Biki Bye Tuyiga mu Bayibuli?
Katonda y’atuleetera okubonaabona?
Wandizzeemu otya?
Yee
Nedda
Simanyi
Bayibuli ky’egamba
“Tekiyinzika Katonda ow’amazima okukola ebintu ebibi, tekiyinzika Omuyinza w’Ebintu Byonna okukola ekikyamu!” (Yobu 34:10) Katonda si y’atuleetera okubonaabona era si y’avunaanyizibwa ku bintu ebibi ebikolebwa mu nsi.
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Sitaani, “omufuzi w’ensi,” y’asinga okutuleetera okubonaabona.
—Yokaana 14:30. Ate era oluusi abantu basalawo bubi ne kibaviirako okubonaabona.
—Yakobo 1:14, 15.
Okubonaabona kuliggwaawo?
Abantu abamu balowooza nti abantu bwe baneegatta ne bakolera wamu bajja kumalawo okubonaabona, ate abalala balaba nga tewali ssuubi lyonna nti okubonaabona kuliggwaawo. Ggwe olowooza otya?
Bayibuli ky’egamba
Katonda ajja kuggyawo okubonaabona. Bayibuli egamba nti: “okufa tekulibaawo nate, newakubadde okukungubaga, newakubadde okukaaba, newakubadde obulumi.”
Ebirala bye tuyiga mu Bayibuli
Katonda ajja kukozesa Yesu okuggyawo okubonaabona Sitaani kw’atuleetera.
—1 Yokaana 3:8. Abantu abalungi bajja kubeera ku nsi emirembe gyonna nga bali mu mirembe.
—Zabbuli 37:9-11, 29.