Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino
Kisoboka okuba n’obulamu obw’amakulu?
Wali weebuuzizzaako obanga obulamu bulina ekigendererwa ng’oggyeeko okukola, okuwasa oba okufumbirwa, okukuza abaana, n’okukaddiwa? (Yobu 14:1, 2) Bayibuli eraga nti n’abantu abagezi ennyo beebuuza obanga obulamu bulina amakulu.
Ddala obulamu busobola okuba obw’amakulu? Okusobola okuddamu ekibuuzo ekyo, tulina okusooka okwebuuza nti: Obulamu bwatandika butya? Oluvannyuma lw’okwetegereza engeri ey’ekitalo obwongo bwaffe n’ebitundu ebirala eby’omubiri gwaffe gye byakolebwamu, bangi bakkirizza nti Katonda ye yatonda buli kimu. (Soma Zabbuli 139:14.) Katonda alina ensonga ennungi lwaki yatutonda. Okumanya ensonga eyo kijja kutuyamba okuba n’obulamu obw’amakulu.
Lwaki abantu baatondebwa?
Katonda yawa omukisa omusajja n’omukazi abaasooka era n’abawa omulimu oguleeta essanyu. Yali ayagala bazaale bajjuze ensi, bagifuule ekifo ekirabika obulungi, era bagibeereko emirembe gyonna.
Ekigendererwa kya Katonda kyataataaganyizibwa abantu bwe baajeemera obufuzi bwe. Naye Katonda teyatwabulira era teyakyusa kigendererwa kye eri ensi n’abantu. Bayibuli etukakasa nti Katonda yakola enteekateeka okununula abantu abeesigwa era nti ekigendererwa kye eri ensi kijja kutuukirira! N’olwekyo, Katonda ayagala obe n’obulamu obw’amakulu ng’ekigendererwa kye bwe kyali! (Soma Zabbuli 37:29.) Okusoma Bayibuli kijja kukuyamba okumanya engeri gy’osobola okuganyulwa mu kigendererwa kya Katonda.