Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Abasajja Basatu Abaanoonya Amazima mu Kyasa Ekya 16—Biki Bye Baazuula?

Abasajja Basatu Abaanoonya Amazima mu Kyasa Ekya 16—Biki Bye Baazuula?

“AMAZIMA kye ki?” Ekyo kye kibuuzo Pontiyo Piraato, gavana Omuruumi kye yabuuza Yesu, Yesu bwe yali atwaliddwa gy’ali okuwozesebwa. (Yokaana 18:38) Naye Piraato yali tayagala kumanya mazima. Ekibuuzo kye kiraga nti yali abuusabuusa obanga ddala eriyo amazima. Okufaananako abantu bangi leero, Piraato ayinza okuba nga yali alowooza nti amazima ky’ekyo omuntu ky’atwala nti kye kituufu oba ekyo kye yayigirizibwa, era nti tewali ayinza kugamba nti ye yekka amanyi amazima.

Mu kyasa eky’ekkumi n’omukaaga, abantu bangi mu Bulaaya abaagendanga mu kkereziya kyabazibuwaliranga okumanya ekituufu eky’okukkiririzaamu. Baakula bamanyi nti balina kukkiririza mu ekyo paapa ky’aba agambye ne mu njigiriza zonna ez’Ekikatuliki, kyokka mu kiseera ekyo waaliwo abantu bangi abaali beewaggudde ku ddiini y’Ekikatuliki nga bagamba nti ezimu ku njigiriza zaayo si ntuufu. Kati olwo, abantu bandyawuddewo batya enjigiriza ez’amazima ku z’obulimba?

Mu kiseera ekyo waaliwo abasajja basatu, oboolyawo n’abalala bangi, abaali abamalirivu okunoonya amazima. * Biki bye baakola okusobola okwawulawo amazima ku bulimba? Era biki bye baazuula? Ka tulabe.

‘BAYIBULI Y’ERINA OKUTULUŊŊAMYA’

Waaliwo omuvubuka eyali ayitibwa Wolfgang Capito eyali ayagala ennyo eby’eddiini. Yasomerera obusawo, eby’amateeka, n’eby’eddiini. Mu 1512, Capito yafuuka omusaseredooti w’Ekkereziya ey’omuluka ate oluvannyuma n’afuuka omuyambi wa Ssaabasumba w’e Mainz mu Bugirimaani.

Mu kusooka, Capito yawakanya abo abaali bayigiriza ebikontana n’enjigiriza z’Ekikatuliki. Kyokka oluvannyuma lw’ekiseera kitono, Capito naye yatandika okuwakanya ezimu ku njigiriza z’Ekikatuliki. Lwaki? Okusinziira ku munnabyafaayo James M. Kittelson, Capito yeekenneenya enjigiriza ezo ng’akozesa Bayibuli kubanga yagamba nti “Bayibuli y’esobola okutuyamba okulaba obanga bye bayigiriza bituufu, kubanga ye yokka erimu amazima.” Capito yawunzika agamba nti enjigiriza egamba nti omugaati n’envinnyo bifuukira ddala omubiri n’omusaayi gwa Yesu, n’ey’okusaba abatukuvu zikontana ne Bayibuli. (Laba ebiri wansi w’omutwe ‘Laba Obanga Ebintu Ebyo Bituufu.’) Mu 1523, Capito yalekulira omulimu gw’okuyamba ku Ssaabasumba n’agenda mu kibuga Strasbourg, ekyalimu abantu bangi abaali beewagudde ku ddiini y’Ekikatuliki.

Bangi ku abo abaali beewagudde baasisinkaniranga mu maka ga Capito agaali mu Strasbourg basobole okukubaganya ebirowoozo ku bikwata ku madiini n’enjigiriza za Bayibuli. Wadde ng’abamu ku bo baali bakyayigiriza enjigiriza ya Tiriniti, oba nti Katonda ali mu busatu, okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Radical Reformation, ebyo Capito bye yawandiika biraga nti yali “takyayigiriza nti Katonda ali mu busatu.” Lwaki? Capito yakwatibwako nnyo olw’engeri Omusipeyini ayitibwa Michael Servetus eyali omukugu mu by’eddiini gye yakozesaamu Bayibuli okulaga nti enjigiriza eyo si ntuufu. *

Olw’okuba mu kiseera ekyo okuwakanya enjigiriza ya Tiriniti kyali kiyinza okuviirako omuntu okuttibwa, Capito yatya okwogera bye yali azudde ku njigiriza eyo. Naye, ebitabo bye yawandiika biraga nti yali yatandika dda okubuusabuusa enjigiriza eyo ne bwe yali tannasisinkana Servetus. Omusaserodooti omu oluvannyuma yawandiika nti Capito ne banne “beeyongera okukubaganya ebirowoozo ku njigiriza ezitali zimu ez’eddiini mu nkukutu; [era] baawakanya enjigiriza ya Tiriniti.” Oluvannyuma lw’ekyasa kimu, Capito gwe baasoosa ku lukalala lw’abawandiisi b’ebitabo abaawakanya ennyo enjigiriza eyo.

