Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Okufa kwa Yesu kutuganyula kutya?

Katonda bwe yali atonda abantu, yayagala babeere ku nsi emirembe gyonna awatali kulwala wadde okufa. Kyokka, Adamu omuntu eyasooka okutondebwa, yajeemera Katonda n’afiirwa enkizo ey’okubeera omulamu emirembe gyonna. Olw’okuba ffenna twava mu Adamu, twasikira ekibi n’okufa. (Abaruumi 5:8, 12; 6:23) Yakuwa Katonda yatuma omwana we Yesu ku nsi asobole okutununula okuva mu kibi n’okufa.Soma Yokaana 3:16.

Yesu yafa tusobole okufuna obulamu obutaggwaawo. Olowooza obulamu obwo buliba butya?

Okufa kwa Yesu kutusobozesa okusonyiyibwa ebibi byaffe n’okufuna obulamu obutaggwaawo. Bayibuli eraga nti mu biseera eby’omu maaso tujja kubeera ku nsi nga tetukaddiwa, nga tetulwala, era nga tetufa.Soma Isaaya 25:8; 33:24; Okubikkulirwa 21:4, 5.

Tusaanidde kujjukira tutya okufa kwa Yesu?

Mu kiro ekyasembayo nga tannattibwa, Yesu yakola omukolo omutonotono, era n’alagira abagoberezi be okumujjukiranga nga bakola omukolo gwe gumu. Bwe tubaawo ku mukolo ogwo buli mwaka, tuba tufumiitiriza ku ngeri Yesu ne Yakuwa gye baagalamu abantu.Soma Lukka 22:19, 20; 1 Yokaana 4:9, 10.

Omwaka guno, omukolo ogw’okujjukira okufa kwa Yesu gujja kubaawo ku Bbalaza nga Apuli 14, ng’enjuba emaze okugwa. Abajulirwa ba Yakuwa abali mu kitundu kyo bakwaniriza ku mukolo ogwo.Soma Abaruumi 1:11, 12.