EKY’OKUYIGA 1
Emiganyulo Egiri mu Kwefuga
OKWEFUGA KYE KI?
Okwefuga kuzingiramu
-
okuba omugumiikiriza
-
okufuga enneewulira
-
okukola ekintu n’okimaliriza ne bwe kiba nga tekikunyumira
-
okukulembeza eby’abalala
LWAKI KIKULU OKWEFUGA?
Abaana abeefuga basobola okwewala okutwalirizibwa ebikemo, ne bwe biba nga bisikiriza. Ku luuyi olulala abaana abateefuga batera
-
okuba ab’obusungu
-
okwennyamira
-
okunywa ssigala, okukozesa obubi omwenge, oba okukozesa ebiragalalagala
-
okusalawo obubi bwe kituuka ku bye balya
Okunoonyereza okumu kwalaga nti abaana abeefuga bwe bakula tebatera kutawaanyizibwa ndwadde, kugwa mu bizibu bya ssente, era batera okugondera amateeka. Okunoonyereza okwo kwaleetera Profesa Angela Duckworth owa yunivasite y’e Pennsylvania okugamba nti: “Okwefuga tekubangako kubi.”
ENGERI GY’OYINZA OKUYIGIRIZA OMWANA WO OKWEFUGA
Yiga okugaana omwana ebintu ebimu era kitegeeze.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ekigambo kyammwe ‘Yee,’ kibeerenga yee, n’ekigambo kyammwe ‘Nedda,’ kibeerenga nedda.”—Matayo 5:37.
Oluusi abazadde bwe bagaana okuwa abaana baabwe abato ekintu ekimu oba bwe babagaana okukola ekintu ekimu, abaana abo bayinza okusalawo okuleekaana oba okukaaba. Singa abazadde bekkiriranya, kiyinza okuleetera abaana okulowooza nti ako ke kakodyo ke bayinza okukozesa okusobola okufuna oba okukola kye baagala.
Ku luuyi olulala, singa omuzadde anywerera ku ekyo ky’agaanye omwana kiyamba omwana okuyiga ekintu kino ekikulu: Tetusobola kufuna buli kimu kye tuba twagala. David Walsh, omukugu mu mbeera z’abantu, agamba nti: “Abantu abayiga ekintu ekyo baba basanyufu. Tekiba kikolwa kya kwagala okuleetera abaana baffe okukula nga balowooza nti basobola okufuna buli kimu kye baagala.” *
Bw’obaako ebintu ebimu by’ogaana okuwa omwana wo oba by’omugaana okukola kimuyamba ng’akuze. Ng’ekyokulabirako, singa ekiseera kituuka n’akemebwa okukozesa ebiragalalagala oba okwegatta n’omuntu nga tannayingira mu bufumbo, oba okukola ebintu ebirala eby’omutawaana, aba asobola okwefuga n’atakola bintu ebyo.
Yamba omwana wo okumanya ebiva mu kukola ebintu ebirungi ne mu kukola ebintu ebibi.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.”—Abaggalatiya 6:7.
Abaana bo beetaaga okukimanya nti buli kye tukola kirina ekikivaamu, era nti bwe bateefuga bajja kugwa mu mitawaana. Ng’ekyokulabirako, omwana wo bw’aba anyiiganyiiga kiyinza okuviirako abalala okumwewala. Ku luuyi olulala bw’aba nga yeefuga ne bw’aba ng’ayisiddwa bubi oba bw’aba omugumiikiriza abalala bajja kumwagala. Yamba omwana wo okukitegeera nti bwe yeefuga ebivaamu biba birungi.
Yigiriza omwana wo okumanya by’asaanidde okukulembeza.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: ‘Manya ebintu ebisinga obukulu.’—Abafiripi 1:10.
Ng’oggyeeko okutuyamba okwewala okukola ebintu ebibi, okwefuga era kutusobozesa okukola ebintu bye tutaagala naye nga byetaaga okukolebwa. Kikulu omwana wo okuyiga okumanya ebintu ebisinga obukulu era n’aba nga by’akulembeza. Ng’ekyokulabirako, omwana wo alina okusooka okukola ebimuweereddwa ku ssomero oluvannyuma n’alyoka azannya.
Bateerewo ekyokulabirako ekirungi.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mbateereddewo ekyokulabirako; nga bwe nkoze nammwe bwe musaanidde okukola.”—Yokaana 13:15.
Omwana wo ajja kulaba engeri gye weeyisaamu nga waliwo ebikunyiizizza. Yamba omwana wo okukiraba nti okwefuga kuvaamu ebirungi. Ng’ekyokulabirako, omwana wo bw’akola ebikunyiiza, osigala ng’oli mukkakkamu oba ova mu mbeera?
^ lup. 20 Biggiddwa mu kitabo No: Why Kids—of All Ages—Need to Hear It and Ways Parents Can Say It.