7:44-47) Yali mpisa ya mu kitundu okulabirira omugenyi, okumuwa ekifo ekirungi aw’okuwummulirako awamu n’emmere ennungi.

Maliza ne Maliyamu baalina okukola emirimu mingi okulabirira omugenyi waabwe omukulu. Tewali kubuusabuusa nti Maliyamu, ebiseera ebimu alowoozebwa okuba nti ye yali asinga okufaayo n’okuba omukwata mpola ku bombi, yasooka kuyambako muganda we. Naye Yesu bwe yatuuka, ebintu byakyuka. Ekiseera ekyo Yesu yakitwala ng’akakisa ak’okuyigiririzaako​—era bw’atyo bwe yakola! Obutafaananako bakulembeze b’amadiini ab’omu kiseera ekyo, Yesu yawanga abakyala ekitiibwa era yabayigirizanga ebikwata ku Bwakabaka bwa Katonda era nga guno gwe gwali omulamwa gw’obuweereza bwe. Maliyamu yasanyuka nnyo bwe yafuna akakisa ak’okuyigirizibwa, yatuula kumpi n’ebigere bya Yesu era n’awuliriza buli kigambo kye yali ayogera.

Teeberezaamu obweraliikirivu Maliza bwe yalina. Olw’okuba yalina ebika by’emmere bingi bye yali agenda okufumba nga kw’otadde n’ebintu ebirala bye yalina okukolera abagenyi be, yeeyongera okweraliikirira n’okuwugulibwa. Bwe yali yeetala ng’adda eno n’eri ng’alaba muganda we atudde butuuzi tamuyambako, yanyiiga bunyiizi oba yatandika okweyigaanya? Bwe kiba nti bwe kityo bwe kyali, tekyewuunyisa. Yali tasobola kukola mirimu egyo gyonna bw’omu!

Maliza bwe yalaba nga takyasobola kukigumiikiriza, yasala Yesu ekirimi ng’amugamba nti: “Mukama wange, tofaayo ng’olaba muganda wange andese okukola ebintu bino byonna nzekka? Mugambe ajje annyambeko.” (Lukka 10:40) Ebigambo ebyo byali bya maanyi nnyo. Oluvannyuma yasaba Yesu alagire Maliyamu addeyo amuyambe ku mirimu.

Maliza ateekwa okuba nga yeewunya nnyo engeri Yesu gye yamuddamu, ng’era bwe kyewuunyisa abasomi ba Bayibuli bangi. Mu bukkakkamu, Yesu yamuddamu nti: “Maliza, Maliza, weeraliikirira era otawaana olw’ebintu ebingi. Ebintu bitono bye byetaagisa oba kimu. Maliyamu ye alonze ekisinga obulungi era tekijja kumuggibwako.” (Lukka 10:41, 42) Kiki Yesu kye yali ategeeza? Yali ategeeza nti Maliza mwagazi wa bintu? Yali alaga nti Maliza yakola kikyamu okufuba okumutegekera emmere ennungi?

Nedda. Yesu yali akiraba bulungi nti ebigendererwa bya Maliza byali birungi era nga biraga okwagala. Okugatta ku ekyo, yali takitwala nti okutegekera omugenyi eby’okulya ebiwerako kikyamu. Emabegako, Matayo bwe ‘yamufumbira ekijjulo ekinene’ yagendayo. (Lukka 5:29) Emmere ya Maliza si ye yali ensonga enkulu; wabula, ebyo Maliza bye yali akulembeza. Yali yeemalidde nnyo ku kufumba eby’okulya ebingi ne yeerabira ekyali kisinga obukulu. Kyali kiki ekyo?

Yesu, omwana omu yekka owa Yakuwa Katonda, yali mu maka ga Maliza ng’ayigiriza amazima. Tewali kintu kyonna, nga mw’otwalidde emmere ennungi n’ebyo bye yali ateekateeka, kyali kisinga ebyo Yesu bye yali ayigiriza obukulu. Tewali kubuusabuusa nti Yesu yanakuwala olw’okuba Maliza teyakozesa kakisa ako kunyweza kukkiriza kwe, naye yamuleka yeesalirewo. Kyokka, tekyali kituufu Maliza okusaba Yesu alagire Maliyamu okumuyambako ku mirimu, naye ekyandimuleetedde okusubwa okuyigirizibwa.

