Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

ABASOMI BAFFE BABUUZA . . .

Kituufu Okukuza Ssekukkulu?

Kituufu Okukuza Ssekukkulu?

Abantu bukadde na bukadde okwetooloola ensi balina ensonga ez’enjawulo lwaki bakuza Ssekukkulu. Abamu baba baagala kubeerako wamu ne mikwano gyabwe awamu n’ab’eŋŋanda zaabwe. Abamu baba baagala kusanyusa Katonda ate abalala baba baagala kuyamba abo abali mu bwetaavu. Ebintu ebyo ku bwabyo si bikyamu, naye kikulu okutegeera ensibuko y’olunaku kwe babikolera.

Okusookera ddala, abantu abasinga obungi abakuza Ssekukkulu bagamba nti baba bakuza mazaalibwa ga Yesu. Naye bannabyafaayo bangi bakkiriziganya nti olunaku Yesu lwe yazaalibwa terumanyiddwa. Ekitabo ekiyitibwa The Christian Book of Why kigamba nti ‘Abakristaayo abaasooka tebaakuzanga mazaalibwa ga Yesu era tebaateekawo na lunaku lwe yazaalibwa’ kubanga baali baagala “okwewalira ddala ekikolwa kyonna eky’obukaafiiri.” Ate era Bayibuli teraga nti Yesu yakuza amazaalibwa ge oba ag’omuntu omulala yenna. Wabula yalagira abagoberezi be okujjukiranga okufa kwe.Lukka 22:19.

Eky’okubiri, abakugu mu kunoonyereza ku ebyo ebiri mu Bayibuli bagamba nti obulombolombo bungi obukolebwa ku Ssekukkulu bwasibuka mu bakaafiiri n’abantu abatali Bakristaayo. Muno muzingiramu Santa Claus (Father Christmas), okukozesa emiti gamba nga Christmas tree, okugaba ebirabo, okukoleeza emisubbaawa, okutimba ebimuli, n’okuyimba ennyimba ezikwata ku Ssekukkulu. Nga kyogera ku bulombolombo obwo, ekitabo ekiyitibwa The Externals of the Catholic Church kigamba nti: “Bwe tugabira abalala ebirabo oba bwe tuweebwa ebirabo ku Ssekukkulu, bwe tutimba ebimuli mu mayumba gaffe ne mu masinzizo, bameka ku ffe ababa bamanyi nti tuba tukola bulombolombo bwa kikaafiiri?”

“Bwe tugabira abalala ebirabo oba bwe tuweebwa ebirabo ku Ssekukkulu, bwe tutimba ebimuli mu mayumba gaffe ne mu masinzizo, bameka ku ffe ababa bamanyi nti tuba tukola bulombolombo bwa kikaafiiri?”—Ekitabo ekiyitibwa The Externals of the Catholic Church

Naye oyinza okuba nga weebuuza obanga kikyamu okukola ebintu ebyo. Lowooza ku nsonga ey’okusatu. Katonda tayagala bantu kutabika bulombolombo obw’ekikaafiiri mu kusinza okw’amazima. Ng’ayitira mu nnabbi Amosi Yakuwa Katonda yagamba abaweereza be mu Isiraeri ey’edda nti: ‘Nkyawa, nnyooma embaga zammwe. Munzigyeko oluyogaano olw’ennyimba zammwe.’Amosi 5:21, 23.

Lwaki Katonda yabagamba bw’atyo? Lowooza ku ebyo Abaisiraeri ab’omu bwakabaka obw’ebika ekkumi bye baali bakola. Yerobowaamu, kabaka waabwe eyasooka, yakola ennyana eza zzaabu n’aziteeka mu kibuga Ddaani ne mu kibuga Beseri era n’akubiriza abantu okuzisinza mu kifo ky’okusinza Yakuwa Katonda mu yeekaalu e Yerusaalemi. Ate era kabaka oyo yateekawo embaga ez’enjawulo era n’alonda bakabona okukulembera abantu mu kukwata embaga ezo.1 Bassekabaka 12:26-33.

Abaisiraeri baali balowooza nti ekyo kye baali bakola kirungi. Baali balowooza nti basinza Katonda era nti ekyo kyandimusanyusizza. Ebyo Katonda bye yabagamba okuyitira mu nnabbi Amosi ne bannabbi abalala biraga nti bye baali bakola byali tebimusanyusa. Ng’ayitira mu nnabbi Malaki, Katonda yagamba nti: ‘Nze Mukama sikyuka.’ (Malaki 3:6) Ekyo kituyamba okumanya engeri Katonda gy’awuliramu bw’alaba abantu abakuza Ssekukkulu.

Abantu bukadde na bukadde bwe bategedde amazima agakwata ku Ssekukkulu, basazeewo okulekera awo okugikuza. Babeerako wamu n’ab’eŋŋanda zaabwe awamu ne mikwano gyabwe era bayamba abali mu bwetaavu mu kiseera kyonna we baba baagalidde, era ekyo kibaleetera essanyu lingi.