Wolfgang Capito yagamba nti “obutakolera ku Byawandiikibwa” kye kyasinga okuviirako Ekkereziya okuva ku mulamwa

Capito yali akkiriza nti Bayibuli y’erimu amazima. Yagamba nti: “Bayibuli n’etteeka lya Kristo bye birina okutuluŋŋamya mu by’eddiini.” Okusinziira ku Dr. Kittelson, Capito “yakiggumiza nti ensobi abawandiisi b’ebitabo by’eddiini gye bakola, bwe butafaayo ku Byawandiikibwa.”

Okufaananako Capito, waaliwo omuvubuka ayitibwa Martin Cellarius (era amanyiddwa nga Martin Borrhaus), eyayagala ennyo okumanya amazima agali mu Kigambo kya Katonda, eyabeeranga mu maka ga Capito mu 1526.

“OKUMANYA OKUKWATA KU KATONDA OW’AMAZIMA”

Ekitabo kya Martin Cellarius ekiyitibwa On the Works of God, mwe yageraageranyiza enjigiriza z’Ekkereziya n’ezo eziri mu Bayibuli

Cellarius yazaalibwa mu 1499 era yasoma nnyo eby’eddiini n’obufirosoofo. Yali musomesa mu kibuga Wittenberg, ekya Bugirimaani, era eyo gye yasisinkanira Martin Luther n’abalala bangi abaali baagala okulongoosa mu njigiriza z’Ekikatuliki. Cellarius yandyawuddewo atya enjigiriza ez’obulimba ku njigiriza entuufu eziri mu Byawandiikibwa?

Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa Teaching the Reformation, Cellarius yagamba nti omuntu okusobola okutegeera amazima, alina “okunyiikira okusoma Ebyawandiikibwa, okubigeraageranya n’ebyawandiikibwa ebirala, nga kw’otadde okusaba n’okwenenya.” Cellarius bwe yeekenneenya Ebyawandiikibwa, biki bye yazuula?

Mu Jjulaayi 1527, ebyo Cellarius bye yazuula yabiwandiika mu kitabo kye ekiyitibwa On the Works of God. Yawandiika nti omugaati n’envinnyo ebikozesebwa mu mmisa, tebifuukira ddala mubiri na musaayi gwa Yesu, wabula buba bubonero. Okusinziira ku Profesa Robin Barnes, Cellarius “yannyonnyola obunnabbi obuli mu Bayibuli ng’alaga nti ekiseera kyandituuse ne wabaawo okubonaabona kungi ku nsi n’oluvannyuma ebintu byonna ne bizzibwa buggya.”2 Peetero 3:10-13.

Wadde nga Cellarius teyawakanya njigiriza ya Tiriniti butereevu, ebyo bye yawandiika biraga nti “Kitaffe ow’omu Ggulu” wa njawulo ku “Mwana we Yesu Kristo.” Ate era yawandiika nti Yesu yali omu ku bakatonda abangi era omu ku baana ba Katonda omuyinza w’ebintu byonna.Yokaana 10:34, 35.

Mu kitabo kye ekiyitibwa Antitrinitarian Biography (1850), Robert Wallace yagamba nti okwawukana ku bawandiisi abaaliwo mu kyasa ekya 16, ebyo Cellarius bye yawandiika tebyalimu njigiriza ya Tiriniti. * Bwe kityo abawandiisi b’ebitabo abawerako bagamba nti Cellarius ateekwa okuba nga yawakanya enjigiriza eyo. Bangi bamwogeddeko ng’omu ku abo “abaayigiriza abantu amazima agakwata ku Katonda ow’amazima ne Kristo.”

YALI ASUUBIRA NTI BANDIKYUSIZZAAMU

Mu 1527, Johannes Campanus yasenga mu kibuga Wittenberg, era naye ayogerwako ng’omu ku bawandiisi b’ebitabo abaasinga okwatiikirira mu kiseera ekyo. Wadde nga naye yali omu ku abo abaali baagala okukola enkyukakyuka mu njigiriza z’Ekikatuliki, Campanus yawakanya enjigiriza za Martin Luther. Lwaki?

