EBIKWATAGANA N’EBIRI KUNGULU | EBINAAKUYAMBA OKUGANYULWA MU KUSOMA BAYIBULI
Lwaki Wandisomye Bayibuli?
“Nnali ndowooza nti Bayibuli nzibu okutegeera.”
—Jovy
“Nnali ndowooza nti Bayibuli tenyuma kusoma.”
—Queennie
“Nnali ntidde okusoma Bayibuli olw’obunene bwayo.”
—Ezekiel
Wali olowoozezza ku ky’okusoma Bayibuli naye n’otya okugisoma olw’ensonga ezifaananako ng’ezo waggulu? Abantu bangi bakaluubirirwa okusoma Bayibuli. Watya singa okimanya nti Bayibuli esobola okukuyamba okufuna essanyu mu bulamu? Oba watya singa okimanya nti waliwo ebiyinza okukuyamba okunyumirwa okugisoma? Ekyo kyandikuleetedde okwagala okugisoma?
Lowooza ku ngeri abantu abamu gye baganyuddwa mu kusoma Bayibuli.
Omuvubuka ayitibwa Ezekiel agamba nti: “Nnali ng’omuntu avuga emmotoka naye nga tamanyi gy’alaga. Naye okusoma Bayibuli kunnyambye okuba n’ekigendererwa mu bulamu. Bye nsoma mu Bayibuli binnyamba nnyo.”
Omuwala ayitibwa Frieda agamba nti: “Nnakolanga ebintu nga sisoose kulowooza ku binaavaamu, naye okuva lwe nnatandika okusoma Bayibuli nnayiga okuba omwegendereza. Kino kinnyambye okukolagana obulungi n’abalala, era kati nnina emikwano mingi.”
Omukyala ayitibwa Eunice atemera mu myaka 50 egy’obukulu agamba nti: “Bayibuli ennyambye okweggyamu emize emibi ne nfuuka omuntu omulungi.”
Okufaananako abantu abo n’abalala bangi, naawe ojja kuganyulwa nnyo bw’onoosoma Bayibuli. (Isaaya 48:17, 18) Bayibuli esobola okukuyamba okusalawo mu ngeri ey’amagezi, okufuna emikwano emirungi, okumanya eky’okukola ng’olina ebikweraliikiriza, n’ekisinga obukulu, esobola okukuyamba okumanya ebikwata ku Katonda. Amagezi agali mu Bayibuli gava eri Katonda. N’olwekyo, bwe tugakolerako tuganyulwa nnyo, kubanga Katonda tasobola kutuwa magezi mabi.
Okusoboka okufuna emiganyulo egyo, kiba kikwetaagisa okutandika okusoma Bayibuli. Biki ebinaakuyamba okunyumirwa okugisoma?