Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

BAYIBULI EDDAMU EBIBUUZO BINO

Katonda asobola okutusonyiwa ebibi byaffe?

Bayibuli egamba nti abantu bonna boonoonyi. Twasikira ekibi okuva ku Adamu omuntu eyasooka okutondebwa. Eyo y’ensonga lwaki oluusi tukola ebintu ebibi. Yesu Kristo Omwana wa Katonda yatufiirira n’atununula okuva mu kibi. Katonda asinziira ku ssaddaaka eyo ey’ekinunulo okutusonyiwa ebibi byaffe. Mu butuufu, ekinunulo kirabo okuva eri Katonda.​—Soma Abaruumi 3:23, 24.

Abantu abamu abakoze ebibi eby’amaanyi beebuuza obanga Katonda asobola okubasonyiwa. Bayibuli egamba nti: “Omusaayi gwa Yesu Omwana we gutunaazaako ekibi.” (1 Yokaana 1:7) Yakuwa asobola okutusonyiwa n’ebibi eby’amaanyi.​—Soma Isaaya 1:18.

Kiki kye tusaanidde okukola okusobola okusonyiyibwa?

Bwe tuba twagala Katonda atusonyiwe tulina okuyiga ebimukwatako, nga kino kizingiramu okutegeera engeri ze n’ebyo by’atwetaagisa. (Yokaana 17:3) Abo abeenenya mu bwesimbu era ne bakyusa empisa zaabwe, Yakuwa abasonyiwa.​—Soma Ebikolwa 3:19.

Si kizibu kukola Katonda by’atwetaagisa. Yakuwa akimanyi nti tetutuukiridde, musaasizi, era wa kisa. Ekyo tekyandikuleetedde kwongera kuyiga by’ayagala osobole okukola ebimusanyusa?​—Soma Zabbuli 103:13, 14.