Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OKUFUNA ESSANYU MU MAKA

Bw’Oba Waddamu Okuwasa oba Okufumbirwa

Bw’Oba Waddamu Okuwasa oba Okufumbirwa

HERMAN: * “Mukyala wange eyasooka yafa bulwadde bwa kookolo nga twakamala emyaka 34 mu bufumbo, ne mpasa omulala ayitibwa Linda. Linda yeemulugunyanga nti buli kiseera nnamugeraageranyanga ne mukyala wange eyasooka. N’ekyasinganga okumunyiiza kwe kuba nti mikwano gyange buli kiseera baayogeranga ku birungi mukyala wange eyasooka bye yakolanga.”

LINDA: “Bwe nnali nnaakafumbirwa Herman, nnali ndowooza nti ye ne mikwano gye tebayinza kunjagala nga bwe baayagalanga mukyala we eyasooka. Yali ayogerwako ng’omukyala ow’eggonjebwa era ow’empisa. Oluusi nneebuuza obanga ddala omwami wange ayinza okunjagala nga bwe yayagalanga mukyala we eyasooka.”

Linda yagattululwa n’omwami we eyasooka. Nga wayiseewo ekiseera, yafumbirwa Herman era basanyufu nnyo mu bufumbo bwabwe. Wadde kiri kityo, obufumbo obw’okubiri buyinza okubaamu okusoomoozebwa okutaali mu bwasooka. *

Bw’oba waddamu okuwasa oba okufumbirwa, obufumbo bw’olimu kati, obutwala otya? Tamara, eyagattululwa ne bba n’addamu okufumbirwa oluvannyuma lw’emyaka essatu agamba nti: “Bw’oba waakafumbirwa, oba osuubira nti obufumbo bwo bujja kuba bwa lubeerera. Naye mu bufumbo obw’okubiri toba na nneewulira y’emu kubanga oba okimanyi nti obufumbo bwo obwasooka bwasasika.”

Wadde kiri kityo, waliwo abantu bangi abazzeemu okufumbirwa oba okuwasa ne bafuna essanyu, era naawe osobola okulifuna. Kiki ky’oyinza okukola? Lowooza ku kusoomoozebwa kwa mirundi essatu okutera okubaawo n’engeri Bayibuli gy’eyinza okukuyambamu. *

OKUSOOMOOZEBWA 1: OKULOWOOZA ENNYO KU BUFUMBO OBWASOOKA.

Ellen abeera mu South Africa agamba nti: “Ndowooza nnyo ku bufumbo bwange obwasooka, nnaddala nga tugenze okuwummulirako mu bifo bye nnagendangamu n’omwami wange eyasooka. Oluusi nneesanga ngeraageranyizza omwami wange n’oli eyasooka.” Ku luuyi olulala, munno bw’aba nga yali mufumbo, kiyinza okukuyisa obubi singa buli kiseera aba ayogera ku bufumbo bwe obwasooka.

EKINAABAYAMBA: Buli omu tasuubira nti munne ajja kwerabirira ddala obufumbo bwe obwasooka, naddala bw’aba nga yabumalamu ekiseera kiwanvu. Mu butuufu, abamu beesanze nga bayise bannaabwe erinnya ly’oli gwe baasooka okuba naye mu bufumbo. Kiki kye muyinza okukola mu mbeera ng’eyo? Bayibuli egamba nti: “Buli omu afube okutegeera munne.”​—1 Peetero 3:8, New Century Version.

Munno bw’aba ayogera ku oyo gwe yasooka okubeera naye mu bufumbo, muwulirize bulungi. Ate era toyanguyiriza kulowooza nti akugeraageranya naye. Ian, eyaddamu okuwasa emyaka kkumi egiyise agamba nti, “Mukyala wange Kaitlyn teyakitwalanga nti kibi okwogera ku mukyala wange eyasooka. Wabula, yakitwalanga nti kimuyamba okumanya ekyanfuula kye ndi.” Munno bw’omuwuliriza obulungi, kiyinza okukuyamba okunyweza obufumbo bwammwe.

Essira lisse ku birungi munno gw’olina kati by’akola. Kyo kituufu nti wayinza okubaawo ebirungi munno gwe wasooka okuba naye bye yakolanga ono by’atakola, naye ate n’ono ayinza okuba n’ebirungi by’akola oli by’ataakolanga. N’olwekyo, siima ebirungi munno by’akola era tomugeraageranya na mulala. (Abaggalatiya 6:4) Ekyo kijja kukuyamba okunyweza obufumbo bwo. Edmond, eyaddamu okuwasa agamba bw’ati, “Ng’emikwano bwe gitafaanagana, n’obufumbo obw’emirundi ebiri tebufaanagana.”

Kiki ky’oyinza okukola okukakasa nti okwogera ku bufumbo bwo obwasooka tekinyiiza munno gw’olina kati? Jared agamba nti: “Nnagamba mukyala wange nti wadde ng’oluusi ndowooza ku bufumbo bwange obwasooka, ndi musanyufu nnyo okuba naye.”

GEZAAKO BINO: Buuza munno obanga kimuyisa bubi bw’oyogera ku bufumbo bwo obwasooka. Ate era manya lw’otasaanidde kubwogerako.

OKUSOOMOOZEBWA 2: KIKUZIBUWALIRA OKUKOLAGANA NE MIKWANO GYA MUNNO MU BUFUMBO.

