Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

 EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | DDALA SITAANI GYALI?

Ddala Sitaani Gyali?

Ddala Sitaani Gyali?

Ekibumbe ekiri mu kibuga Madrid eky’omu Sipeyini, ekiraga Sitaani nga malayika eyasuulibwa

“Nnakulira mu El Salvador. Bwe nnajeemeranga maama wange nga nkyali muto, yaŋŋambanga nti, ‘Sitaani agenda kujja akutwale!’ Nnamuddangamu nti, ‘Oba ajja ajje!’ Nnali nzikiriza nti Katonda gyali, naye nga sikkiriza nti Sitaani gyali.”—ROGELIO.

Okkiriziganya ne Rogelio? Ku ndowooza zino wammanga, eruwa entuufu?

  • Sitaani si wa ddala, wabula ye ndowooza embi eba mu bantu.

  • Sitaani gyali, naye talina ky’ayinza kukola bantu.

  • Sitaani kitonde kya mwoyo; alina amaanyi mangi, era aleetera abantu okukola ebintu ebibi.

Waliwo abantu bukadde na bukadde abalina endowooza ng’ezo ku Sitaani. Naye olowooza kikulu okumanya ekituufu? Bwe kiba nti Sitaani taliiyo, abo abagamba nti gyali baba bakyamu. Bwe kiba nti Sitaani gyali naye nga talina ky’ayinza kukola bantu, abamutya bamutiira bwereere. Naye bwe kiba nti Sitaani gyali era nti aleetera abantu okukola ebintu ebibi, kiba kitegeeza nti wa bulabe nnyo n’okusinga abamu bwe balowooza.

Ka tulabe engeri Ebyawandiikibwa Ebitukuvu gye biddamu ebibuuzo bino: Sitaani y’ani oba kye ki? Kitonde kya mwoyo oba ye ndowooza embi eba mu bantu? Bwe kiba nti Sitaani gyali, wa bulabe gy’oli? Bwe kiba nti wa bulabe, oyinza otya okumuziyiza n’atakutuusaako kabi?