Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

EBIKWATAGANA N’EBIRI KU NGULU | OKUNYWA SSIGALA KATONDA AKUTWALA ATYA?

Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?

Okunywa Ssigala Katonda Akutwala Atya?

Naoko, ayogeddwako mu kitundu ekivuddeko yagamba nti: “Ekyannyamba okuva ku ssigala kwe kuyiga ebikwata ku Katonda.” Ebyo bye yayiga biri mu Bayibuli. Wadde nga Bayibuli teyogera ku ssigala, etuyamba okutegeera endowooza ya Katonda ku kunywa ssigala. * Okumanya endowooza ya Katonda kiyambye bangi okwewala okunywa ssigala, ate abalala ne kibayamba okumuvaako. (2 Timoseewo 3:16, 17) Kati ka tulabe ebintu bisatu ebiraga nti ssigala wa bulabe nnyo era n’ekyo Bayibuli ky’eyogera ku nsonga eyo.

SI KYANGU KUVA KU SSIGALA

Ssigala alimu ekirungo ekiyitibwa nicotine ekireetera omuntu okuwulira nga buli kiseera ayagala okumunywa. Ekirungo ekyo kya bulabe eri obulamu bw’omuntu. Omuntu bw’anywa ssigala, ekirungo ekyo kituuka mangu ku bwongo ate mu bungi. Omunywi wa ssigala buli lw’asika omukka gwa ssigala, aba ayingizza doozi nnamba eya nicotine mu mubiri gwe. Ekyo kitegeeza nti omuntu bw’anywa pakiti ya ssigala olunaku, aba ayingizza doozi za nicotine nga 200. Doozi eyo ya maanyi nnyo okusinga ebeera mu biragalalagala ebirala, era eyo ye nsonga lwaki kizibu okuva ku ssigala. Omunywi wa ssigala bw’aba tamunyweddeeko aba ng’omulwadde.

‘Muba baddu b’oyo gwe mugondera.’Abaruumi 6:16

Osobola okugondera Katonda ng’ate oli muddu wa ssigala?

Bayibuli egamba nti: “Temumanyi nti bwe mwewaayo eri omuntu yenna okumugondera ng’abaddu muba baddu be?” (Abaruumi 6:16) Ekyo kikwatagana kitya n’okunywa ssigala? Omuntu bw’aba nga buli kiseera alowooza ku kunywa ssigala, aba afuuse muddu wa muze ogwo. Kyokka Katonda, ng’erinnya lye ye Yakuwa, ayagala twewale emize egyonoona emibiri gyaffe n’ebirowoozo byaffe. (Zabbuli 83:18; 2 Abakkolinso 7:1) N’olwekyo, omuntu bwe yeeyongera okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumwagala, akimanya nti Yakuwa ayagala tumuweereze n’omutima gwaffe gwonna, kyokka ng’ekyo tekisoboka singa omuntu aba akyali muddu w’omuze omubi. Ekyo omuntu bw’akimanya kimuyamba okwewala emize emibi.

Olaf, abeera mu Bugirimaani, yatandika okunywa ssigala nga wa myaka 12, era yamala emyaka 16 ng’amunywa, naye oluvannyuma yamuvaako. Yagamba nti: “Lwe nnasooka okunywa ssigala saakirabamu kabi konna. Naye ekiseera bwe kyagenda kiyitawo gwanfuukira omuze. Lumu ssigala yanzigwaako ne nkuŋŋaanya obutundutundu bwe nnali nsudde, ne mbuzinga mu kipapula ky’amawulire ne mbunywa. Nnawulira nga nswadde nnyo.” Kiki ekyayamba Olaf okuva ku ssigala? Yagamba nti: “Okwagala okusanyusa Yakuwa kye kyasinga okunnyamba.” Era yagattako nti: “Okwagala Yakuwa kwe yalaga abantu era n’essuubi ly’abawadde byannyamba okwekutula ku muze ogwo.”

OKUNYWA SSIGALA KYONOONA OMUBIRI

Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Tobacco Atlas, “Abasawo baakizuula nti okunywa ssigala . . . kyonoona kumpi buli kitundu ky’omubiri era kiviiriddeko endwadde okweyongera n’abantu bangi okufa.” Okunywa ssigala kiviirako endwadde ez’amaanyi gamba nga kookolo, endwadde z’omutima, n’endwadde z’amawuggwe. Ate era ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna kigamba nti okunywa ssigala kiviiriddeko abantu bangi okufuna endwadde gamba ng’akafuba, ezisobola okukwata n’abantu abalala.

“Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.”Matayo 22:37

Ddala oba oyagala Katonda era oba omuwa ekitiibwa ng’ate oyonoona omubiri gwe yakuwa?

Okuyitira mu Bayibuli, Yakuwa Katonda atukubiriza okutwala emibiri gyaffe n’obulamu bwaffe nga bya muwendo. Yesu, omwana wa Katonda, yagamba nti: “Oteekwa okwagala Yakuwa Katonda wo n’omutima gwo gwonna, n’obulamu bwo bwonna, n’amagezi go gonna.” (Matayo 22:37) Kya lwatu nti Katonda ayagala tufeeyo nnyo ku mibiri gyaffe ne ku bulamu bwaffe. Gye tukoma okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’ebisuubizo bye, gye tukoma okumwagala era n’okusiima ebyo byonna by’atukoledde. Ekyo kitukubiriza okwewala ekintu kyonna ekiyinza okwonoona emibiri gyaffe.