Javier, eyagattululwa ne mukyala we eyasooka n’addamu okuwasa oluvannyuma lw’emyaka mukaaga agamba nti: “Mukyala wange gwe nnina kati yagamba nti kirabika egimu ku mikwano gyange baali bamugezesa okulaba obanga ali ng’oli eyasooka.” Ate ye Leo agamba nti: “Waliwo abaagamba mukyala wange nti baali baagala nnyo omwami we eyasooka, kyokka baabyogera weendi!”

EKINAAKUYAMBA: Wesse mu bigere bya mikwano gyo. Ian, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Oluusi ab’emikwano kibazibuwalira okukolagana n’omuntu gwe batamanyidde.” N’olwekyo toba ‘mukakanyavu,’ wabula beera ‘mukkakkamu eri abantu bonna.’ (Tito 3:2) Mikwano gyo kiyinza okubatwalira ekiseera okumanyiira munno, kale ba mugumiikiriza. Okuva bwe kiri nti kati oli mu bufumbo bulala, oyinza okufuna emikwano emirala. Javier, ayogeddwako waggulu agamba nti ekiseera bwe kyagenda kiyitawo enkolagana yaabwe ne mikwano gyabwe emikadde yalongooka, era nti baafuba okufuna emikwano emirala era ekyo nakyo kibayambye nnyo.

Faayo ku nneewulira ya munno bwe muba muli ne mikwano gyo. Ng’ekyokulabirako, bwe muba munyumya ne mikwano gyo ne batandika okwogera ku bufumbo bwo obwasooka, kozesa amagezi munno aleme kuyisibwa bubi. Bayibuli egamba nti: “Ayogera nga talowoozezza, ebigambo bye biba kitala ekifumita abalala; naye ebigambo by’ab’amagezi, biwonya.”​—Engero 12:18, Bayibuli y’Oluganda eya 2003.

GEZAAKO KINO: Faayo okumanya emikolo egiyinza obutasanyusa munno. Mwogere ku kye muyinza okukola nga mikwano gyo batandise okwogera ku bufumbo bwo obwasooka.

OKUSOOMOOZEBWA 3: KIKUZIBUWALIRA OKWESIGA MUNNO OLW’OKUBA EYASOOKA TEYALI MWESIGWA.

Andrew agamba nti: “Nnali ntidde okuddamu okuwasa nga ndowooza nti n’omukyala omulala teyandibadde mwesigwa.” Oluvannyuma yawasa omukyala gw’alina kati ayitibwa Riley. Andrew agamba nti: “Oluusi nneebuuzanga obanga ddala ndiba ng’omwami wa Riley eyasooka. Era nneeraliikiriranga nga ndowooza nti ayinza okundekawo n’afuna omusajja omulala.”

EKINAAKUYAMBA: Totya kubuulira munno ebikweraliikiriza. Bayibuli eraga nti kikulu nnyo okuteesa. (Engero 15:22) Okuteesa kwayamba Andrew ne Riley okwesigaŋŋana. Andrew agamba nti: “Nnagamba mukyala wange nti siryawukana naye ne bwe tuliba tufunye ebizibu, era naye yankakasa ekintu kye kimu. Ekyo kyandeetera okweyongera okumwesiga.”

Bwe kiba nti obufumbo bwa munno obwasooka bwasasika lwa kuba nti munne teyali mwesigwa, mukakase nti ggwe oli mwesigwa. Ng’ekyokulabirako, Michel ne Sabine buli omu yakakasa munne nti takyalina mpuliziganya yonna n’oli gwe yagattululwa naye mu bufumbo obwasooka. Sabine agamba nti: “Ekyo kyatuyamba okwesigaŋŋana.”​—Abeefeso 4:25.

GEZAAKO KINO: Ssaawo ekkomo ku kiseera ky’omala ng’oyogera n’oyo atali munno mu bufumbo ka kibeere ku ssimu, nga musisinkanye, oba ku Intaneeti.

Bangi abaddamu okuwasa oba okufumbirwa bafunye essanyu mu bufumbo bwabwe. N’obubwo busobola okubaamu essanyu. Ate era, oyinza n’okuba nga kati weemanyi bulungi okusinga bwe wali mu bufumbo obwasooka. Andrew, eyayogeddwako waggulu agamba nti: “Ndi musanyufu nnyo mu bufumbo bwange. Mu myaka 13 gye tumaze ne mukyala wange Riley, obufumbo bwaffe bweyongedde okunywera era tetwagala kintu kyonna kutwawukanya.”

^ Amannya gakyusiddwa.

^ Kyo kituufu nti oyo eyafiirwa munne mu bufumbo aba n’enneewulira ya njawulo ku y’oyo eyagattululwa ne munne. Ekitundu kino kitegekeddwa okuyamba abantu abali mu mbeera ezo zombi naye nga baddamu okuwasa oba okufumbirwa.

^ Okumanya engeri y’okukuzaamu abaana abatali babo, laba magazini ya Awake! eya Apuli 2012 eyalina omutwe, “Secrets of Successful Stepfamilies,” eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

WEEBUUZE . . .

  • Bintu ki ebirungi munnange by’akola?

  • Bwe mba njogera ku bufumbo bwange obwasooka, nnyinza ntya okwewala okunyiiza munnange mu bufumbo?