Enkusu Ezirabika Obulungi Eziyitibwa Macaw
EBINYONYI ebya langi ezirabika obulungi ennyo byafubutuka mu kibira! Ebinyonyi ebyo byawuniikiriza nnyo abalambuzi era abavumbuzi abaali bavudde mu Bulaaya nga bagenze mu bitundu by’Amerika ow’ebukiikaddyo mu kyasa ekya 15. Ebinyonyi bye baalaba zaali nkusu eziyitibwa macaw, nga zino nkusu ezirina ebyensuti ebiwanvu ezisangibwa mu bitundu by’Amerika ow’ebukiikaddyo. Waayita emyaka mitono ebifaananyi by’ebinyonyi ebyo ne bitandika okuteekebwa ku mmaapu z’ebitundu ebyo ng’akabonero akalaga ensi eyo erabika obulungi eyali ezuuliddwa.
Enkusu ezo, k’ebe nsajja oba nkazi, zirina langi ezirabika obulungi ennyo, ekintu ekitali kya bulijjo mu binyonyi ebirina langi ng’ezo. Enkusu ezo ngezi, zibeera mu bibinja, era zireekaana nnyo. Buli ku makya ekibinja ky’enkusu ezo nga 30 ziva we zisula ne zigenda okulya ensigo, ebibala, n’emmere endala. Ng’enkusu endala zonna bwe zikola, enkusu ezo bwe ziba zirya, zikozesa obugere bwazo okukwata eky’okulya ne zikiteeka mu mumwa gwazo omunene era omusongovu. Zisobola n’okwasa ensigo z’ebinazi ezikaluba ennyo! Oluvannyuma lw’okulya, zigenda ku bigulumu oba ku mbalama z’emigga ne zirya ku bbumba eriziyamba okusaabulula obutwa obuyinza okuba mu mmere gye ziba ziridde era n’okufuna ebiriisa ebimu bye zeetaaga.
“[Katonda] buli kintu yakikola nga kirungi era yakikola mu kiseera kyakyo.”
Enkusu ezo, ensajja bw’efuna enkazi, ziba wamu obulamu bwazo bwonna era zikolera
wamu mu kukuza obwana bwazo. Enkusu ezo zizimba ebisu byazo mu bituli ebibeera mu miti, ku mabbali g’emigga, ne mu biswa, oba mu miwaatwa egibeera mu njazi, era zitera okulabibwa mu bifo ebyo nga zeerongoosa. Wadde ng’enkusu ezo we ziwereza emyezi omukaaga ziba zikuze, enkusu ento zisigala ne bazadde baazo okumala emyaka ng’esatu. Bwe zikulira mu nsiko, enkusu ezo ziwangaala wakati w’emyaka 30 ne 40, naye ezo abantu ze balunda zisobola n’okuwangaala emyaka egisukka mu 60. Waliwo ebika by’enkusu ezo nga 18, era ebimu ku byo biragiddwa mu kitundu kino.