Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Bayibuli Eddamu Ebibuuzo Bino

Tusobola okumanya amazima agakwata ku Katonda?

Lwaki katonda ayagala tumanye amazima? Soma Yokaana 17:3

Bwe tusoma Bayibuli, Katonda aba ayogera naffe. Katonda yawa abantu omwoyo gwe omutukuvu ne gubaluŋŋamya okuwandiika Bayibuli. (2 Peetero 1:20, 21) Bayibuli esobola okutuyamba okumanya ebikwata ku Katonda.Soma Yokaana 17:17; 2 Timoseewo 3:16.

Okuyitira mu Bayibuli, Katonda atubuulira ebintu bingi ebimukwatako. Atubuulira esonga lwaki yatonda abantu, by’ajja okubakolera, n’engeri gy’ayagala tukozeseemu obulamu bwaffe. (Ebikolwa 17:24-27) Yakuwa Katonda ayagala tumanye amazima agamukwatako.Soma 1 Timoseewo 2:3, 4.

Lwaki Katonda ayagala abo abaagala amazima?

Yakuwa ye Katonda ow’amazima, era yatuma Omwana we Yesu ku nsi, okuyigiriza abantu amazima. N’olwekyo abantu abaagala amazima baagala Yesu. (Yokaana 18:37) Katonda ayagala okusinzibwa abantu abali ng’abo.Soma Yokaana 4:23, 24.

Sitaani alemesezza abantu bangi okuyiga ebikwata ku Katonda olw’okuba asaasaanyizza enjigiriza nnyingi ez’obulimba ku Katonda. (2 Abakkolinso 4:3, 4) Abantu abatayagala mazima bawuliriza enjigiriza ezo ez’obulimba. (Abaruumi 1:25) Wadde kiri kityo, abantu bukadde na bukadde basomye Bayibuli ne bategeera amazima agakwata ku Katonda.Soma Ebikolwa 17:11.