Ekitabo Ekisingayo Okuba eky’Omugaso
Bayibuli kye kitabo ekikyasinzeeyo okuvvuunulwa mu nnimi nnyingi n’okubunyisibwa. Amagezi agagirimu gayambye abantu bangi okusinga ekitabo ekirala kyonna. Lowooza ku miwendo gino:
OKUVVUUNULWA KWA BAYIBULI N’OKUBUNYISIBWA
Mu nsi yonna abantu abalina Bayibuli bali 96.5%
Eri mu nnimi 3,350 MU BULAMBA OBA EKITUNDU KYAYO
5,000,000,000 Ze kopi ezisuubirwa okuba nga ze zaakakubibwa, era kye kitabo ekikyasinze okukubibwa mu byafaayo
MANYA EBISINGAWO
GENDA KU, JW.ORG. KU MUKUTU OGWO OSOBOLA
Okusomerako Bayibuli (mu nnimi bikumi na bikumi)
Okuwanulako kopi
Okufuna eby’okuddamu mu bibuuzo ebitali bimu
Okusoma ebitundu ebiraga engeri Bayibuli gy’eyambyemu abantu bangi okulongoosa obulamu bwabwe
Okuyigirako Bayibuli *
Okusaba okuyigirizibwa Bayibuli
ABAJULIRWA BA YAKUWA NE BAYIBULI
ABAJULIRWA BA YAKUWA BEENYIGIRA MU KUVVUUNULA NE MU KUBUNYISA BAYIBULI.
Zino ze zimu ku nkyusa za Bayibuli ze twayambako mu kubunyisa:
The American Standard Version eya 1901
The Bible in Living English, Byington
The Emphatic Diaglott
The King James Version
Revised Standard Version
Tischendorf’s New Testament
ENKYUSA EY’ENSI EMPYA
Ennimi ezisukka mu 180 MU BULAMBA OBA EKITUNDU KYAYO
KOPI Z’ENKYUSA EY’ENSI EMPYA EZIKUBIDDWA OKUVA MU 1950 ZIRI OBUKADDE 227
^ lup. 13 Mu kiseera kino eri mu Lungereza n’Olupotugo. Ennimi endala zigenda kuteekebwako.