Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Amadiini Okukolera Awamu—Katonda Akitwala Atya?

Amadiini Okukolera Awamu—Katonda Akitwala Atya?

“Amadiini gatugatta oba gatwawulayawulamu?” Abawandiisi b’olupapula lw’amawulire oluyitibwa The Sydney Morning Herald be baabuuza abasomi baabwe ekibuuzo ekyo. Ku abo abaakiddamu, abantu nga 89 ku kikumi baagamba nti amadiini gatwawulayawulamu.

ABO abawagira eky’amadiini okukolera awamu bo bakiraba mu ngeri ndala. Eboo Patel eyatandikawo ekibiina ekiyitibwa Interfaith Youth Core yagamba nti: ‘Tewali ddiini etakubiriza bantu kuba ba kisa, kufaayo ku butonde, n’okuyamba bantu bannaabwe.’

Mu butuufu, Abakatuliki, Abapolotesitanti, Abahindu, Ababbuda, Abasiraamu, n’abantu ab’amadiini amalala oluusi bakolera wamu okulwanyisa obwavu, okulwanirira eddembe ly’obuntu, okulwanyisa obutujju, n’okulwanirira obutonde. Ate era amadiini ago galiko ebintu ebitali bimu bye gakoze okulaba nti gamalawo obukuubagano bwe galina. Abantu ab’omu madiini ago ebiseera ebimu basanyukira wamu, bayimbira wamu, basabira wamu, era waliwo n’ebintu ebirala bye bakolera awamu.

Naye eky’ebuuzibwa kiri nti, amadiini okukolera awamu kye kinaamalawo obukuubagano bwe galina? Ye abaffe, amadiini okukolera awamu ye ngeri Katonda gy’anaamalawo ebizibu ebiriwo mu nsi?

DDALA AMADIINI GASOBOLA OKUBA OBUMU?

Abaatandikawo ekimu ku bibiina ebisinga obunene amadiini ag’enjawulo mwe geegattira bagamba nti ekibiina kyabwe kirimu amadiini agasukka mu 200 era nti kiri mu nsi 76. Ekigendererwa kyabwe kyali kya “kukolera wamu awatali kweyawulamu.” Naye ekyo tebasobodde kukituukako. Ng’ekyokulabirako, abaatandikawo ekibiina ekyo baagamba nti baalina okwegendereza ennyo nga bawandiika endagaano baleme kunyiiza madiini ag’enjawulo agassa omukono ku ndagaano eyo. Lwaki kyali bwe kityo? Emu ku nsonga yali nti abamu baali baagala endagaano eyo eteekebwemu ebikwata ku Katonda kyokka ng’abalala tebakiwagira. N’ekyavaamu, beewala okuteekamu ekintu kyonna ekikwata ku Katonda.

Bwe kiba nti mu ndagaano yaabwe tebaateekamu kintu kyonna kikwata ku Katonda, kati olwo balina kigendererwa ki? Njawulo ki eriwo wakati w’ekibiina ekyo eky’eddiini n’ebibiina by’obwannakyewa? Tekyewuunyisa nti ekibiina ekyo tekikyetwala ng’ekibiina ky’eddiini, wabula “ng’ekibiina ky’obwegassi.”

OKUKUBIRIZA ABANTU OKWEYISA OBULUNGI KIMALA?

Dalai Lama, omu ku abo abaawagira ennyo eky’amadiini okukolera awamu yagamba nti: “Okutwalira awamu, amadiini gonna gayigiriza ebintu bye bimu: okwagalana, okuba ab’ekisa, n’okusonyiwagana.” Era yagattako nti: “Ekikulu kwe kukola ebintu ebyo bulijjo.”

Kyo kituufu nti kikulu nnyo okuba ab’ekisa, okwagalana, n’okusonyiwagana. Ne Yesu yagamba nti: “Ebintu byonna bye mwagala abalala okubakolanga, nammwe mubibakolenga.” (Matayo 7:12) Naye amadiini okukubiriza abantu okweyisa obulungi ku bwakyo kimala?