Mu ngeri ey’obukkakkamu Yesu yatereeza endowooza ya Maliza, ng’addiŋŋana erinnya lye n’egonjebwa asobole okumukkakkanya era yamukakasa nti kyali tekyetaagisa ‘kweraliikirira na kutawaana olw’ebintu ebingi.’ Emmere entonotono ey’ekika kimu oba bibiri yandibadde emala okuva bwe kiri nti waaliwo ekijjulo eky’eby’omwoyo. N’olwekyo, Maliza yali tayinza kuggya ku Maliyamu “ekisinga obulungi” kye yali alonze​—okuyigirizibwa Yesu!

Abagoberezi ba Kristo abaliwo leero balina bingi bye bayigira ku ebyo ebyaliwo mu maka ga Maliza. Tetusaanidde kukkiriza kintu kyonna kutulemesa kukola ku ‘bwetaavu bwaffe obw’eby’omwoyo.’ (Matayo 5:3) Wadde nga bwe tuba tusembeza abagenyi twagala okuba n’omwoyo omugabi era abanyiikivu nga Maliza, tetwandyagadde ‘kweraliikirira na kutawaana’ olw’ebintu ebitali bikulu nnyo ekiyinza okutuleetera okusubwa ekyo ekisinga obukulu. Ekigendererwa ekikulu eky’okusembeza oba okukyalira bakkiriza bannaffe si kubafumbira oba okutuwa ekijjulo makeke, wabula kuzziŋŋanamu maanyi n’okuwaŋŋana ebirabo eby’eby’omwoyo. (Abaruumi 1:11, 12) Mu kiseera ekyo eky’okuzziŋŋanamu amaanyi, kiyinza okwetaagisa okutegeka emmere entonotono.

Mwannyinaabwe Afa era n’Azuukizibwa

Maliza yakkiriza okubuulirira Yesu kwe yamuwa era n’abaako ky’akuyigirako? Tusobola okufuna eky’okuddamu. Omutume Yokaana bwe yali ayogera ku bikwata ku mwannyina wa Maliza yagamba nti: “Yesu yali ayagala nnyo Maliza ne muganda we era ne Laazaalo.” (Yokaana 11:5) Waali wayiseewo emyezi egiwerako bukya Yesu akyala e Bessaniya nga bwe kyayogeddwako waggulu. Kyeyoleka bulungi nti, Maliza teyasiba kiruyi oluvannyuma lwa Yesu okumubuulirira mu ngeri ey’okwagala. Yakolera ku kubuulirira okwo. Ne mu nsonga eno Maliza yatuteerawo ekyokulabirako ekirungi eky’okukkiriza, gwe ate ani ku ffe ateetaaga kuwabulwa emirundi egimu?

Mwannyina bwe yalwala, Maliza yafuba nnyo okumulabirira. Yakola kyonna ekisoboka okumubudaabuda n’okumujjanjaba. Wadde kyali kityo, Laazaalo yeeyongera okulwala. Ekiseera kyonna bannyina baamuli ku lusegere nga bamulabirira. Buli Maliza lwe yatunulanga ku mwannyina eyali yeeyongera okuyongobera, ateekwa okuba yajjukiranga emyaka emingi gye baali bamaze nga bali wamu mu ssanyu ne mu biseera eby’ennaku.

Bwe baalaba nti baali tebakyalina kye basobola kukola kuyamba Laazaalo, Maliza ne Maliyamu baasindikira Yesu obubaka. Ekifo kye yali abuuliramu kyali kya lugendo lwa nnaku bbiri. Obubaka bwe baamusindikira bwali mu bigambo bitonotono nga bugamba nti: “Mukama waffe, oyo gw’oyagala ennyo mulwadde.” (Yokaana 11:1, 3) Baali bakimanyi nti Yesu yali ayagala nnyo mwannyinaabwe, era baalina okukkiriza nti yandikoze kyonna ekisoboka okuyamba mukwano gwe. Baali basuubira nti Yesu yali ateekwa buteekwa kutuuka nga mwannyinaabwe tannafa? Bwe kiba bwe kityo, essuubi lyabwe lyali likomye. Laazaalo yafa.

