Buuka ogende ku bubaka obulimu

Buuka ogende awalagibwa ebirimu

OMUTWE OGULI KUNGULU | ENSI EGENDA KUSAANAWO?

Ensi Egenda Kusaanawo oba Nedda?

Ensi Egenda Kusaanawo oba Nedda?

KU NTANDIKWA y’omwaka 2017 bannassaayansi baalangirira ekintu eky’entiisa. Mu Jjanwali w’omwaka ogwo bannassaayansi baagamba nti ensi esemberedde akatyabaga akatabangawo. Nga bakozesa akabonero k’essaawa, bannassaayansi baasembeza akalimi kaayo obutikitiki 30 mu maaso okulaga nti akatyabaga ako kali kumpi nnyo okusinga bwe kyali kibadde. Kati akalimi k’essaawa eyo kalaga nti ebulayo eddakiika bbiri n’ekitundu okuwera essaawa mukaaga ogw’ekiro. Mu kusembeza akalimi ako mu maaso baali balaga nti akatyabaga akoolekedde ensi kati kasembedde okusinga bwe kibadde mu myaka egisukka mu 60 emabega!

Mu 2018, bannassaayansi bateekateeka okuddamu okubalirira ebbanga erisigaddeyo akatyabaga akanaasaanyaawo ensi kabeewo. Essaawa yaabwe eneesigala eraga nti akatyabaga ako kali kumpi nnyo okubaawo? Olowooza otya? Ensi egenda kusaanawo? Ekibuuzo ekyo kiyinza okukuzibuwalira okuddamu. Ggwe ate oba ne bannassaayansi balina endowooza za njawulo ku nsonga eyo. Kyokka tekiri nti buli muntu akkiriza nti waliwo akatyabaga akagenda okusaanyaawo ensi.

Waliwo abantu bangi abakkiriza nti ebiseera by’ensi eby’omu maaso bitangaavu. Bagamba nti balina obukakafu obulaga nti ensi ejja kubaawo emirembe gyonna ng’eriko abantu era nti embeera ku nsi ejja kutereera. Kye boogera kituufu? Ensi egenda kusaanawo, oba nedda?