BAYIBULI KY’EGAMBA
Okukemebwa
Obufumbo okusasika, endwadde, n’okulumizibwa mu mutima bye bimu ku biva mu kutwalirizibwa okukemebwa. Tuyinza tutya okwewala okutwalirizibwa ebikemo?
Okukemebwa kye ki?
Okukemebwa kwe kusikirizibwa okukola ekintu ekibi. Ng’ekyokulabirako, oyinza okuba ng’ogenze mu dduuka okubaako by’ogula era n’olaba ekintu ekirungi ennyo. Oyinza okufuna ekirowoozo ekikugamba nti osobola okubba ekintu ekyo ne batakukwata. Naye mu kiseera ekyo omutima gwo guyinza okukugamba nti ekyo ky’oyagala okukola kikyamu! Weggyamu ekirowoozo ekyo n’ogenda mu maaso n’ebyakuleese. Mu kiseera ekyo ekikemo kiba kiwedde era oba okiwangudde.
BAYIBULI KY’EGAMBA
Bw’okemebwa tekitegeeza nti oli muntu mubi. Bayibuli eraga nti ffenna tukemebwa. (1 Abakkolinso 10:13) Naye ekikulu ye ngeri gye tweyisaamu nga tukemeddwa. Abamu tebanguwa kweggyamu kwegomba kubi, n’ekivaamu bakola ebintu ebibi. Ate abalala banguwa okukweggyamu.
“Buli muntu agezesebwa ng’atwalirizibwa era ng’asendebwasendebwa okwegomba kwe.”—Yakobo 1:14.
Lwaki tusaanidde okubaako kye tukolawo mu bwangu nga tukemeddwa?
Bayibuli eraga emitendera omuntu gy’ayitamu ng’agenda okukola ekintu ekibi. Yakobo 1:15 wagamba nti: “Okwegomba [okubi] bwe kuba olubuto kuzaala ekibi.” N’olwekyo, omuntu bw’ateggyaamu kwegomba kubi mu bwangu, ekiseera kituuka ne kiba nga kizibu nnyo gy’ali okuziyiza okukola ekibi, nga bwe kiba ekizibu ennyo eri omukazi okuziyiza omwana okufuluma ng’atuuse okuzaalibwa. Naye tusobola okwewala okuba abaddu b’okwegomba okubi.
ENGERI BAYIBULI GY’ESOBOLA OKUTUYAMBA
Nga bwe tusobola okuyingiza okwegomba okubi mu birowoozo byaffe, era tusobola okukweggyamu. Mu ngeri ki? Nga tuggya ebirowoozo byaffe ku kintu ekibi kye tuba twegomba ne tubissa ku bintu ebirala ebizimba. (Abafiripi 4:8) Ate era kiba kikulu okufumiitiriza ku ebyo ebiyinza okuvaamu singa tutwalirizibwa okukemebwa. Muno mwe muli ebintu gamba ng’okulumizibwa mu mutima, okufuna endwadde, oba okufiirwa enkolagana yaffe ne Katonda. (Ekyamateeka 32:29) Okusaba nakwo kusobola okutuyamba. Yesu Kristo yagamba nti: ‘Musabe, muleme kugwa nga mukemeddwa.’—Matayo 26:41.
“Temubuzaabuzibwanga: Katonda tasekererwa. Kubanga ekyo omuntu ky’asiga, era ky’alikungula.”—Abaggalatiya 6:7.
Oyinza otya okwewala okutwalirizibwa ebikemo?
BITWALIRE DDALA NGA BWE BIRI
Ebikemo mutego ogusobola okukusuula mu kabi. (Yakobo 1:14) Kino kituufu nnaddala bw’olowooza ku kikemo ekikwata ku kwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu. Okwenyigira mu bikolwa eby’obugwenyufu kivaamu emitawaana egy’amaanyi.—Engero 7:22, 23.
ENGERI BAYIBULI GY’ESOBOLA OKUKUYAMBA
Yesu Kristo yagamba nti: “Eriiso lyo erya ddyo bwe liba nga likuleetera okwesittala, liggyeemu olisuule.” (Matayo 5:29) Kiki Yesu kye yali ategeeza? Yali ategeeza nti, bwe tuba twagala okusanyusa Katonda era tufune obulamu obutaggwaawo, tulina okufiisa ebitundu byaffe eby’omubiri bwe kituuka ku kukola ebibi. (Abakkolosaayi 3:5) Ekyo kitegeeza nti tulina okuba abamalirivu obutatwalirizibwa bikemo. Omusajja omwesigwa yasaba Katonda n’amugamba nti: “Wunjula amaaso gange galeme kutunuulira bitagasa.”—Zabbuli 119:37.
Kyo kituufu oluusi si kyangu kwefuga. Bayibuli egamba nti “omubiri munafu.” (Matayo 26:41) N’olwekyo ebiseera ebimu tukola ensobi. Naye bwe twenenya mu bwesimbu era ne tutagufuula muze kukola bintu bibi, Omutonzi waffe Yakuwa Katonda atusonyiwa kubanga “musaasizi era wa kisa.” (Zabbuli 103:8) Ng’ekyo kituzzaamu nnyo amaanyi!
“Ai Ya, singa wali otunuulira nsobi, Ai Yakuwa, ani yandisobodde okuyimirira?”—Zabbuli 130:3.