Maliza ne Maliyamu bombi baakungubagira mwannyinaabwe, bateekateeka ebikwata ku kuziika n’okwaniriza abagenyi abangi abaava mu Bessaniya ne mu bifo ebiriraanyewo. Ne mu kiseera kino baali tebannaba kuwuliza ku Yesu. Ekiseera bwe kyagenda kiyitawo, Maliza ateekwa okuba nga yeeyongera okusoberwa. Oluvannyuma lw’ennaku nnya nga Laazaalo afudde, Maliza yawulira nti Yesu yali anaatera okutuuka mu kabuga. Nga bwe yali omukyala akolerawo, ne mu kiseera ekyo ekizibu, Maliza yasituka nga tabuuliddeko Maliyamu n’agenda okusisinkana Yesu.​—Yokaana 11:20.

Bwe yalaba Mukama we, yayogera ekyo ekyali kibaluma okumala ekiseera ye ne Maliyamu: “Mukama wange, singa wali wano mwannyinaze teyandifudde.” Naye era, Maliza yali akyalina essuubi n’okukkiriza. Yagattako nti: “Naye ne kaakano mmanyi nti ebintu byonna by’osaba, Katonda abikuwa.” Amangu ago Yesu yanyweza essuubi lye ng’amugamba nti: “Mwannyoko ajja kuzuukira.​—Yokaana 11:21-23.

Maliza yali alowooza nti Yesu ayogera ku kuzuukira okw’ebiseera eby’omu maaso, bwe kityo yaddamu nti: “Mmanyi nti alizuukira mu kuzuukira kw’oku lunaku olw’enkomerero.” (Yokaana 11:24) Yalina okukkiriza kwa maanyi nnyo mu ssuubi ery’okuzuukira. Abakulembeze b’eddiini y’Ekiyudaaya abamu, abayitibwa Abasaddukaayo, baali tebakkiriza nti walibaawo okuzuukira wadde ng’enjigiriza eyo yali erambikiddwa bulungi mu Byawandiikibwa ebitukuvu. (Danyeri 12:13; Makko 12:18) Kyokka, ye Maliza yali akimanya nti Yesu yayigiriza ku ssuubi ery’okuzuukira era n’azuukiza n’abafu​—wadde nga be yazuukiza baali tebanaaba kumala bbanga Laazaalo lye yali amaze ng’afudde. Maliza yali tamanyi byali bigenda kuddirira.

Oluvannyuma, Yesu yayogera ebigambo ebitayinza kwerabirwa: “Nze kuzuukira n’obulamu.” Mu butuufu, Yakuwa Katonda awadde Omwana we obuyinza obw’okuzuukiza abafu ku kigero eky’ensi yonna mu biseera eby’omu maaso. Yesu yabuuza Maliza nti: “Kino okikkiriza?” Oluvannyuma Maliza yamuddamu ng’akozesa ebigambo ebiri ku ntandikwa y’ekitundu kino. Yali akkiriza nti Yesu ye yali Kristo oba Masiya, era nti ye yali Omwana wa Yakuwa Katonda, era nti bannabbi baali baamulagulako nti yandizze mu nsi.​—Yokaana 5:28, 29; 11:25-27.

Yakuwa Katonda n’Omwana we Yesu Kristo, batwala okukkiriza ng’okwo nga kwa muwendo? Ebyaddirira Maliza bye yalaba bituwa eby’okuddamu ebitegeerekeka obulungi. Yayanguwa okuyita mwannyina. Oluvannyuma, yakiraba nti Yesu yali alumiddwa mu mutima bwe yali ayogera ne Maliyamu n’abantu abalala abaali bakungubaga. Yalaba amaziga ga Yesu olw’okunyolwa n’obulumi obw’amaanyi omuntu by’aba nabyo ng’afiiriddwa. Yawulira nga Yesu alagira okuggyawo ejjinja ku ntaana ya mwannyina. ​—Yokaana 11:28-39.

