EBISOBOLA OKUYAMBA ABO ABAFIIRIDDWA ABANTU BAABWE
Okwaŋŋanga Ennaku gy’Ofuna ng’Ofiiriddwa—By’Oyinza Okukola
Bw’oba onoonya amagezi ku ngeri gy’oyinza okwaŋŋangamu ennaku gy’olina olw’okufiirwa omuntu wo ojja kuweebwa amagezi mangi, naye amagezi agamu gayinza okukuyamba okusinga amalala. Ekyo kiri kityo kubanga nga bwe kiragiddwa waggulu, buli muntu ennaku emuluma mu ngeri ya njawulo. Amagezi agayamba omuntu omu gayinza obutayamba mulala.
Wadde kiri kityo, waliwo amagezi agayambye abantu bangi. Bangi ku bawi b’amagezi bawa amagezi ago era agamu ku go gakwatagana n’amagezi agali mu Bayibuli.
1: KKIRIZA OBUYAMBI OKUVA ERI AB’EŊŊANDA ZO NE MIKWANO GYO
-
Abawi b’amagezi abamu bagamba nti eyo ye ngeri esingayo okuyamba omuntu aba afiiriddwa okwaŋŋanga ennaku gy’aba nayo. Kyokka oluusi oyinza okwagala okuba wekka. Oyinza n’okwetamwa abo abagezaako okukuyamba. Ekyo kya bulijjo.
-
Tokitwala nti buli kiseera olina kuba mu bantu, kyokka era teweesalira ddala ku bantu. Abantu abo oyinza okubeetaaga essaawa yonna. Mu bukkakkamu tegeeza abalala ky’oyagala ne ky’otayagala.
-
Okusinziira ku bwetaavu bwo, funangayo ekiseera okubeerako n’abantu abalala n’ekiseera okubeerako wekka.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ababiri basinga omu . . . Kubanga omu bw’agwa, munne asobola okumuyamba n’asituka.”—Omubuulizi 4:9, 10.
2: FAAYO KU BY’OLYA, ERA FUNANGAYO AKADDE OKUKOLA DDUYIRO
-
Okulya obulungi kisobola okukuyamba okukendeeza ku nnaku gy’olina olw’okufiirwa omuntu wo. Fuba okulya ebibala eby’enjawulo, enva endiirwa, n’emmere erimu ekiriisa kya protein.
-
Nywa amazzi mangi n’eby’okunywa ebirala eby’omugaso eri omubiri.
-
Bw’oba owulira nga toyagala kulya, lyayo emmere ntotono buli luvannyuma lw’akaseera. Oyinza n’okwebuuza ku musawo akubuulire ebintu ebirala by’oyinza okulya. a
-
Okukola dduyiro, gamba ng’okutambula ng’oyanguwa, kisobola okukuyamba okukendeeza ku bulumi bw’olina. Okukola dduyiro kisobola okukuyamba okufuna akadde okulowooza ku muntu wo eyafa oba okukuyamba okulekera awo okumulowoozaako okumala akaseera.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Tewali muntu yali akyaye mubiri gwe, naye aguliisa era agulabirira.”—Abeefeso 5:29.
3: WEEBAKE EKIMALA
-
Okwebaka ekimala kikulu eri buli muntu naye ate kikulu nnyo eri oyo alina obulumi olw’okufiirwa omuntu we, kubanga omuntu oyo akoowa nnyo mu kiseera ky’okufiirwa.
-
Weewala okunywa amajaani amangi oba kaawa omungi era weewale okunywa omwenge omungi kubanga ebyo byonna biyinza okukulemesa okwebaka.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Olubatu lumu olw’okuwummula lusinga embatu bbiri ez’okukola ennyo era n’okugoba empewo.”—Omubuulizi 4:6.
4: MANYA AMAGEZI AGANAAKUYAMBA
-
Kijjukirenga nti abantu banakuwala mu ngeri za njawulo. N’olwekyo, weetaaga okumanya amagezi aganaakuyamba ggwe ng’omuntu.
-
Bangi bakizudde nti okubuulirako abalala ku nnaku gye bawulira kibayamba okugyaŋŋanga, ate abalala bakizudde nti ekibayamba kwe kusirika obusirisi. Abawi b’amagezi balina endowooza za njawulo ku nsonga eyo. Bw’oba owulira ng’oyagala okubaako gw’obuulira ku bulumi obukuli ku mutima naye ng’otya, oyinza okutandika ng’obuulirako mukwano gwo ow’oku lusegere ku ngeri gy’owuliramu.
-
Abamu bakirabye nti okukaaba kubayamba okwaŋŋanga obulumi bwe balina, ate abalala basobola okubwaŋŋanga wadde nga tebakaabye nnyo.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Omutima gumanyi ennaku yaagwo.”—Engero 14:10.
5: WEEWALE EMIZE EGYONOONA OMUBIRI
-
Abantu abamu basalawo okwaŋŋanga obulumi bwe balina nga beekatankira omwenge oba nga bakozesa ebiragalalagala. Naye ebintu ebyo byonoona bwonoonyi muntu. Obuweerero omuntu bw’afuna ng’akozesa ebintu ebyo buba bwa kaseera buseera era muvaamu emitawaana mingi. Kozesa ebintu ebitali bya mutawaana okukkakkanya obulumi bw’olina.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Ka twenaazeeko byonna ebyonoona omubiri.”—2 Abakkolinso 7:1.