Jayavanth, omusawo abeera mu Buyindi, yamala emyaka 38 ng’anywa ssigala. Yagamba nti: “Bwe nnasoma obutabo obw’ekisawo nnakitegeera nti ssigala wa bulabe nnyo, era nnakubirizanga abalwadde be nnajjanjabanga okulekera awo okumunywa. Naye nze nnagezaako emirundi mingi okumuvaako naye nga nnemererwa.” Kiki ekyamuyamba okuva ku ssigala? Agamba nti: “Okuyiga Bayibuli kye kyannyamba. Nnava ku ssigala olw’okuba nnali njagala nnyo okusanyusa Yakuwa.”

OKUNYWA SSIGALA KIKOSA OBULAMU BW’ABALALA

Omukka abo abanywa ssigala gwe bafulumya, n’ogwo oguva ku butundutundu bwe baba basudde gwa bulabe nnyo eri abantu abalala. Omuntu bw’ayingiza omukka ogwo kisobola okumuviirako okulwala kookolo awamu n’endwadde endala, era abantu 600,000 abatanywa ssigala, naddala abakyala n’abaana, be bafa buli mwaka olw’omukka ogwo. Lipoota y’ekitongole ky’eby’obulamu eky’ensi yonna eraga nti “omukka gwa ssigala ne bwe guba mutono nnyo gwa bulabe eri obulamu bw’omuntu.”

“Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala.”Matayo 22:39

Bw’onywa ssigala ng’oli kumpi n’ab’omu maka go oba abantu abalala ate ng’okimanyi nti omukka gwa ssigala gwa bulabe eri obulamu bwabwe, ddala oba obaagala?

Yesu yalaga nti erimu ku mateeka abiri agasinga obukulu kwe kwagala bantu bannaffe, nga be b’omu maka gaffe, mikwano gyaffe, n’abantu abalala. Yagamba nti: “Oteekwa okwagala muntu munno nga bwe weeyagala.” (Matayo 22:39) Bwe tukola ekintu ekikosa obulamu bw’abalala, ddala tuba tubaagala? Okwagala okwa nnamaddala kutuleetera okukolera ku bigambo bino ebiri mu Bayibuli: “Buli muntu alemenga kunoonya bimugasa yekka, naye ebigasa abalala.”1 Abakkolinso 10:24.

Armen, abeera mu Armenia agamba nti: “Ab’omu maka gange bansaba ndekere awo okunywa ssigala kubanga yali abayisa bubi. Ssakkirizanga nti ssigala gwe nnali nnywa yali asobola okukosa obulamu bwabwe.” Kiki ekyamuyamba okukyusa endowooza ye? Agamba nti: “Okumanya ekyo Bayibuli ky’eyigiriza era n’okwagala Yakuwa byannyamba okuva ku ssigala n’okukkiriza nti yali wa bulabe gye ndi n’eri abalala.”

OKUNYWA SSIGALA KUJJA KUKOMA!

Okuyiga Bayibuli kyayamba Olaf, Jayavanth, ne Armen okuva ku ssigala eyali akosa obulamu bwabwe n’obw’abalala. Okumanya obumanya nti ssigala wa bulabe si kye kyabayamba, wabula okwagala Yakuwa n’okwagala okukola ebyo ebimusanyusa kye kyabayamba. Okwagala okwo kwe kwogerwako mu 1 Yokaana 5:3, awagamba nti: “Okwagala Katonda kitegeeza okukwata ebiragiro bye; era ebiragiro bye tebizitowa.” Wadde ng’oluusi tekiba kyangu kukolera ku ebyo Bayibuli by’eyigiriza, omuntu bw’aba ayagala nnyo Katonda, tekimuzibuwalira kumugondera.

Okuyitira mu mulimu gw’okuyigiriza abantu Bayibuli ogukolebwa mu nsi yonna, Yakuwa Katonda ayamba abantu bukadde na bukadde okwewala oba okwekutula ku muze ogw’okunywa ssigala. (1 Timoseewo 2:3, 4) Mu kiseera ekitali kya wala, Yakuwa ajja kukozesa Obwakabaka bwe, nga ye gavumenti ey’omu ggulu ekulemberwa Yesu Kristo, okuggyawo amakampuni agakola ebintu eby’obulabe eri abantu, gamba nga ssigala. Ajja kuggirawo ddala ekizibu ky’okunywa ssigala era ayambe abo abamugondera okufuna obulamu obutuukiridde.Isaaya 33:24; Okubikkulirwa 19:11, 15.

Bw’oba oyagala okuva ku ssigala naye ng’owulira kizibu, tolekulira. Okuyiga ebikwata ku Yakuwa n’okumanya endoowoza gy’alina ku ssigala, kijja kukubiriza okumuvaako. Abajulirwa ba Yakuwa beetegefu okukuyamba okuyiga Bayibuli n’okukulaga engeri gy’oyinza okukolera ku ebyo by’eyigiriza. Beera mukakafu nti Yakuwa ajja kukuwa amaanyi ge weetaaga osobole okuva ku ssigala.Abafiripi 4:13.

^ lup. 3 Okunywa ssigala okwogerwako wano kuzingiramu okunywa eminwe gya ssigala, okunywa emmindi, n’okunywa taaba mu ngeri endala yonna.