Maliza yagamba nti mwannyina ateekwa okuba ng’awunya kubanga yali amaze ennaku nnya ng’afudde. Yesu yamujjukiza nti: “Saakugambye nti bw’onokkiriza ojja kulaba ekitiibwa kya Katonda?” Maliza yakkiriza era n’alaba ekitiibwa kya Yakuwa Katonda. Mu kiseera ekyo kyennyini, Yakuwa yawa Omwana we amaanyi n’azuukiza Laazaalo! Lowooza ku bintu Maliza by’ateekwa okuba nga yajjukiranga okutuusa lwe yafa: Nga Yesu ayogera mu ddoboozi ery’omwanguka nti “Laazaalo, fuluma ojje!”; enswagiro okuva mu ntaana nga Laazaalo eyali akyazingiddwa mu ngoye ze baamuziikamu asituka n’atambula mpolampola okujja ku mulyango gw’entaana; nga Yesu abagamba nti “Mumusumulule, mumuleke agende”, era, n’essanyu eryaliwo nga ye ne Maliyamu bagwa mwannyinaabwe mu kafuba. (Yokaana 11:40-44) Ennaku Maliza gye yalina ku mutima yaggwaawo!

Ebyo ebyaliwo biraga nti okuzuukira kw’abafu tekuteeberezebwa buteeberezebwa; njigiriza ya Bayibuli ezzaamu amaanyi era nga n’ebyafaayo bikakasa nti kyali kibaddewoko. Yakuwa n’Omwana we baagala nnyo okuwa empeera abo abalina okukkiriza, nga bwe baakola eri Maliza, Maliyamu, ne Laazaalo. Naawe bajja kukuwa empeera ng’eyo singa oba n’okukkiriza ng’okwa Maliza. *

‘Maliza Yali Abaweereza’

Bayibuli eddamu okwogera ku Maliza omulundi gumu gwokka. Kyaliwo mu wiiki eyali esembayo nga Yesu tannattibwa. Olw’okuba yali amanyi ebizibu bye yali agenda okwolekagana n’abyo, Yesu era yasalawo okugendako e Bessaniya abeereko eyo. Okuva eyo, yanditambudde mayiro bbiri okutuuka e Yerusaalemi. Yesu ne Laazaalo baali batudde ku kijjulo mu maka ga Simooni omugenge, era wano gwe mulundi ogusembayo Bayibuli okwogera ku Maliza ng’egamba nti: ‘Maliza yali abaweereza.’​—Yokaana 12:2.

Omukyala oyo nga yali munyiikivu nnyo! Omulundi Bayibuli gw’esooka okumwogerako, yali akola, n’omulundi gw’esembayo okumwogerako, akyakola, ng’afuba okukola ku bwetaavu bw’abo abaali naye. Ebibiina by’abagoberezi ba Kristo leero birina enkizo okuba n’abakyala abalinga Maliza​—abavumu era abagabi, abooleka okukkiriza kwabwe bulijjo nga beewaayo okuweereza abalala. Kyandiba nti Maliza yeeyongera okukola bw’atyo. Bwe kiba bwe kityo, yakola kya magezi kubanga kyandimuyambye okwaŋŋanga ebizibu ebirala bye yandyolekaganye nabyo.

Mu nnaku ntono, Maliza yalina okugumira okufa kwa Mukama we gwe yali ayagala ennyo, Yesu. Okugatta ku ekyo, abatemu abo abannanfuusi abatta Yesu baali bamaliridde okutta ne Laazaalo kubanga okuzuukizibwa kwe kwaleetera bangi okukkiririza mu Yesu. (Yokaana 12:9-11) Kya lwatu nti ekiseera kyatuuka okufa ne kwawukanya Maliza ne muganda we era ne mwannyina. Tetumanyi ngeri ki na ddi ekyo lwe kyabaawo naye tusobola okuba abakakafu nti, okukkiriza kwa Maliza kwamusobozesa okugumiikiriza okutuuka ku nkomerero. Eyo y’ensonga lwaki Abakristaayo leero basaanidde okukoppa Maliza, eyalina okukkiriza okw’amaanyi.

[Obugambo obuli wansi]

^ Okuyiga ebisingawo ebikwata ku njigiriza ya Bayibuli ey’okuzuukira, laba essuula 7 ey’akatabo akayitibwa Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akaakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 28]

Ne bwe yali mu nnaku ey’amaanyi, Maliza yassaayo omwoyo ku bintu ebinyweza okukkiriza Yesu bye yali amubuulira

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 30]

Wadde nga yali ‘yeeraliikirira era ng’atawaana,’ Maliza yali muwombeefu era yakkiriza okuterezebwa

[Ekifaananyi ekiri ku lupapula 32]

Maliza yafuna empeera olw’okukkiririza mu Yesu bwe yalaba nga mwannyina azuukidde