Omutume Pawulo bwe yali ayogera ku bantu abaali bagamba nti baweereza Katonda, yagamba nti: “Mbawaako obujulirwa nti banyiikira okuweereza Katonda; naye okunyiikira kwabwe tekwesigamye ku kumanya okutuufu.” Lwaki? Pawulo yagattako nti: ‘Olw’obutamanya butuukirivu bwa Katonda beeteerawo obwabwe.’ (Abaruumi 10:2, 3) Olw’okuba abantu abo baali tebalina kumanya kutuufu okukwata ku ebyo Katonda bye yali ayagala bakole, obunyiikivu bwabwe n’okukkiriza kwabwe byali tebigasa.Matayo 7:21-23.

BAYIBULI EWAGIRA EKY’AMADIINI OKUKOLERA AWAMU?

Yesu yagamba nti: “Balina essanyu abaleetawo emirembe.” (Matayo 5:9) Yesu yakolanga ebyo bye yayigirizanga, teyawagiranga bikolwa bya bukambwe era yabuuliranga abantu aba buli ngeri obubaka obw’emirembe. (Matayo 26:52) Abo abaakolera ku ebyo Yesu bye yabayigiriza baayagalananga nnyo. (Abakkolosaayi 3:14) Ekigendererwa kya Yesu kwali kukubiriza bukubiriza bantu ab’amawanga ag’enjawulo n’enzikiriza ez’enjawulo okukolera awamu? Yesu yasinzizanga wamu n’abantu ab’amadiini amalala?

Abakulembeze b’eddiini, Abafalisaayo n’Abasaddukaayo, baayigganya nnyo Yesu ne baagala n’okumutta. Kiki Yesu kye yakola? Yesu yagamba abatume be nti: “Mubaleke abo, bakulembeze abazibe b’amaaso.” (Matayo 15:14) Yesu teyasinzizanga wamu na bantu ng’abo.

Nga wayiseewo ekiseera, ekibiina Ekikristaayo kyatandikibwawo mu kibuga Kkolinso ekya Buyonaani, era ng’ekibuga ekyo kyalimu amadiini mangi. Abakristaayo bandikoze ki mu mbeera ng’eyo? Omutume Pawulo yabawandiikira ng’abategeeza nti tebaalina kusinziza wamu n’abantu ab’amadiini amalala. Yabagamba nti: “Obutuukirivu n’obujeemu bissa bitya ekimu? Oba ekitangaala n’ekizikiza bitabagana bitya?” Era yagattako nti: “Kristo ne Beriyali [oba, Sitaani] bassa batya ekimu?” Awo n’alyoka abagamba nti: “Kale muve wakati mu bo, era mubeeyawuleko.”2 Abakkolinso 6:14, 15, 17.

Kyeyoleka kaati nti Bayibuli tewagira kya madiini kukolera wamu. Kati olwo, kiki ekiyinza okuyamba abantu okuba obumu?

EKISOBOLA OKUYAMBA ABANTU OKUBA OBUMU

Kampuni ezizimba ebizimbe ziba n’abakozi bangi. Olowooza abakozi abo bayinza okukola omulimu gwabwe singa baba tebakkiriziganya ku pulaani y’ekizimbe ey’okukozesa?

Ebibiina omwegattira amadiini tuyinza okubigeraageranya ku kampuni ezo. Amadiini agali mu bibiina ebyo gaagala okuba obumu, naye tegakkiriziganya ku ngeri gye gasaanidde okutambuzaamu ebibiina bye galimu. N’ekivaamu buli ddiini esigala egoberera emitindo gyayo egy’empisa n’enjigiriza zaayo, era ekyo kireetawo enjawukana.

Bayibuli erimu emitindo ffenna gye tusaanidde okugoberera. Abo abakolera ku ebyo by’eyigiriza tebasosola muntu yenna olw’eggwanga lye oba olw’eddiini ye, era bakolera wamu mu mirembe. Katonda yalaga nti ekyo kye kyandibaddewo, bwe yagamba nti: “Ndikyusiza amawanga olulimi olulongoofu, bonna [bakoowoole] erinnya lya Mukama, okumuweereza n’omwoyo gumu.” N’olwekyo, okuba obumu kiva mu kwogera “olulimi olulongoofu,” nga gye mitindo Katonda gy’ayagala tugoberere nga tumusinza.Zeffaniya 3:9; Isaaya 2:2-4.

Abajulirwa ba Yakuwa bakwaniriza mu Kizimbe ky’Obwakabaka mwe basinziza naawe weerabireko nti ddala bali bumu era bali mu mirembe.Zabbuli 133:1.