Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA SITAANI GYALI?

Twanditidde Sitaani?

Twanditidde Sitaani?

Omukka ogw’obutwa tegulabika naye gwa bulabe nnyo, ne Sitaani bw’atyo bw’ali

Omukka ogw’obutwa tegulabika, naye gwa bulabe nnyo era gutta abantu bangi. Wadde kiri kityo, kisoboka okwewala omukka ogwo. Abamu bateeka mu nnyumba zaabwe obuuma obusobola okubalabula ku mukka ogwo era bwe bubalabula, babaako kye bakolawo mu bwangu okutaasa obulamu bwabwe.

Okufaananako omukka ogw’obutwa, Sitaani wa bulabe nnyo naye abantu tebasobola kumulaba. Kyokka tetusaanidde kumutya kubanga Katonda tatulekeredde. Ka tulabe ebisobola okutuyamba okuziyiza Sitaani.

Okwesalirawo. Bayibuli egamba nti: “Muziyizenga Omulyolyomi naye anaabaddukanga.” (Yakobo 4:7) Wadde nga Sitaani wa maanyi, tasobola kukukaka kukola ky’otoyagala. Osobola okwesalirawo. Mu 1 Peetero 5:9 wagamba nti: “Mumuziyizenga nga muli banywevu mu kukkiriza.” Kijjukire nti Yesu bwe yaziyiza ebikemo bya Sitaani ebisatu, Sitaani yamuleka. (Matayo 4:11) Naawe osobola okuziyiza Sitaani.

Enkolagana ennungi ne Katonda. Mu Yakobo 4:8, tukubirizibwa ‘okusemberera Katonda.’ Yakuwa kennyini ayagala obeere n’enkolagana ey’oku lusegere naye. Ekyo oyinza kukikola otya? Ekisookera ddala, soma Bayibuli osobole okweyongera okuyiga ebimukwatako. ( Yokaana 17:3) By’onooyiga ku Yakuwa bijja kukuleetera okumwagala, era okwagala okwo kujja kukukubiriza okukola by’ayagala. (1 Yokaana 5:3) Bw’onoosemberera Yakuwa Katonda, naye ajja ‘kukusemberera.’

Yakuwa atuyamba okumanya engeri gye tusobola okufunamu obukuumi

Obukuumi obuva eri Katonda. Engero 18:10 wagamba nti: “Erinnya lya [Yakuwa] kigo kya maanyi: Omutuukirivu addukira omwo n’aba mirembe.” Naye ekyo tekitegeeza nti omuntu akoowoola bukoowoozi linnya lya Katonda n’afuna obukuumi. Wabula kitegeeza nti abo bonna abassa ekitiibwa mu linnya lye era abakola by’ayagala, basobola okumusaba ekiseera kyonna n’abawa obukuumi.

Ekyokulabirako ekiri mu Bayibuli. Mu Ebikolwa 19:19, Bayibuli eyogera ku ekyo abantu b’omu Efeso abaali baakafuuka Abakristaayo kye baakola. Egamba nti: “Bangi ku abo abaakolanga eby’obufuusa ne baleeta ebitabo byabwe ne babyokera mu maaso g’abantu bonna. Bwe baabalirira omuwendo  gw’essente ezibigula, ne guweza ebitundu bya ffeeza emitwalo etaano.” * Abakristaayo abo baayokya buli kimu ekyalina akakwate n’eby’obusamize wadde nga byali bibalirirwamu ssente nnyingi nnyo. Waliwo kye tuyigira ku Bakristaayo abo. Leero, ensi ejjudde ebikolwa eby’obusamize. Ebintu ebirina akakwate n’eby’obusamize biyinza okutuleetera okulumbibwa dayimooni. Tuteekwa okweggyako ebintu ng’ebyo ne bwe biba nga bya ssente nnyingi.—Ekyamateeka 18:10-12.

Rogelio eyayogeddwako mu kitundu ekisooka, yamala emyaka 50 nga takkiriza nti Sitaani gyali. Naye oluvannyuma lw’ekiseera yakyusa endowooza ye. Lwaki? Rogelio agamba nti, ‘Bwe nnafuna Bayibuli ne ngisoma, nnakakasa nti Sitaani gyali. Ate era ebyo bye nnasoma binnyamba okwewala emitego gye.’

‘Bwe nnafuna Bayibuli ne ngisoma, nnakakasa nti Sitaani gyali. Ate era ebyo bye nnasoma binnyamba okwewala emitego gye’

Olowooza ekiseera kirituuka Sitaani n’aba nga takyaliwo? Ebyawandiikibwa byogera ku kiseera Omulyolyomi, oyo abuzaabuza abantu bangi, ‘lw’alisuulibwa mu nnyanja ey’omuliro n’ekibiriiti.’ (Okubikkulirwa 20:10) Kya lwatu nti omuliro gwennyini tegusobola kuzikiriza kitonde kya mwoyo. N’olwekyo, ennyanja ey’omuliro eteekwa okuba ng’ekiikirira okuzikirizibwa okw’emirembe gyonna. Ekyo kitegeeza nti Sitaani ajja kuzikirizibwa. Ng’ekyo kijja kuba kiseera kya ssanyu eri abo bonna abaagala Katonda!

Weeyongere okuyiga ebikwata ku Yakuwa. * Weesunga ekiseera ekyo lwe tuliba nga tusobola okugamba nti, “Sitaani takyaliwo?”

^ par. 8 Ekitundu kya ffeeza ekyogerwako wano bw’eba nga yali ddinaali y’Abaruumi, ebitundu bya ffeeza ebyo byali byenkanankana omusaala ogwasasulwanga abakozi 50,000 olunaku—zaali ssente nnyingi nnyo!

^ par. 11 Okumanya ebisingawo ebikwata ku Sitaani n’endowooza Katonda gy’alina ku by’obusamize, laba essuula 10 ey’akatabo Kiki Ddala Baibuli Ky’Eyigiriza? Saba omu ku Bajulirwa ba Yakuwa akufunire akatabo ako