6: KOZESA BULUNGI EBISEERA BYO
-
Okusobola okwewala okuba nga buli kiseera ebirowoozo byabwe babimalidde ku nnaku gye balina, abantu abamu bafuba okukola ebintu ebibayamba okuggya ebirowoozo byabwe ku nnaku gye balina.
-
Oyinza okufuna ku buweerero singa ofuba okukola emikwano oba okunyweza enkolagana yo n’abalala, okuyigayo ekintu ekipya, oba okufunangayo akaseera ne weesanyusaamu.
-
Ekiseera bwe kigenda kiyitawo ojja kukiraba nti ennaku ey’amaanyi tekyakujjira nnyo.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Buli kintu kiba n’ekiseera kyakyo, . . . ekiseera eky’okukaaba n’ekiseera eky’okuseka; ekiseera eky’okukuba ebiwoobe n’ekiseera eky’okuzina.”—Omubuulizi 3:1, 4.
7: BA N’ENTEEKATEEKA
-
Fuba mangu nga bwe kisoboka okuddamu okukola ebintu by’obaddenga okola.
-
Bw’obeera n’enteekateeka ey’okwebaka, okukola emirimu, n’okukola ebintu ebirala, kiyinza okukuyamba okutereera amangu.
-
Okufuba okwenyigira mu bintu ebizimba kiyinza okukendeeza ku bulumi bw’olina.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Tajja na kukiraba nti ennaku z’obulamu ziyita mangu, olw’okuba Katonda ow’amazima ajjuzza omutima gwe essanyu.”—Omubuulizi 5:20.
8: WEEWALE OKWANGUWA OKUSALAWO KU BINTU EBIKULU
-
Bangi ku abo abasalawo amangu ku bintu ebikulu nga baakafiirwa oluvannyuma bejjusa.
-
Bwe kiba kisoboka linda ekiseera kiyitewo nga tonnasalawo kusenguka, kukyusa mulimu, oba okweggyako ebintu by’omufu.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Enteekateeka z’abanyiikivu zivaamu ebirungi, naye abo bonna abapapa bajja kwavuwala.”—Engero 21:5.
9: JJUKIRA OMUNTU WO EYAFA
-
Bangi ku abo abafiiriddwa bakirabye nti kibayamba bwe bakola ebintu ebibaleetera okujjukira omuntu waabwe eyafa.
-
Oyinza okuwulira nti kikuleetera obuweerero bw’otimba ebifaananyi by’omuntu wo eyafa oba ebintu ebimukujjukiza oba okubaako ebintu by’owandiika by’oyagala okumujjukirako.
-
Tereka ebintu ebinaakuyamba okujjukira ebintu ebirungi ebikwata ku muntu wo eyafa era oluvannyuma, mu kiseera ekituufu, obiggyeyo obitunuleko.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Jjukira ennaku ez’edda.”—Ekyamateeka 32:7.
10: TAMBULAKO
-
Oyinza okusalawo okubaako w’olaga okuwummulako.
-
Bw’oba nga tosobola kugenda wantu kuwummulako kumala kiseera kiwanvu, kolayo ekintu ekikunyumira ekiyinza okutwala olunaku lumu oba bbiri, gamba ng’okutambulako, okugendako mu bifo eby’obulambuzi, oba okuvuga emmotoka n’ogendako awantu.
-
Okukolayo ekintu eky’enjawulo ku ebyo by’otera okukola bulijjo nakyo kisobola okukuyamba.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Mujje tugende mu kifo etali bantu muwummuleko.”—Makko 6:31.
11: YAMBA ABALALA
-
Kijjukirenga nti ekiseera ky’omala ng’oyamba abalala kisobola okukuyamba okuggya ebirowoozo ku nnaku gy’olina.
-
Oyinza okutandika ng’oyamba abo abali mu nnaku olw’omuntu wo eyafa, nga muno mwe muli ab’emikwano oba ab’eŋŋanda abeetaaga okubudaabudibwa omuntu ategeera obulungi ennaku gye balimu.
-
Okuyamba n’okugumya abalala kisobola okukuyamba okuddamu okufuna essanyu n’okuwulira nti oli wa mugaso.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okugaba kulimu essanyu okusinga okuweebwa.”—Ebikolwa 20:35.
12: DDAMU OLOWOOZE KU BINTU BY’OKULEMBEZA MU BULAMU
-
Okufiirwa omuntu wo kiyinza okukuyamba okumanya ebisinga obukulu mu bulamu.
-
Kozesa akakisa ako okufumiitiriza ku ngeri gy’otambuzaamu obulamu bwo.
-
Kola enkyukakyuka ezeetaagisa mu ebyo by’okulembeza mu bulamu.
AMAGEZI OKUVA MU BAYIBULI: “Okugenda mu nnyumba omuli okukungubaga kisinga okugenda mu nnyumba omuli embaga, kubanga okufa ye nkomerero ya buli muntu, era abalamu basaanidde okukifumiitirizaako.”—Omubuulizi 7:2.
Kyo kituufu nti tewali kisobola kumalirawo ddala bulumi bw’owulira. Naye bangi bakirabye nti okukola ebintu, gamba ng’ebyo ebyogeddwako mu magazini eno kibayambye okubudaabudibwa. Kya lwatu nti waliwo n’ebintu ebirala ebisobola okukuyamba okukendeeza ku bulumi bw’olina. Naye bw’ofuba okukola ebimu ku bintu ebyogeddwako mu magazini eno ojja kufuna obuweerero.
a Abawandiika magazini ya Zuukuka! tebalina nzijanjaba gye basalirawo bantu.