Campanus yawakanya enjigiriza egamba nti mu mmisa, omugaati n’envinnyo bifuukira ddala omubiri n’omusaayi gwa Yesu. Ate era yawakanya enjigiriza ya Martin Luther egamba nti omugaati, envinnyo, omubiri, n’omusaayi gwa Yesu byonna bibeerawo mu mmisa. Okusinziira ku muwandiisi w’ebitabo ayitibwa André Séguenny, Campanus yali akkiriza nti “Omugaati gusigala mugaati, wabula gukiikirira bukiikirizi omubiri gwa Kristo.” Mu 1529, waaliwo olukuŋŋaana mu kibuga Marburg, mwe baakubaganyiza ebirowoozo ku njigiriza ezo, naye Campanus teyakkirizibwa kwogera ku njigiriza ezo. Oluvannyuma, banne be yakolagananga nabo mu kibuga Wittenberg baamugoba mu kibiina kyabwe.

Mu kitabo kye ekiyitibwa Restitution, Johannes Campanus yawakanya enjigiriza ya Tiriniti

Ekyasinga okubanyiiza ze njigiriza za Campanus ezikwata ku Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu. Mu kitabo kye ekiyitibwa Restitution kye yawandiika mu 1532, Campanus yagamba nti Yesu ne Kitaawe ba njawulo. Yannyonnyola nti Kitaffe n’Omwana ‘bali omu,’ ng’omwami n’omukyala bwe bali “omubiri gumu,” ekitegeeza nti bali bumu, naye era basigala bantu babiri ab’enjawulo. (Yokaana 10:30; Matayo 19:5) Campanus yalaga nti Ebyawandiikibwa bikozesa ekyokulabirako kye kimu okulaga nti Kitaffe asinga Omwana obuyinza. Yasinziira ku 1 Abakkolinso 11:3, awagamba nti: “Omutwe gw’omukazi ye musajja; n’omutwe gwa Kristo ye Katonda.”

Ate gwo omwoyo omutukuvu? Campanus yawandiika nti: “Tewali Kyawandiikibwa kiraga nti Omwoyo Omutukuvu muntu ow’okusatu . . . Omwoyo gwa Katonda ge maanyi g’akozesa okuteekateeka n’okukola ebintu byonna.”Olubereberye 1:2.

Luther yagamba nti Campanus muvvoozi era mulabe w’Omwana wa Katonda. Ate omu ku banne yayagala Campanus attibwe. Naye Campanus teyaggwaamu maanyi. Okusinziira ku kitabo ekiyitibwa The Radical Reformation, ‘Campanus yali mukakafu nti Ekkereziya yawaba olw’okuba yava ku njigiriza entuufu ezikwata ku Kitaffe, Omwana, n’omwoyo omutukuvu, abatume abaasooka ze baayigirizanga.’

Campanus teyalina kigendererwa kya kutandikawo ddiini mpya. Yagamba nti yali anoonyezza amazima “mu madiini gonna ne mu bantu ab’enjawulo,” naye n’atazuula bayigiriza mazima. N’olwekyo yali asuubira nti Ekkereziya yandikozeemu enkyukakyuka n’eddamu okuyigiriza amazima agali mu Bayibuli. Kyokka, oluvannyuma abakulembeze b’Ekkereziya baasiba Campanus mu kkomera, era ayinza okuba nga yamalayo emyaka egisukka mu 20. Bannabyafaayo bagamba nti alabika yafa mu mwaka gwa 1575.

“MUKAKASENGA EBINTU BYONNA”

Okusoma Bayibuli n’obunyiikivu kyasobozesa Capito, Cellarius, Campanus, awamu n’abalala okwawula amazima ku bulimba. Wadde ng’abasajja abo tebaazuula mazima gonna agali mu Bayibuli, amazima ge baazuula baagatwala nga ga muwendo.

Omutume Pawulo yakubiriza Bakristaayo banne nti: “Mukakasenga ebintu byonna; munywererenga ku kirungi.” (1 Abassessalonika 5:21) Abajulirwa ba Yakuwa balina akatabo akalina omutwe ogugamba nti Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? akasobola okukuyamba okuzuula amazima.

^ lup. 4 Laba Omunaala gw’Omukuumi ogwa Jjanwali 15, 2012, olupapula 7-8, akatundu 14-17, ogwakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 8 Laba ekitundu ekirina omutwe, “Michael Servetus—Yanoonya Amazima mu Nkukutu,” mu Awake! eya Maayi 2006 eyakubibwa Abajulirwa ba Yakuwa.

^ lup. 17 Ku bikwata ku ngeri Cellarius gye yawandiikangamu ekigambo “katonda” ng’ayogera ku Kristo, ekitabo ekyo kigamba nti: “Yawandiikanga deus, so si Deus, era nga Deus yakikozesanga ku Katonda Omuyinza w’Ebintu Byonna.”